1Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna.
Omwagalwa
2Leka annywegere n’emimwa gye
kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,
3n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi;
erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa,
era abawala kyebava bakwagala.
4Baako ne gy’ontwala, yanguwa!
Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye.
Abemikwano
Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu;
era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo.
Omwagalwa
Nga batuufu okukwegomba!
5Ndi muddugavu, ndi mulungi,
Mmwe abawala ba Yerusaalemi
muli ng’eweema ez’e Kedali,1:5 Abantu b’e Kedali baali Bawalabu abaabeeranga mu bukiikaddyo obw’obuvanjuba wa Edomu. Baabeeranga mu weema ze baakolanga mu maliba g’embuzi enzirugavu.
era ng’entimbe za Sulemaani.
6Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu,
olw’okuba omusana gunjokezza.
Batabani ba mmange baansunguwalira;
ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu.
Ennimiro yange ngigayaaliridde.
7Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo,
ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu.
Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso
nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo?
Abemikwano
8Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi,
goberera ekkubo endiga lye zikutte,
ogende oliisize embuzi zo ento,
okumpi n’eweema z’abasumba.
Owoomukwano
9Omwagalwa wange,
nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo.
10Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu,
n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo.
11Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu,
nga birina amapeesa aga ffeeza.
Omwagalwa
12Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye,
akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi.
13Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli1:13 Mooli kaloosa kalungi nnyo akakolebwa okuva mu balusamu nga kasangibwa mu Esiyopya, ne mu Buyindi, ne mu nsi za Buwalabu. Mooli yakozesebwanga ng’obuwoowo mu biseera ebyo gye ndi,
ng’awummulidde mu kifuba kyange.
14Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera1:14 Kofera kimuli ky’akaloosa kalungi, era kikolebwamu obuwoowo.
ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi.1:14 Engedi nsulo y’amazzi esangibwa ku luuyi olw’obugwanjuba bw’Ennyanja ey’Omunnyo, era we luli wamerawo ebimera ebyakaloosa bingi.
Owoomukwano
15Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange
oli mubalagavu olabika bulungi.
Amaaso go mayiba.
Omwagalwa
16Olabika bulungi muganzi wange,
era onsanyusa.
Ekitanda kyaffe kya muddo muto.
Owoomukwano
17Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule,
n’enzooba zaffe nkanaga.
1Het hooglied van Salomon. 2Drenk mij met de kussen van uw mond; Want uw liefde is zoeter dan wijn. 3Heerlijk is de geur van uw balsem, Uw naam is het kostbaarst aroom. Daarom hebben de meisjes u lief. 4Neem mij mede, laat ons vluchten; Want de koning heeft mij in zijn vertrekken gebracht! Wij willen juichen, in u ons verblijden, Uw liefde roemen, hoger dan wijn, Terecht beminnen zij u! 5Wel ben ik donker, Maar toch nog schoon, Jerusalems dochters: Als de tenten van Kedar, De paviljoenen van Sjalma. 6Let er niet op, dat ik zwart ben, En van de zon ben verbrand; Want de zonen van mijn moeder waren boos op mij, En lieten mij de wijngaarden bewaken….Maar mijn eigen wijngaard bewaakte ik niet! 7Bericht mij toch, mijn zielsbeminde, Waar ge uw kudde laat weiden, Waar ge ze in de middag laat rusten? Want waarom zou ik gaan zwerven Bij de kudden uwer vrienden? 8Als ge het niet weet, Schoonste der vrouwen, Volg dan het spoor van de kudde, En hoed uw geiten Bij de tenten der herders. 9Met het span van Farao’s wagens Vergelijk ik u, liefste; 10Hoe bekoorlijk uw wangen tussen de hangers, Uw hals in de snoeren. 11Gouden hangers laten we u maken, Met plaatjes van zilver. 12Zolang de koning in zijn harem verbleef, Straalde mijn nardus haar geur. 13Want mijn beminde is mij een bundeltje mirre, Dat op mijn boezem blijft rusten; 14Mijn beminde is mij een cyper-tros, Van Engédi’s gaarden. 15Wat zijt ge verrukkelijk, mijn liefste, Uw ogen zijn duiven. 16Wat zijt ge verrukkelijk schoon, mijn beminde Ons rustbed is in het groen! 17De binten van ons paleis zijn ceders, Onze wanden cypressen.