Yeremiya 1 – LCB & JCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 1:1-19

1Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, ow’oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini. 2Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu, 3ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Okuyitibwa kwa Yeremiya

4Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti,

5“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;

nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.

Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”

6Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” 7Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. 8Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda.

9Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga. 10Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.” 11Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?”

Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.”

12Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga neetegereza ndabe ng’ekigambo kyange kituukirira.”

13Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?”

Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.”

14Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga. 15Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka

mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi,

balizinda bbugwe waakyo yenna

era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.

16Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna,

kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala,

era ne basinza ebibajje bye beekolera

n’emikono gyabwe.

17“Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bw’onoobatya nzija kubakutiisa. 18Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona n’abantu ab’omu nsi. 19Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Japanese Contemporary Bible

エレミヤ書 1:1-19

1

1ここに書いてあるのは、ユダのベニヤミンの地のアナトテという町にいた祭司、ヒルキヤの子エレミヤに与えられた神のことばです。 2ユダ王国のアモンの子、ヨシヤ王の治世第十三年に最初のことばがありました。 3そののち、ヨシヤの子、エホヤキム王の時代、ヨシヤの子、ゼデキヤ王の治世第十一年の七月にエルサレムが陥落し、住民が捕囚として連れ去られるまで、数回にわたって神のことばがありました。

エレミヤの召命

4主は私に、こう語りました。

5「わたしは、母の胎内に宿る前から

おまえを知っていた。

生まれる前から、

わたしの聖なる者として取っておき、

国々にわたしのことばを伝える者に任命していた。」

6「神よ、とんでもないことです。

私にできるはずがありません。

若すぎて、何を語ればよいのかわかりません。

7「そんなことを言ってはならない。

わたしが送り出す所どこへでも行き、

命じることはすべて語るのだ。

8人を恐れてはいけない。

主であるわたしがついていて、

どんな時にも助けるのだから。」

9こう言ってから、神は私の口に触れました。

「わたしのことばをおまえの口に授けた。

10今日から、世界の国々に警告する仕事が始まる。

おまえの口から語られるわたしのことばどおりに、

ある国を引き倒し、滅ぼし、

ある国は起こし、育て、大国にする。」

11それから、主はこう尋ねられました。「エレミヤよ、何が見えるか。」「アーモンドの枝でできたむちです。」 12「そのとおりだ。それは、わたしが必ず恐ろしい罰を下すしるしだ。

13今度は何が見えるか。」「煮立っているなべが南の方に傾き、煮え湯がユダの上にこぼれていくのが見えます。」

14「そのとおりだ。

北からの恐怖が、全住民に降りかかる。

15わたしは北方の国々の軍隊に、

エルサレムを攻めさせる。

彼らは都の門と城壁沿いに、

またユダのほかの町々に、それぞれの王座を作る。

16こうして、わたしの民に罰を加える。

わたしを捨て、

自分の手で作った神々を拝んだからだ。

17さあ、身じたくを整えて出かけなさい。

わたしが伝えることをすべて語るのだ。

彼らを怖がるな。

恐れるなら、彼らの目の前でおまえを

もの笑いの種にする。

18わたしは今日、

おまえを彼らにはたち打ちできない者とした。

彼らはどうしても、

おまえに危害を加えることができない。

おまえは、難攻不落の町のように

がんじょうそのもので、

鉄の柱、青銅の重い門のように強い。

王たち、将校たち、祭司たちをはじめ、

この国の民は、おまえと戦っても、

とうてい勝ち目がない。

19攻撃をしかけても、途中であきらめる。

わたしがおまえと共にいて、必ず救い出すからだ。」