Olubereberye 48 – LCB & CARST

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 48:1-22

Yakobo Asabira Batabani ba Yusufu Omukisa

1Oluvannyuma Yusufu n’ategeezebwa nti, “Laba, kitaawo mulwadde.” Bw’atyo n’atwala batabani be Manase ne Efulayimu; 2Yakobo n’ategeezebwa nti, “Mutabani wo azze okukulaba.”

Awo Yakobo ne yeekakaba ku kitanda kye n’atuula. 3N’agamba Yusufu nti, “Katonda Ayinzabyonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani n’ampa omukisa. 4N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’

5“Kale kaakano batabani bo bombi abaakuzaalirwa mu Misiri nga sinnajja, bange; Efulayimu ne Manase baliba bange nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali. 6N’abo abaakuzaalirwa oluvannyuma lwabwe baliba babo, banaayitibwa amannya ga baganda baabwe mu mugabo gwabwe. 7Kubanga bwe najja ng’ava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri n’anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.”

8Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?”

9Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.”

N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”

10Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.

11Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”

12Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi. 13Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza. 14Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.

15N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,

“Katonda wa jjajjange

Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,

Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna

okutuusa leero,

16Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,

owe omukisa abalenzi bano.

Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo

era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.

Era bafuuke ekibiina ekinene

mu maaso g’ensi.”

17Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18N’agamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.”

19Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.” 20Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti,

“Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti,

‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ”

Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase.

21Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo. 22Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Начало 48:1-22

Якуб благословляет своих внуков – Манассу и Ефраима

1Некоторое время спустя Юсуфу сказали:

– Твой отец болен, – и он взял с собой двух своих сыновей, Манассу и Ефраима.

2Якубу сказали:

– К тебе пришёл твой сын Юсуф, – и Исроил собрался с силами, приподнялся и сел на постели.

3Якуб сказал Юсуфу:

– Бог Всемогущий явился мне в Лузе, в земле Ханона, благословил меня 4и сказал мне: «Я сделаю тебя плодовитым, размножу тебя, произведу от тебя множество народов и дам эту землю в вечное владение твоим потомкам».

5Отныне двое твоих сыновей, рождённых тебе в Египте до моего прихода, станут моими. Ефраим и Манасса будут моими, как Рувим и Шимон; 6дети же, рождённые у тебя после них, будут твоими, они унаследуют часть земли из доли своих братьев – Ефраима и Манассы. 7Когда я возвращался из Паддана48:7 То есть из северо-западной Месопотамии., Рахиля, к горю моему, умерла в земле Ханона, когда мы были ещё в пути, недалеко от Ефрафы. Поэтому я похоронил её там, у дороги в Ефрафу (то есть Вифлеем).

8Увидев сыновей Юсуфа, Исроил спросил:

– Кто это?

9Юсуф ответил отцу:

– Это сыновья, которых Всевышний дал мне здесь.

И тот сказал:

– Подведи их ко мне, чтобы мне благословить их.

10Глаза Исроила ослабли от старости, он почти ослеп. Юсуф подвёл сыновей поближе к своему отцу, и тот поцеловал и обнял их.

11Исроил сказал Юсуфу:

– Я и не мечтал вновь увидеть тебя, а Всевышний дал мне увидеть даже твоих детей.

12Юсуф отвёл их от колен Исроила и поклонился ему лицом до земли. 13Потом Юсуф поставил Ефраима справа от себя, по левую руку от Исроила, а Манассу слева от себя, по правую руку от Исроила, и подвёл их ближе к отцу. 14Но Исроил протянул правую руку и возложил её на голову Ефраима, хотя он и был младше, а левую, перекрестив руки, он возложил на голову Манассы, хотя Манасса был первенцем.

15Потом он благословил Юсуфа и сказал:

– Всевышний, перед Которым ходили

отцы мои Иброхим и Исхок,

Всевышний, Который был защитником48:15 Букв.: «пастухом». Всевышний здесь сравнивается с пастухом, который любит и не оставляет своих овец и который готов положить за них жизнь. моим

всю мою жизнь до сего дня,

16Ангел, Который берёг меня от всякого зла, –

да благословит этих детей.

Пусть продолжится в них моё имя

и имена моих отцов Иброхима и Исхока,

и пусть многочисленно будет их потомство на земле.

17Когда Юсуф увидел, что отец возложил правую руку на голову Ефраима, он огорчился и взял отца за руку, чтобы переложить её с головы Ефраима на голову Манассы.

18Юсуф сказал ему:

– Нет, отец, вот этот – первенец; положи правую руку на его голову.

19Но отец отказался и сказал:

– Я знаю, мой сын, я знаю. От него тоже произойдёт народ, и он тоже станет велик. Но его младший брат будет выше него, и его потомки станут множеством народов.

20И он благословил их в тот день и сказал:

– Ваши имена народ Исроила будет произносить как благословение, говоря: «Да сделает тебя Всевышний подобным Ефраиму и Манассе».

Так он поставил Ефраима впереди Манассы.

21И Исроил сказал Юсуфу:

– Я умираю, но Всевышний будет с вами и возвратит вас в землю ваших отцов. 22Я отдаю тебе, как высшему среди братьев, лишний горный кряж48:22 Лишний горный кряж – или: «город Шахем». Много веков спустя останки Юсуфа были захоронены в Шахеме (см. Иеш. 24:32)., который я отвоевал у аморреев мечом и луком.