Yakobo 5 – LCB & TNCV

Luganda Contemporary Bible

Yakobo 5:1-20

Okulabula Abagagga

1Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku. 2Eby’obugagga byammwe bivunze, n’ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. 3Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ng’omuliro. Mweterekera obugagga olw’ennaku ez’oluvannyuma. 4Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye. 5Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ng’abeetegekera olunaku olw’okubaagirako ebyassava. 6Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ng’ate ye talina bwe yeerwanirako.

Okugumiikiriza

7Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. 8Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi. 9Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.

10Ekyokulabirako eky’okugumiikiriza n’okubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. 11Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ng’entegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.

12Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bw’ebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bw’ebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga.

Okusaba okw’Okukkiriza

13Waliwo mu mmwe ali mu buzibu? Kirungi asabenga olw’obuzibu obwo. N’abo abeetaaga okwebaza, kirungi bayimbirenga Mukama bulijjo ennyimba ez’okumutendereza. 14Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. 15Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. 16Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.

17Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu! 18Ate n’asaba enkuba n’etonnya, omuddo n’ebisimbe byonna ne biddamu okumera. 19Abooluganda, singa omu ku mmwe akyama n’ava ku mazima, ne wabaawo amukomyawo, 20omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ng’amuleetedde n’okusonyiyibwa ebibi byonna.

Thai New Contemporary Bible

ยากอบ 5:1-20

ตักเตือนคนมั่งมีผู้รังแกคนจน

1ท่านทั้งหลายที่ร่ำรวยจงฟังเถิด จงร่ำไห้คร่ำครวญเนื่องด้วยทุกข์เข็ญที่จะเกิดกับท่าน 2ทรัพย์สมบัติของท่านก็ผุพังไปแล้วและแมลงได้กัดกินเสื้อผ้าของท่าน 3เงินและทองของท่านขึ้นสนิม สนิมนั้นเป็นพยานปรักปรำและกัดกินเลือด เนื้อท่านดั่งไฟ ท่านกักตุนทรัพย์สมบัติไว้ในวาระสุดท้าย 4ดูเถิด! ค่าจ้างที่ท่านโกงคนงานเกี่ยวข้าวในนาของท่านนั้นกำลังร้องกล่าวโทษท่านอยู่ เสียงร้องทุกข์ของผู้เก็บเกี่ยวได้ขึ้นถึงพระกรรณขององค์พระผู้เป็นเจ้าผู้ทรงฤทธิ์แล้ว 5ท่านได้ใช้ชีวิตในโลกอย่างหรูหราและปรนเปรอตนเองตามใจชอบ ท่านขุนตนเองไว้รอวันประหาร5:5 หรือราวกับอยู่ในวันเลี้ยงฉลอง 6ท่านตัดสินลงโทษและเข่นฆ่าคนที่ไม่มีความผิดผู้ไม่ได้ต่อต้านท่าน

อดทนในความทุกข์ยาก

7เหตุฉะนั้นพี่น้องทั้งหลาย จงอดทนตราบจนองค์พระผู้เป็นเจ้าเสด็จมา จงดูชาวนารอคอยพืชผลล้ำค่าจากแผ่นดิน ดูเถิดว่าเขาอดทนรอคอยฝนต้นฤดูและฝนปลายฤดูขนาดไหน 8ท่านทั้งหลายก็เช่นกันจงอดทนและยืนหยัดอย่างมั่นคง เพราะองค์พระผู้เป็นเจ้าใกล้จะเสด็จมาแล้ว 9พี่น้องทั้งหลายอย่าบ่นว่ากันเพื่อจะไม่ถูกตัดสินโทษ องค์ผู้พิพากษาทรงยืนอยู่ที่ประตูแล้ว!

10พี่น้องทั้งหลายจงยึดถือเหล่าผู้เผยพระวจนะในพระนามขององค์พระผู้เป็นเจ้าเป็นแบบอย่างในการอดทนเมื่อเผชิญความทุกข์ยาก 11ดังที่ท่านทราบกันอยู่ เราถือว่าผู้ที่อดทนบากบั่นก็เป็นสุข ท่านก็ได้ยินถึงความอดทนบากบั่นของโยบและได้เห็นว่าในที่สุดองค์พระผู้เป็นเจ้าทรงให้เกิดอะไรขึ้น องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงเปี่ยมด้วยพระเมตตากรุณา

12พี่น้องทั้งหลาย เหนือสิ่งอื่นใดอย่าสาบาน ไม่ว่าอ้างสวรรค์ อ้างพิภพโลก หรืออ้างสิ่งอื่นใด ใช่ก็ว่า “ใช่” ไม่ก็ว่า “ไม่” มิฉะนั้นท่านจะถูกตัดสินลงโทษ

คำอธิษฐานด้วยความเชื่อ

13ถ้าผู้ใดในพวกท่านเดือดร้อนผู้นั้นควรจะอธิษฐาน ถ้าผู้ใดมีความสุขให้ผู้นั้นร้องเพลงสรรเสริญพระเจ้า 14ถ้าผู้ใดในพวกท่านเจ็บป่วยผู้นั้นควรเชิญบรรดาผู้ปกครองคริสตจักรมาอธิษฐานเผื่อและเจิมด้วยน้ำมันในพระนามขององค์พระผู้เป็นเจ้า 15คำอธิษฐานด้วยความเชื่อจะทำให้ผู้ป่วยหายดี องค์พระผู้เป็นเจ้าจะทรงรักษาเขา ถ้าเขาทำบาปพระองค์ก็จะทรงอภัยให้เขา 16ฉะนั้นจงสารภาพบาปของท่านต่อกันและอธิษฐานเผื่อกันและกัน เพื่อท่านจะได้รับการรักษาให้หาย คำอธิษฐานของผู้ชอบธรรมทรงอานุภาพและเกิดผล

17เอลียาห์ก็เป็นมนุษย์เหมือนเราทั้งหลาย เขาทุ่มเทอธิษฐานขออย่าให้ฝนตก ฝนก็ไม่ตกรดแผ่นดินตลอดสามปีครึ่ง 18เขาอธิษฐานอีก แล้วฟ้าก็ให้ฝนและแผ่นดินให้พืชผล

19พี่น้องทั้งหลายหากใครในพวกท่านหลงไปจากความจริงและมีบางคนนำเขากลับมา 20จงจำไว้ว่าผู้ที่พาคนบาปหันจากทางผิดของเขา จะช่วยเขาพ้นจากความตาย และความผิดบาปมากมายจะได้รับการลบล้างโดยการให้อภัย