Omubuulizi 2 – LCB & CARST

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 2:1-26

Amasanyu Tegagasa

1Nayogera munda yange nti, “Jjangu kaakano ngezese okusanyuka. Weesanyuse.” Naye laba, na kino kyali butaliimu. 2Nagamba nti, “Okuseka busirusiru. Era okusanyuka kugasa ki?” 3Nanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono.

4Natandikawo emirimu egy’amaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ez’emizabbibu. 5Ne neerimira ennimiro, ne neekolera n’ebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egy’ebibala. 6Ne neesimira ebidiba omuva amazzi ag’okufukirira ebibira by’emiti emito. 7Neefunira abaddu abasajja n’abakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera n’amagana g’ente n’ebisibo by’endiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi. 8Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi. 9Ne nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi.

10Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma,

omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu.

Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna,

era eyo y’empeera yange olw’okutegana kwange kwonna.

11Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola,

n’okutegana kwonna nga nkola,

laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo,

tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.

Amagezi Agatali ga Katonda n’Obusirusiru Byombi Butaliimu

12Awo ne nkyuka ne ndowooza ku magezi,

ne ku ddalu ne ku busirusiru,

kubanga oyo aliddirira kabaka mu bigere alibaako ki ky’akola,

okuggyako ekyo kabaka ky’akoze?

13Awo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru,

n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza.

14Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,

naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.

Kyokka ne ntegeera

nga bombi akabi kabatuukako.

15Ne ndyoka njogera mu mutima gwange nti,

“Ekyo ekigwa ku musirusiru nange kirintuukako.

Kale lwaki mbeera omugezi?”

Era na kino ne nkizuula

nga butaliimu.

16Kubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera;

mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda.

Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.

17Awo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi w’enjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 18Nakyawa okutegana kwange kwonna kwe nateganamu wansi w’enjuba, kubanga byonna ndi wakubirekera oyo alinzirira mu bigere. 19Kale ani amanyi obanga aliba musajja mugezi oba musirusiru? Kyokka ye y’aliba mukama w’ebyo byonna bye nateganira nga nkozesa amagezi gange wansi w’enjuba; era na kino nakyo butaliimu. 20Awo ne nterebuka olw’okutegana kwange kwonna wansi w’enjuba. 21Kubanga oluusi omuntu ategana ng’akozesa amagezi ge n’okumanya awamu n’obukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga nako. Na kino nakyo butaliimu na kabi keereere. 22Omuntu afuna ki mu kutegana kwe kwonna n’okukaluubirirwa mu ebyo by’ateganamu wansi w’enjuba? 23Kubanga ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.

24Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda, 25kubanga awatali ye, ani ayinza okulya oba asobola okusanyuka? 26Kubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gw’okukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Размышления 2:1-26

Пустота удовольствий

1Я сказал себе: «Попробую-ка повеселиться и получить от этого удовольствие». Но и это оказалось пустым. 2О смехе я сказал: «Безумие», а о веселье: «Что оно даёт?» 3Я пытался утешить себя вином и, сохраняя мудрость, предаться глупости. Я хотел увидеть, что стоит людям делать под небом в немногие дни их жизни.

4Я совершил великие дела: построил себе дома и насадил виноградники, 5разбил сады и рощи и посадил в них разные плодовые деревья. 6Я сделал водоёмы, чтобы поливать цветущие деревья в роще. 7Купил себе рабов и рабынь, и были у меня и другие рабы, рождённые в доме моём. Также крупного и мелкого скота было у меня больше, чем у кого-либо, кто жил до меня в Иерусалиме. 8Я собрал себе серебро, и золото, и богатство царей и областей. Приобрёл я певцов, и певиц, и много наложниц2:8 Или: «виночерпиев». – отраду сердца мужчин. 9Я превзошёл величием всех, кто жил в Иерусалиме до меня. При всём этом мудрость моя оставалась со мной.

10Чего бы ни пожелали глаза мои, я ни в чём им не отказывал;

сердцу своему я не отказывал в удовольствии.

Моё сердце радовалось от всего, что я делал, –

это и было наградой за весь мой труд.

11Но когда я посмотрел на всё, что сделали мои руки,

и на тот труд, что я совершил,

я увидел, что всё пустое, всё – погоня за ветром,

и ни в чём нет пользы под солнцем.

Мудрость и глупость – пусты

12Затем я стал размышлять о мудрости,

о безумии и глупости

(вряд ли мой преемник

сможет это сделать лучше меня).

13И увидел я, что мудрость лучше глупости,

как и свет лучше тьмы.

14Мудрый ясно видит куда идёт,

а глупый блуждает во тьме.

Но я понял,

что их обоих ждёт одна участь.

15Затем я сказал себе:

«Участь глупого постигнет и меня,

так к чему же мне моя мудрость?»

И я сказал себе,

что и это пустое.

16Потому что мудрого, так же как и глупого,

не будут помнить вечно;

придёт время – забудут обоих.

Мудрый умирает, как и глупый!

Пустота человеческого труда

17И возненавидел я жизнь, потому что печальным показался мне всякий труд, который делается под солнцем. Всё – пустое, всё – погоня за ветром. 18Я возненавидел всё, ради чего трудился под солнцем, потому что всё это я должен оставить тому, кто придёт после меня. 19И кто знает, будет ли он мудрым или глупым? А ведь он будет управлять всем, что я приобрёл под солнцем тяжёлым трудом и мудростью. И это тоже пустое.

20И сердце моё впало в отчаяние от всего труда, который я делал под солнцем, 21потому что человек может трудиться с мудростью, знанием и умением, а затем должен оставить всё тому, кто палец о палец не ударил. И это – пустое, это – большая несправедливость. 22Что приобретает человек от всего своего труда и переживаний под солнцем? 23Все дни труда его – боль и скорбь, и даже ночью разум его не знает покоя. Это тоже пустое.

24Нет ничего лучше для человека, чем есть, пить и находить наслаждение в труде. Я понял, что и это даёт рука Всевышнего, 25ведь кто без Него может есть и наслаждаться? 26Человеку, который угоден Ему, Он даёт мудрость, знание и счастье, а грешнику – бремя: собирать и копить богатство, чтобы передать его тому, кто угоден Всевышнему. И это – пустое, это – погоня за ветром.