Oluyimba 5 – LCB & OL

Luganda Contemporary Bible

Oluyimba 5:1-16

Owoomukwano

1Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;

nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.

Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,

Nywedde wayini wange n’amata gange.

Abemikwano

Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.

Omwagalwa

2Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.

Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,

“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,

owe wange ataliiko bbala,

kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,

n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”

3Nziggyeko ekkooti yange,

nnaagyambala ntya nate?

Nanaabye ebigere,

nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?

4Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo,

omutima gwange ne gubuukabuuka.

5Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange,

emikono gyange nga gitonnya mooli,

n’engalo zange nga zikulukuta mooli,

ku minyolo gy’ekufulu.

6Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange,

naye muganzi wange ng’avuddewo,

yeetambulidde.

Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.

Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.

7Abakuumi baansanga

bwe baali nga balawuna mu kibuga;

baankuba, ne bandeetako ebinuubule,

ne batwala n’ekyambalo kyange,

abasajja abo abakuuma bbugwe.

8Mmwe abawala ba Yerusaalemi,

mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,

mumutegeeze ng’okwagala kwange

gy’ali bwe kunzita.

Abemikwano

9Owange, kiki muganzi wo ky’alina

kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi?

Kiki muganzi wo kyasinza abalala

n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?

Omwagalwa

10Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu,

atabula ne mu bantu omutwalo.

11Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo;

n’enviiri ze zirimu amayengo,

era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.

12Amaaso ge gali ng’amayiba

ku mabbali g’emigga egy’amazzi,

agaanaazibwa n’amata,

ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.

13Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo,

obuleeta akaloosa akalungi.

Emimwa gye giri ng’amalanga

agakulukuta mooli.

14Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu

egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo.

Omubiri gwe guli ng’amasanga

amayooyote agatoneddwa ne safiro.

15Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira

ezisimbibwa mu zaabu ennungi.

Mu ndabika afaanana Lebanooni

omulungi ng’emivule gyayo.

16Enjogera ye mpomerevu,

weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.

Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;

mmwe abawala ba Yerusaalemi.

O Livro

Cântico de Salomão 5:1-16

Ele

1Cá estou eu no meu jardim, minha querida esposa!

Colhi a minha mirra e as minhas especiarias.

Comi o meu favo com o mel.

Bebi o meu vinho e o meu leite.

As filhas de Jerusalém:

Oh! Querido e amado, come e bebe!

Sim, bebe abundantemente!

Ela

2Uma noite, estava eu a dormir,

o meu coração acordou, num sonho.

É que ouvi a voz do meu amor,

que estava a bater à porta do meu quarto:

“Abre, minha querida, minha amada!

Minha pomba sem defeito!

Passei a noite toda fora

e estou coberto de orvalho.”

3Mas eu respondi-lhe:

“Já me despi, iria vestir-me de novo?

Já lavei os pés, iria tornar a sujá-los?”

4O meu amor tentou abrir, ele próprio, o fecho da porta

e as minhas entranhas estremeceram por amor dele.

5Saltei, por fim, da cama para lhe abrir.

As minhas mãos destilavam mirra,

quando puxei a fechadura da porta.

6Abri, então, ao meu amado,

mas ele já se tinha ido embora.

O meu coração parou de bater.

Busquei-o por toda a parte, sem o encontrar.

Chamei por ele, mas não obtive resposta.

7Os guardas, que faziam a ronda na cidade,

viram-me e espancaram-me, deixando-me ferida;

a sentinela da muralha rasgou-me o manto.

8Conjuro-vos, ó filhas de Jerusalém,

que se encontrarem o meu amor

lhe digam que estou doente de amor.

As filhas de Jerusalém:

9Ó mulher de rara beleza,

que tem o teu amado mais do que qualquer outro,

para que nos peças tal coisa?

Ela

10O meu querido tem uma pele de cor saudável;

é elegante e melhor do que dez mil outros mais!

11A sua cabeça é como ouro puríssimo;

tem os cabelos ondulados e pretos retintos.

12Os seus olhos são duas pombas,

junto a uma corrente de águas límpidas e calmas.

13As suas faces são um canteiro de especiarias;

os seus lábios, perfumados,

são como lírios que gotejassem mirra!

14Os seus braços parecem argolas de ouro engastadas de topázios;

o seu corpo é como esplêndido marfim,

escrustado de safiras.

15As sua pernas, é como se fossem pilares de mármore,

assentes em bases de ouro puro,

parecem-se com os maravilhosos cedros do Líbano;

não têm rival!

16O seu falar é doce!

Sim, é todo desejável!

Tal é o meu amado, o meu amigo,

ó filhas de Jerusalém!