Omubuulizi 9 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 9:1-18

Ekkubo Bonna lye Bakwata

1Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ng’omutuukirivu n’omugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu n’omu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde. 2Omutuukirivu n’omwonoonyi, omulungi n’omubi, omuyonjo n’omujama, abo abawaayo ssaddaaka n’abo abatagiwaayo bonna gye bagenda y’emu.

Nga bwe kiri eri omuntu omulungi,

era bwe kiri n’eri omwonoonyi;

Nga bwe kiri eri abo abalayira,

era bwe kiri n’eri abo abatya okulayira.

3Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe. 4Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!

5Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa,

naye abafu tebaliiko kye bamanyi:

tebakyagasa

wadde okujjukirwa.

6Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe,

n’obuggya bwabwe nga bizikiridde;

nga tebakyetaba mu ebyo byonna

ebikolebwa wansi w’enjuba.

7Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. 8Yambalanga engoye ennyonjo9:8 Okwambala engoye ennyonjo nga njeru n’okwesiiga amafuta, y’engeri Abayudaaya gye baakuumangamu ennaku zaabwe enkulu., era weesiigenga n’ebyakaloosa. 9Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba. 10Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

11Ate nalaba nga wansi w’enjuba,

ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka,

era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo,

ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira;

wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo

aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.

12Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.

Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo,

oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego,

n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi,

ebibatuukako nga tebabyetegekedde.

13Era ekirala kye nalaba ekyampuniikiriza ennyo kye kino: 14waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene. 15Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira. 16Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo.

17Naye ne bwe kiba kityo, ebigambo eby’ekimpowooze ebiva mu kamwa k’omugezi bissibwako omwoyo,

okusinga okuleekaana kw’omufuzi w’abasirusiru.

18Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo,

naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.