Olubereberye 30 – LCB & BDS

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 30:1-43

Batabani ba Biira ne Zirupa

1Laakeeri bwe yalaba nga tazaalidde Yakobo baana, n’akwatirwa muganda we obuggya; n’agamba Yakobo nti, “Mpa abaana oba si ekyo nzija kufa!”

2Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n’amugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?”

3Laakeeri kwe kumwanukula nti, “Omuweereza wange Biira wuuno, weetabe naye azaalire ku maviivi gange, ndyoke nfune abaana nga mpita mu ye.30:3 weetabe naye azaalire ku maviivi gange, ndyoke nfune abaana nga mpita mu ye. Empisa eyo yaleetebwa mu nnyumba ya Ibulayimu okuva mu bantu ab’omu buvanjuba.4N’alyoka amuwa omuweereza we Biira okuba mukazi we, Yakobo ne yeetaba naye. 5Biira n’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi.

6Awo Laakeeri n’agamba nti, “Katonda ankoze bulungi, n’awulira eddoboozi lyange, n’ampa omwana owoobulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani. 7Biira omuweereza omukazi owa Laakeeri n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri. 8Laakeeri n’alyoka agamba nti, “Nnwanye ne muganda wange okulwana okw’amaanyi era mpangudde;” omwana kyeyava amutuuma Nafutaali.

9Awo Leeya bwe yalaba akomye okuzaala, n’addira omuweereza we Zirupa n’amuwa Yakobo abe mukazi we. 10Zirupa omuweereza wa Leeya n’alyoka azaalira Yakobo omwana owoobulenzi; 11Leeya n’agamba nti, “Guno mukisa gwennyini!” Kwe kumutuuma Gaadi.

12Ate Zirupa omuweereza wa Leeya n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri. 13Leeya n’agamba nti, “Neesiimye! Kubanga abakazi banampita wa mukisa;” kyeyava amutuuma Aseri.

14Lumu mu biseera eby’amakungula g’eŋŋaano Lewubeeni n’agenda mu nnimiro, n’anoga amadudayimu,30:14 Amadudayimu bibala ebiyamba ku luzaalo mu basajja n’abakazi. n’agaleetera nnyina Leeya. Laakeeri n’agamba Leeya nti, “Nkusaba ompe ku madudayimu g’omwana wo.” 15Kyokka ye n’amuddamu nti, “Okiyita kitono ggwe okunnyagako baze? Ate otwale n’amadudayimu g’omwana wange?” Laakeeri n’amugamba nti, “Kale anaaba naawe ekiro kino olw’amadudayimu g’omwana wo.”

16Yakobo bwe yakomawo okuva mu nnimiro akawungeezi, Leeya n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Weetabe nange, kubanga nkuguze n’amadudayimu g’omwana wange.” Kwe kwetaba naye.

17Katonda n’awulira Leeya, n’aba olubuto, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookutaano. 18Leeya n’agamba nti, “Katonda ansasudde empeera yange, kubanga nawa baze, omuweereza wange,” omwana kyeyava amutuuma Isakaali.

19Leeya n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo Omwana owoobulenzi ow’omukaaga. 20Leeya kwe kugamba nti, “Katonda ampadde ekirabo, kaakano baze anaabanga nange, kubanga muzaalidde abaana aboobulenzi mukaaga.” Ow’omukaaga kyeyava amutuuma Zebbulooni.

21Oluvannyuma n’azaala omwana owoobuwala, n’amutuuma Dina. 22Ate Katonda n’ajjukira Laakeeri, n’amuwulira n’aggula olubuto lwe. 23N’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi, Laakeeri n’agamba nti, “Katonda anziggyeeko okunyoomebwa;” 24n’amutuuma Yusufu, ng’agamba nti, “Mukama annyongere omwana omulenzi.”

Yakobo Ateesa ne Labbaani

25Laakeeri bwe yazaala Yusufu, Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Nsiibula, ŋŋende ewaffe mu nsi yaffe. 26Mpa bakazi bange n’abaana bange, be nkuweererezza, ondeke ŋŋende: kubanga omanyi okuweereza kwe nkuweerezza.”

27Labbaani kwe kumuddamu nti, “Nga bwe nfunye omukisa mu ggwe, nkusaba oleme kuva wano, kubanga ndabye nga Mukama yampa omukisa ku bubwo. 28Ntegeeza empeera yo nange ngikuwe.” 29Yakobo n’amuddamu nti, “Ggwe kennyini omanyi nti nkuweerezza era n’ensolo zo nga nzaazizza. 30Kubanga walina ntono nga sinnajja, naye zeeyongedde nnyo; era Mukama n’akuwa omukisa buli gye n’addanga. Naye kaakano nze ndikolera ddi ennyumba yange?”

