Yeremiya 21 – LCB & JCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 21:1-14

Katonda Agaana Okusaba kwa Zeddekiya

1Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti, 2“Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”

3Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti, 4‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino. 5Nze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi. 6Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino. 7Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’

8“Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa. 9Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe. 10Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’

11“N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama; 12ggwe ennyumba ya Dawudi,

“ ‘kino Mukama ky’agamba:

Musale emisango mu bwenkanya,

mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza,

obusungu bwange buleme kuvaayo

bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze,

nga tewakyali n’omu abuziyiza.

13Laba nkugguddeko olutalo,

ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu,

ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama,

mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba?

Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”

14Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,

era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe,

gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”

bw’ayogera Mukama.

Japanese Contemporary Bible

エレミヤ書 21:1-14

21

ゼデキヤへの宣告

1-2次もまた、神からエレミヤにあったことばです。ゼデキヤ王は、マルキヤの子パシュフルと、マアセヤの子で祭司のゼパニヤをエレミヤのもとへ遣わし、こう言わせました。「主がお助けくださるように祈ってほしい。バビロンのネブカデネザル王が、宣戦布告をしてきたからだ。もしかしたら主は私たちへの恵みを忘れず、昔のようにすばらしい奇跡を行って、王が軍隊を撤退させるようにしてくださるかもしれない。」

3-4エレミヤは答えました。「ゼデキヤ王のところへ戻り、イスラエルの主が、こう語ったと伝えなさい。『わたしは、バビロンの王と、おまえたちを包囲しているカルデヤ人との前で、おまえたちの武器を役に立たないようにする。それどころか、敵を町の真ん中に引き入れ、 5自らおまえたちと戦う。わたしは激しく怒っているからだ。 6そのうえ、恐ろしい疫病をはやらせるので、人も家畜も共に死ぬ。 7ゼデキヤ王も町に残っている者も、バビロンのネブカデネザル王の手に渡す。彼らは少しもあわれみをかけられることがなく、家畜のように殺される。

8この民にそう知らせてやるのだ。』そう主は告げます。

『生きるか死ぬかの、どちらかを選べ。 9エルサレムに残り、敵の手にかかって殺されたり、飢えや病気で死んだりするほうを取るか。それとも、町を出てカルデヤ軍に降伏し、生きるほうを取るか。 10わたしはこの町をこらしめようとしているのだ。この町の敵となり、友とはならない。この町はバビロン王の手に渡され、灰となる。』」

11ユダの王に、神はこう告げます。

12「おまえのしているいっさいの悪のため、

おまえをさばくことにした。

さあ、急いで公平な裁判をするのだ。

わたしの燃える憤りが、

だれにも消せない火となっておまえに燃え移る前に、

正しいことを始めなさい。

13『われわれは安全だ。

ここにいる以上、だれも指一本ふれることはできない』と、うそぶいているエルサレムを相手に、わたしは戦う。

14自ら手を下し、罪を犯した罰として

おまえたちを滅ぼす。

わたしが森に火を放つので、

周りのものは何もかも灰になる。」