Omubuulizi 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 4:1-16

Amaziga g’Abanyigirizibwa

1Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.

Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,

era nga tebalina wakugabasangulako!

Ababanyigiriza baalina obuyinza,

kyokka nga tewali asobola kubagambako.

2Ne ndowooza ku abo abaafa,

nga baali ba mukisa okusinga

abo abakyali abalamu;

3naye abasinga abo,

y’oyo atannaba kuzaalibwa,

atannalaba bibi

obukolebwa wansi w’enjuba.

4Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.

5Omusirusiru awumba emikono gye,

ne yeezikiriza yekka.

6Kirungi okuba n’emirembe emijjuvu

okusinga okujjula okubonaabona

n’okugoberera empewo.

7Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:

8nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina,

nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe,

ne yeebuuza nti, “Nteganira ani

ne neefiiriza essanyu?

Kino nakyo butaliimu,

era tekiriiko kye kigasa.”

9Ababiri basinga omu,

kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.

10Kubanga singa omu agwa,

munne amuyimusa.

Naye zimusanze oyo ali obw’omu,

bw’agwa tabaako amuyimusa.

11Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;

naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?

12Omu awangulwa mangu,

kyokka ababiri bayinza okwerwanako.

Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.

13Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa. 14Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu. 15Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w’enjuba nga bagoberera omuvubuka oyo ow’okulya obwakabaka. 16Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.