Yeremiya 16 – LCB & BDS

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 16:1-21

Olunaku olw’Akabi

1Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, 2“Towasa, kuzaalira balenzi na bawala mu kifo kino. 3Kubanga kino Mukama ky’agamba ku balenzi n’abawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe. 4Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.”

5Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere y’olumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange n’okwagala kwange era n’okusaasira kwange ku bantu bano,” bw’ayogera Mukama. 6Bonna ab’ekitiibwa n’abakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe. 7Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.

8Era toyingiranga mu nnyumba muli kinyumu n’otuula okulya n’okunywa. 9Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.

10“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’ 11Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. 12Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera. 13Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’

14“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 15naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.

16“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 17Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 18Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”

19Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,

ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,

bannaggwanga balijja gy’oli,

okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,

“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,

ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.

20Abantu beekolera bakatonda baabwe?

Ye, naye si Katonda!

21“Noolwekyo ndibayigiriza,

ku mulundi guno;

ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.

Olwo balyoke bamanye nti

erinnya lyange nze Mukama.”

La Bible du Semeur

Jérémie 16:1-21

La solitude du prophète

1L’Eternel m’adressa la parole : 2Tu ne te marieras pas, tu n’auras donc ni fils ni filles en ce lieu, 3car voici ce que déclare l’Eternel au sujet des fils et des filles qui naissent en ce lieu et au sujet des mères qui les mettent au monde, et au sujet des pères qui les engendrent ici, dans ce pays : 4Des maladies mortelles les feront périr. Nul ne mènera deuil sur eux et on ne les mettra pas au tombeau. Leurs corps resteront étendus comme du fumier sur le sol. L’épée ou la famine les consumeront et leurs cadavres seront dévorés par les rapaces et les bêtes sauvages.

5Car voici ce que déclare l’Eternel : Tu ne dois pas entrer dans une maison endeuillée ; ne va pas à des funérailles, n’aie pour ces gens aucun geste de sympathie, car j’ai retiré à ce peuple ma paix, ma bonté et ma compassion, l’Eternel le déclare. 6Les grands et les petits mourront dans ce pays ; ils ne seront pas enterrés, nul ne mènera deuil sur eux, on ne se fera pas des incisions pour eux16.6 Coutume païenne interdite par la Loi (Lv 19.28 ; 21.5 ; Dt 14.1) mais adoptée par les Israélites., nul ne se rasera la tête pour eux. 7Personne ne fera de repas funéraire pour ceux qui sont en deuil, pour les réconforter du décès d’un des leurs. Nul ne leur offrira la coupe de consolation au sujet du décès d’un père ou d’une mère.

8Tu n’iras pas non plus dans la maison où l’on festoie pour t’asseoir avec eux, pour manger et pour boire. 9Car voici ce que dit le Seigneur des armées célestes, Dieu d’Israël : Je vais faire cesser en ce lieu, sous vos yeux et durant votre temps, les cris de réjouissance et d’allégresse, la voix du marié et de la mariée.

10Or, quand tu communiqueras ce message à ce peuple, ils te demanderont : « Pourquoi donc l’Eternel parle-t-il de nous envoyer ce grand malheur ? Quel mal avons-nous fait ? Quel péché avons-nous commis contre l’Eternel notre Dieu ? » 11Alors, tu leur diras : Vos pères m’ont abandonné, l’Eternel le déclare, ils se sont attachés à d’autres dieux, ils leur ont rendu un culte, et ils se sont prosternés devant eux. Ils m’ont abandonné et n’ont pas appliqué ma Loi. 12Et vous, vous avez fait pis encore que vos pères, chacun de vous suit les penchants de son cœur obstiné et mauvais, sans m’écouter. 13Je vous jetterai donc hors de ce pays-ci jusqu’en un pays inconnu de vous et de vos pères. Là, jour et nuit, vous adorerez d’autres dieux, car je n’aurai plus pitié de vous.

Lueur d’espoir

14C’est pourquoi, des jours viennent – l’Eternel le déclare – où l’on ne dira plus : « L’Eternel est vivant, lui qui a fait sortir d’Egypte les Israélites16.14 Pour les v. 14-15, voir 23.7-8. » ; 15mais l’on dira plutôt : « L’Eternel est vivant, lui qui a fait sortir les Israélites du pays du nord et de tous les pays où il les avait chassés. » Je les ramènerai dans leur pays que j’ai donné à leurs ancêtres.

16Oui, je vais envoyer des pêcheurs en grand nombre, et ils les pêcheront, déclare l’Eternel, et j’enverrai des chasseurs en grand nombre, et ils les chasseront sur toutes les montagnes, sur toutes les collines et dans les fentes des rochers. 17J’observe toutes leurs démarches, aucune ne m’échappe, et leur crime ne peut se dérober à mon regard. 18Je leur paierai d’abord16.18 C’est-à-dire avant la délivrance promise au v. 14. au double le salaire que méritent leur iniquité et leurs péchés, car ils ont profané mon pays avec leurs idoles qui n’ont pas plus de vie que des cadavres, et ils ont rempli mon domaine de leurs horreurs abominables.

Les peuples non israélites se tournent vers l’Eternel

19Eternel, toi ma force, ╵mon rempart,

toi, mon refuge, ╵au temps de la détresse,

les peuples étrangers ╵viendront à toi

des confins de la terre

en proclamant :

« Nos pères n’ont eu en partage ╵que des idoles mensongères,

des divinités inutiles ╵qui ne servent à rien.

20Un homme pourrait-il ╵se fabriquer des dieux ?

Ce ne sont pas des dieux ! »

21C’est pourquoi, je vais leur faire connaître,

oui, cette fois,

je leur ferai connaître ╵comment j’agis avec puissance,

et ils sauront alors ╵que je suis l’Eternel.