31Labbaani kwe ku mubuuza nti, “Nkuwe ki?” Yakobo n’amuddamu nti, “Tojja kubaako ky’ompa, okuggyako okunkolera kino, ndyoke nneeyongere okulunda ekisibo kyo: 32nzikiriza mpite mu kisibo kyo leero, nziggyemu buli ndiga enkulu eza bugondo n’eza bitanga, n’endiga ento enzirugavu, n’embuzi eza bugondogondo n’ezabitanga mu mbuzi, era ezo ze zinaabeera empeera yange. 33Kale oluvannyuma lwa byonna obutuukirivu bwange bulimpolereza bw’olijja okukebera bw’onsasudde. Bw’olisanga embuzi yonna etali ya bugondogondo n’eya bitanga, oba endiga yonna enkazi enzirugavu eyo eribalibwa nti nnagikubbako.”

34Labbaani n’amuddamu nti, “Ekyo kirungi. Kale kibeere bwe kityo nga bw’ogambye.” 35Naye ekiro ekyo Labbaani n’aggya mu kisibo embuzi ennume eza biwuuga n’eza bitanga, n’embuzi enkazi zonna eza bugondogondo n’eza bitanga, buli eyalina ebbala eryeru, na buli ndiga nzirugavu n’aziwa abaana be bazirunde; 36nga beesudde ebbanga eritambulirwa ennaku ssatu okuva ku ye okutuuka ku Yakobo. Yakobo ye n’alunda ezo ezaasigalawo ku kisibo kya Labbaani.

37Awo Yakobo n’addira obuti bw’omulibine omubisi, n’obw’omusakedi, n’obw’omwalamoni n’abususumbulako ebikuta mu bukuubo. 38N’asimba obuti bw’asasambudde mu maaso g’ebisibo ku by’esero ensolo we zanyweranga. 39Bwe zajjanga okunywa ne ziwakiranga mu maaso g’obuti obwo, ne zizaalanga eza biwuuga, n’eza bugondogondo n’eza bitanga. 40Yakobo n’ayawula ento ne zibeera zokka. Naye endala n’azitunuza okwolekera eza biwuuga n’enzirugavu eza Labbaani. Bw’atyo ne yeekolera ebisibo eby’enjawulo, n’atagatta zize na za Labbaani. 41Buli nsolo enkazi ez’amaanyi bwe zaabanga zigenda okuwaka nga Yakobo ateeka ku by’esero obuti bwe buli okwolekera ensolo ezigenda okuwaka, ziwakire okumpi nabwo. 42Naye ku nsolo ennafu teyabutekangawo. Olwo ensolo ennafu ne zibanga za Labbaani, zo ez’amaanyi ne zibanga za Yakobo. 43Mu ngeri eyo Yakobo n’agenda ng’agaggawalira ddala nnyo, n’afuna ebisibo bingi ddala, wamu n’abaweereza abakazi n’abasajja; era n’afuna n’eŋŋamira n’embalaasi.

La Bible du Semeur

Genèse 30:1-43

1Lorsque Rachel vit qu’elle ne donnait pas d’enfant à Jacob, elle devint jalouse de sa sœur et elle dit à son mari : Donne-moi des enfants, sinon j’en mourrai.

2Jacob se fâcha contre elle et dit : Est-ce que je suis à la place de Dieu, lui qui t’empêche d’avoir des enfants ?

3– Alors, suggéra-t-elle, voici ma servante Bilha, unis-toi à elle pour qu’elle ait un enfant dont elle accouchera sur mes genoux, et j’aurai, moi aussi, un enfant par son intermédiaire30.3 Tradition de l’Orient antique, adoptée dans la famille d’Abraham (16.2)..

4Elle lui donna donc Bilha, sa servante, pour femme, et Jacob s’unit à elle. 5Bilha devint enceinte et donna un fils à Jacob. 6Rachel s’écria : Dieu a défendu mon droit. Et même, il m’a exaucée et m’a donné un fils.

C’est pourquoi elle l’appela Dan (Il juge). 7Puis Bilha, sa servante, devint de nouveau enceinte et donna un second fils à Jacob. 8Rachel dit : J’ai livré un combat divin contre ma sœur ; et j’ai vaincu.

Elle nomma ce fils Nephtali (Il lutte).

9Quand Léa vit qu’elle s’était arrêtée d’avoir des enfants, elle prit sa servante Zilpa et la donna à Jacob pour femme. 10Zilpa donna un fils à Jacob. 11Et Léa dit : Quelle chance !

Et elle le nomma Gad (Chance). 12Puis Zilpa donna un second fils à Jacob. 13Léa s’écria : Que je suis heureuse ! Car les femmes me diront bienheureuse.

Et elle l’appela Aser (Bienheureux).

14Au temps de la moisson des blés, Ruben sortit dans les champs et il trouva des mandragores, il les apporta à sa mère. Rachel dit à Léa : Donne-moi, s’il te plaît, quelques-unes des mandragores30.14 Fruits auxquels certains attribuent encore aujourd’hui le pouvoir de favoriser la fécondité. que ton fils a apportées.

15Léa lui répondit : Est-ce qu’il ne te suffit pas de m’avoir pris mon mari ? Il faut que tu prennes encore les mandragores de mon fils ?

