Olubereberye 49 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 49:1-33

Yakobo Asabira Batabani be Omukisa

1Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.

2Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo,

muwulirize Isirayiri kitammwe.

3Lewubeeni ggwe mubereberye wange,

amaanyi gange, ebibala ebibereberye eby’amaanyi gange,

ekitiibwa n’obuyinza ebiyitirivu.

4Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,

kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo,

mu nnyumba yange, n’okyonoona.

5Simyoni ne Leevi baaluganda,

ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.

6Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe.

Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo.

Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu,

olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.

7Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;

n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima.

Ndibaawula mu Yakobo,

ndibasaasaanya mu Isirayiri.

8Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga.

Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo.

Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga.

9Yuda, mwana w’empologoma.

Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.

Yakutama, yabwama ng’empologoma.

Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?

10Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,

okutuusa Siiro lw’alijja;

era oyo amawanga gonna

gwe ganaawuliranga.

11Alisiba endogoyi ku muzabbibu,

n’omwana gw’endogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi,

ayoza ebyambalo bye mu nvinnyo,

n’engoye ze mu musaayi gwe zabbibu.

12Amaaso ge galimyuka wayini,

n’amannyo ge galitukula okusinga amata.

13Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;

anaabanga mwalo gw’amaato,

ensalo ze ziriba ku Sidoni.

14Isakaali ndogoyi ya maanyi,

ng’akutama wakati mu bisibo by’endiga;

15yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;

nga n’ensi esanyusa;

n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula,

n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.

16Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be

ng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri.

17Ddaani anaaba musota mu kkubo,

essalambwa ku kkubo,

eriruma ebisinziiro by’embalaasi,

omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo.

18Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.

19Gaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi,

naye ye, alibafubutukira emabega.

20Aseri emmere ye eneebanga ngimu,

era anaagemuliranga kabaka ebyokulya.

21Nafutaali mpeewo ya ddembe,

avaamu ebigambo ebirungi.

22Yusufu lye ttabi eribala ennyo,

ettabi eribala ennyo eriri ku mugga;

abaana be babuna bbugwe.

23Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,

baamulasa ne bamulumya nnyo;

24naye omutego gwe ne gunywera,

n’emikono gye ne gitasagaasagana.

Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo,

olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,

25olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,

olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa,

omukisa oguva waggulu mu ggulu,

omukisa ogwa wansi mu buziba,

omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.

26Omukisa gwa kitaawo

gusinga omukisa gwa bajjajjange,

gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda.

Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu,

gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.

27Benyamini musege ogunyaga,

mu makya alya omuyiggo,

mu kawungeezi n’agaba omunyago.

28Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.

Okufa kwa Yakobo

29Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 30mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu. 31Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya. 32Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”

33Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.