Yeremiya 10 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 10:1-25

Katonda ne Bakatonda Abalala

1Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri. 2Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Temugobereranga makubo g’amawanga

oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu,

kubanga amawanga ge byeraliikirira.

3Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;

batema omuti mu kibira,

omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.

4Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,

bagukomerera n’enninga n’ennyondo

guleme okunyeenyanyeenya.

5Bakatonda bafaanana nga ssemufu

mu nnimiro y’ebibala,

era tebasobola kwogera

kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.

Tobatya,

tebayinza kukukola kabi konna,

wadde okukola akalungi n’akamu.”

6Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.

Oli mukulu,

era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.

7Ani ataakutye,

Ayi Kabaka w’amawanga?

Kubanga kino kye kikugwanira.

Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga

ne mu bwakabaka bwabwe bwonna

tewali ali nga ggwe.

8Bonna tebalina magezi basirusiru,

abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.

9Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,

ne zaabu eva e Yufazi,

ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze

byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.

Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.

10Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,

era Kabaka ow’emirembe gyonna.

Bw’asunguwala, ensi ekankana,

amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.

Katonda Omulamu ne Bakatonda Abataliimu

11“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”

12Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,

n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,

era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.

13Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma,

asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi.

Amyansisa eggulu mu nkuba,

era n’aggya empewo mu mawanika ge.

14Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera;

buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze.

Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba,

era tebiriimu bulamu.

15Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa

ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.

16Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo,

ye Mutonzi w’ebintu byonna,

era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe,

Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Okuzikirira Okujja

17Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi,

mmwe abazingiziddwa.

18Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba nfuumuula abantu

mbaggye mu nsi eno,

era ndibaleetako ennaku

balyoke bawambibwe.”

19Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange

ekinnuma ennyo.

Naye ate ne ŋŋamba nti,

“Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”

20Eweema yange eyonooneddwa,

era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.

Tewali n’omu asigaddewo kaakano

kuzimba weema yange

wadde okuzimba ekigango kyange.

21Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo

tebakyebuuza ku Mukama.

Noolwekyo tebakulaakulana

era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.

22Wuliriza!

Amawulire gatuuse,

waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono,

kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.

Okusaba kwa Yeremiya

23Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,

omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.

24Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde,

si mu busungu bwo,

si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.

25Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,

agatakutwala ng’ekikulu,

ku bantu abatakoowoola linnya lyo.

Kubanga bamazeewo Yakobo,

bamuliiridde ddala

era ne boonoona ensi ye.

New Russian Translation

Иеремия 10:1-25

Бог Израиля и идолы

1Слушай, дом Израиля, что говорит тебе Господь.

2Так говорит Господь:

– Не учитесь путям других народов,

не бойтесь небесных знамений,

которых другие народы боятся.

3Обычаи народов ничтожны.

Срубают в лесу дерево,

ремесленник обрабатывает его резцом,

4украшает серебром и золотом,

крепит его молотком и гвоздями,

чтобы он не качался.

5Эти идолы, как пугала на бахче, –

не могут говорить;

их нужно носить –

они не умеют ходить.

Не бойтесь их,

ведь они не в силах причинить вам зла,

но и добра сделать не могут.

6– Нет подобного Тебе, о Господь,

Ты велик, и Твое имя могущественно.

7Кто не чтит Тебя, Царь народов?

Ведь Ты заслуживаешь этого.

Между всеми мудрецами народов

и во всех их царствах

нет подобного Тебе.

8Эти народы безрассудны и глупы:

они учатся у бестолковой деревяшки!10:8 Смысл этого места в еврейском тексте неясен.

9Серебро чеканное привозится из Таршиша,

а золото – из Уфаза.

Поделки ремесленника и плавильщика

облачат затем в голубое и пурпурное одеяние;

все эти истуканы – изделия мастеров.

10Но Господь – это истинный Бог;

Он – Бог живой и Царь вечный.

Когда Он разгневан, дрожит земля,

и народы не в силах вынести Его ярость.

11– Скажите им вот что:

Боги, которые не создали неба и земли, исчезнут с лица земли и из-под небес10:11 В оригинале этот стих написан по-арамейски..

12А Бог создал землю Своим могуществом,

утвердил мир Своей мудростью,

распростер небеса Своим разумом.

13Когда Он возвышает голос, шумят небесные воды;

Он поднимает тучи с края земли.

Он посылает молнии среди ливня

и выводит ветер из Своих кладовых.

14Все люди глупы и нет у них знания;

всякий плавильщик позорит себя своими идолами.

Его изваяния лживы, и нет в них дыхания.

15Они ничтожны и смешны;

пробьет их час, и они погибнут.

16Но Он, Удел Иакова, не таков, как они,

потому что Он – Творец всего,

и Израиль – народ Его наследия:

Господь Сил, вот Его имя.

Предстоящее изгнание

17Собирайте пожитки, чтобы покинуть страну,

живущие в осаде.

18Ведь так говорит Господь:

– На этот раз Я изгоняю тех,

кто живет в стране;

Я пошлю им несчастье,

чтобы они были схвачены их врагами.

19Горе мне в моем сокрушении!

Моя рана неизлечима!

Но я сказал себе:

«Воистину, это моя скорбь;

я должен ее нести».

20Мой шатер разрушен,

все веревки его разорваны.

Сыновья мои от меня ушли,

нет их больше;

некому больше поставить мой шатер

и повесить его завесы.

21Пастухи безрассудны

и не взывают к Господу,

поэтому они не имеют успеха ни в чем,

и все их стада рассеяны.

22Слышите! Слух несется:

великое волнение с севера!

Оно превратит города Иудеи в пустыни,

в логово шакалов.

Молитва Иеремии

23Знаю, Господи,

человек не властен над жизнью,

и не во власти идущего

дать направление шагам.

24Наставляй меня, Господи,

но только по справедливости,

не во гневе,

чтобы не погубить меня.

25Излей Свой гнев на народы, не знающие Тебя,

на народы, не призывающие Твоего имени,

за то что они уничтожили Иакова:

уничтожили и погубили его

и разорили его дома.