Rachel lui dit : Eh bien ! Jacob couchera avec toi cette nuit en échange des mandragores de ton fils.

16Le soir, quand Jacob revint des champs, Léa sortit à sa rencontre et lui dit : Tu viendras vers moi cette nuit, car je t’ai obtenu au prix des mandragores de mon fils.

Il coucha donc avec elle cette nuit-là. 17Et Dieu exauça Léa : elle devint enceinte et donna un cinquième fils à Jacob.

18Elle dit : Dieu m’a payé mon salaire pour avoir donné ma servante à mon mari.

Et elle appela ce fils Issacar (Homme de salaire). 19Elle fut de nouveau enceinte et donna un sixième fils à Jacob.

20– Dieu m’a accordé un riche présent, s’écria-t-elle, désormais mon mari m’honorera, puisque je lui ai donné six fils.

Et elle appela cet enfant Zabulon (Honneur30.20 Zabulon semble dériver d’un terme hébreu qui signifie prince.).

21Plus tard, elle eut une fille qu’elle nomma Dina.

22Alors Dieu intervint finalement en faveur de Rachel, il l’exauça et lui accorda la possibilité d’avoir des enfants. 23Elle devint enceinte et donna naissance à un fils en disant : Dieu a enlevé ma honte.

24Elle le nomma Joseph (Il ajoute30.24 Le nom Joseph fait également assonance avec le verbe enlever du v. 23.) en priant : Que l’Eternel m’ajoute un autre fils !

Jacob s’enrichit

25Après la naissance de Joseph, Jacob dit à Laban : Laisse-moi retourner chez moi, dans mon pays. 26Donne-moi mes femmes – pour lesquelles j’ai travaillé chez toi – et mes enfants, et je m’en irai ; car tu sais bien comment j’ai travaillé pour toi.

27Laban lui dit : Si tu veux bien me faire une faveur, reste ici. J’ai appris par divination que c’est à cause de toi que l’Eternel m’a béni. 28Et il ajouta : Fixe-moi ton salaire, et je te le donnerai.

29Jacob lui dit : Tu sais toi-même comment je t’ai servi, et ce que ton cheptel est devenu grâce à moi. 30Car tu avais bien peu de chose à mon arrivée, mais tes biens se sont considérablement accrus. L’Eternel t’a béni depuis que je suis chez toi. Mais à présent, il est temps que je travaille moi aussi pour ma propre famille.

31Laban lui demanda : Que faut-il te donner ?

– Tu n’auras rien à me donner, répondit Jacob. Si tu acceptes ma proposition, je continuerai à paître tes troupeaux et à m’en occuper. 32Si tu veux, je passerai aujourd’hui tout ton troupeau en revue, je mettrai à part toutes les jeunes bêtes tachetées ou bigarrées : tous les agneaux de couleur foncée, ainsi que toutes les chèvres bigarrées ou tachetées. Ils constitueront mon salaire. 33Ainsi il te sera facile de contrôler mon honnêteté. Demain, tu viendras inspecter mon salaire : si tu trouves chez moi une chèvre qui ne soit pas tachetée ou bigarrée, ou un agneau qui ne soit pas de couleur foncée, tu pourras les considérer comme volés.

34Laban dit : D’accord ! Fais comme tu l’as dit.

35Mais le jour même, Laban retira du troupeau les boucs mouchetés ou bigarrés, toutes les chèvres tachetées ou bigarrées, tout ce qui était mêlé de blanc et tous les agneaux de couleur foncée, et il les remit entre les mains de ses fils. 36Puis il mit une distance de trois journées de marche entre lui et Jacob, lequel continua à s’occuper du reste de ses troupeaux.

37Jacob se procura des rameaux verts de peuplier, d’amandier et de platane et en pela l’écorce par endroits, laissant apparaître l’aubier blanc des branches. 38Il plaça ces rameaux sous les yeux des bêtes dans les auges et les abreuvoirs où elles venaient boire ; celles-ci entraient en chaleur en venant boire. 39Les bêtes s’accouplaient devant ces rameaux. Lorsqu’elles mettaient bas, leurs petits étaient mouchetés, tachetés ou bigarrés. 40Jacob sépara les agneaux. Dans le troupeau de Laban, il obtint de plus en plus de bêtes mouchetées et foncées30.40 Texte obscur en hébreu. Autre traduction : Il mettait les bêtes en face de celles qui étaient mouchetées et foncées dans le troupeau de Laban.. Il se constitua ainsi des troupeaux à lui, qu’il ne mêla pas à ceux de Laban. 41Chaque fois que des bêtes vigoureuses s’accouplaient, Jacob plaçait les rameaux sous leurs yeux dans les auges pour qu’elles s’accouplent devant les rameaux. 42Quand les brebis étaient chétives, il ne les mettait pas. Ainsi les bêtes chétives revenaient à Laban et les robustes à Jacob. 43De cette manière, ce dernier s’enrichit considérablement, il posséda de nombreux troupeaux, des servantes et des serviteurs, des chameaux et des ânes.