Omubuulizi 11 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 11:1-10

Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo

1Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya,

kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.

2Gabiranga musanvu weewaawo munaana,

kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.

3Ebire bwe bijjula amazzi,

bitonnyesa enkuba ku nsi;

n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono,

mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.

4Oyo alabirira embuyaga talisiga;

n’oyo atunuulira ebire talikungula.

5Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,

oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;

bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda

Omutonzi wa byonna by’akola.

6Ku makya siga ensigo zo,

n’akawungeezi toddiriza mukono gwo;

kubanga tomanyi eziryala,

zino oba ziri,

oba zombi ziriba nnungi.

7Ekitangaala kirungi,

era okulaba ku musana kisanyusa.

8Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi,

agisanyukirengamu gyonna,

naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza

nnyingi ezijja.

Ebyo byonna ebijja butaliimu.

9Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,

n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;

tambulira mu makubo g’omutima gwo

ne mu kulaba kw’amaaso go.

Naye manya nga mu byonna,

Katonda agenda kukusalira omusango.

10Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima

era weggyeko emitawaana mu ggwe,

kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.