Omubuulizi 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 1:1-18

Obutaliimu bw’Amagezi g’Abantu

1Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.

2“Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi.

Byonna butaliimu.

3Omuntu afuna ki mu byonna by’akola,

mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?

4Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja,

naye ensi ebeerera emirembe gyonna.

5Enjuba evaayo era n’egwa,

ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.

6Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo,

ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono;

empewo yeetooloola ne yeetooloola,

n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.

7Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja,

naye ennyanja tejjula;

ekifo emigga gye gikulukutira

era gye gyeyongera okukulukutira.

8Ebintu byonna bijjudde obukoowu

omuntu bw’atasobola kutenda!

Eriiso terimatira kulaba,

wadde okutu okukoowa okuwulira.

9Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo,

n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa;

era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.

10Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti,

“Laba kino kiggya”?

Kyaliwo dda

mu mirembe egyatusooka?

11Tewali kujjukira bintu byasooka

era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.

Amagezi Agatali ga Katonda Butaliimu

12Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi. 13Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya. 14Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.

15Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa,

n’ekibulako tekibalibwa.

16Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.” 17Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.

18Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi;

amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.