Olubereberye 29 – LCB & CARST

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 29:1-35

Olugendo lwa Yakobo

1Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n’atuuka mu nsi y’abantu b’ebuvanjuba. 2Bwe yatunula n’alaba oluzzi mu nnimiro, ng’ebisibo bisatu eby’endiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gw’oluzzi olwo lyali ddene, 3era ebisibo bwe byakuŋŋaananga, abasumba ne balyoka baliyiringisa okuliggya ku mumwa gw’oluzzi ne banywesa endiga; bwe zaamalanga ne balizzaako.

4Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”

5Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”

6N’abuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!”

7N’abagamba nti, “Mulabe, obudde bukyali bwa ttuntu, ekiseera tekinnatuuka okukuŋŋaanya ensolo awamu, muzinywese mulyoke mugende muzirunde.”

8Bo kwe kumuddamu nti, “Ekyo tetusobola kukikola ng’ebisibo byonna tebinnakuŋŋaanyizibwa, nga n’ejjinja terinaggyibwa ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tunywesa endiga.”

Yakobo Asisinkana Laakeeri

9Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n’atuuka n’endiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda. 10Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani. 11Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba. 12Yakobo n’alyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka n’ategeeza kitaawe.

13Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo. 14Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.” 15Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.”

16Labbaani yalina bawala be babiri; erinnya ly’omukulu nga ye Leeya ne ly’omuto nga ye Laakeeri. 17Leeya yali manafu, kyokka ye Laakeeri nga mulungi era nga w’amaanyi. 18Yakobo yayagala Laakeeri, era n’agamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza29:18 Anaawasa omugole ye yawangayo ebintu ebyogereza omuwala eri kitaawe w’omuwala (34:12). Kyokka bw’atabanga na kya kuwaayo, yapakasanga ewa kitaawe w’omuwala okumala ebbanga lye baalagaananga. emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri.”

19Labbaani kwe kumuddamu nti, “Kituufu okumuwa ggwe ne ssimuwa musajja mulala yenna. Beera nange.” 20Bw’atyo Yakobo n’akolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ng’ennaku obunaku gy’ali kubanga yamwagala nnyo.

21Awo Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Kale mpa mukazi wange, mmutwale, kubanga ekiseera kye twalagaana nkimazeeko.”

22Labbaani kwe kukuŋŋaanya abantu b’ekifo ekyo, n’akola embaga. 23Naye mu kiro Labbaani n’atwala muwala we Leeya n’amuwa Yakobo okumutwala okuba mukazi we.29:23 Abakazi abafumbo beebikkiriranga, nga n’amaaso tegalabika. 24Labbaani yali awadde Leeya Zirupa amuweerezenga.

25Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?” 26Labbaani n’amuddamu nti, “Mu nsi yaffe tekiri mu buwangwa bwaffe, omuto okusooka omukulu okufumbirwa. 27Sooka omale n’ono wiiki eno emu, n’oli tugenda kumukuwa; kyokka olimukolerera okumala emyaka emirala musanvu.”

28Ekyo Yakobo n’akikkiriza, n’amalako wiiki emu eyo, Labbaani n’alyoka amuwa Laakeeri muwala we okuba mukazi we. 29Labbaani n’awa Laakeeri Biira amuweerezenga. 30Yakobo n’atwala Laakeeri n’aba mukazi we; n’ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n’aweereza Labbaani emyaka egyo emirala omusanvu.

Abaana ba Yakobo

31Mukama bwe yalaba nga Leeya akyayibbwa n’aggula olubuto lwe. Laakeeri ye yali mugumba. 32Leeya n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Lewubeeni, ng’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.”

33N’aba olubuto olulala, n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; n’amutuuma erinnya Simyoni.” 34Ate n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi.

35Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala.

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Начало 29:1-35

Якуб у Лобона

1Якуб продолжил своё путешествие и пришёл в землю восточных народов. 2Там он увидел колодец в поле и возле него три отары овец, потому что из того колодца поили скот. Колодец был закрыт большим камнем. 3Когда все отары собирались, пастухи отваливали камень от колодца и поили овец, а потом клали камень на прежнее место.

4Якуб спросил пастухов:

– Братья, откуда вы?

– Мы из Харрана, – ответили они.

5Он сказал им:

– Знаете ли вы Лобона, внука Нахора?

– Да, знаем, – ответили они.

6Якуб спросил:

– Всё ли у него благополучно?

– Благополучно, – ответили они. – А вот и Рахиля, его дочь, идёт с овцами.

7– Солнце ещё высоко, – сказал он, – ещё не время собирать отары. Напоите овец и гоните их обратно на пастбище.

8– Мы не можем, – ответили они, – пока не соберутся все отары, и камень не отвалят от колодца; тогда мы напоим овец.

9Он ещё разговаривал с ними, когда подошла Рахиля с овцами отца: она пасла овец. 10Когда Якуб увидел Рахилю, дочь своего дяди Лобона, он подошёл, отвалил камень от колодца и напоил овец Лобона. 11Потом Якуб поцеловал Рахилю и, громко заплакав, 12сказал Рахиле, что он родственник её отца и сын Рабиги; она побежала и рассказала об этом отцу.

13Услышав о приходе своего племянника Якуба, Лобон выбежал навстречу, обнял его, поцеловал и привёл к себе в дом. Якуб рассказал ему обо всём, 14и Лобон сказал ему:

– Ты моя плоть и кровь.

История женитьбы Якуба

Когда Якуб прожил у него месяц, 15Лобон сказал ему:

– Хотя ты мне и родственник, почему ты должен работать на меня даром? Скажи мне, что тебе заплатить?

16А у Лобона были две дочери; старшую звали Лия, а младшую – Рахиля. 17Лия была не так красива, как Рахиля, а Рахиля была стройна и хороша собой. 18Якуб полюбил Рахилю, и он ответил:

– Я буду работать на тебя семь лет за твою младшую дочь Рахилю.

19Лобон сказал:

– Лучше я отдам её тебе, чем кому-то другому. Оставайся у меня.

20Якуб служил семь лет, чтобы получить Рахилю, но они показались ему как несколько дней, потому что он любил её.

21Потом Якуб сказал Лобону:

– Дай мне мою жену, чтобы мне жить с ней: пришёл мой срок.

22Лобон созвал всех окрестных жителей и устроил пир. 23Но когда настал вечер, он взял свою дочь Лию и дал её Якубу, и Якуб лёг с ней. 24Лобон дал в служанки дочери свою служанку Зелфу.

25Когда настало утро, оказалось, что это Лия. Якуб сказал Лобону:

– Что ты сделал со мной? Я же служил тебе за Рахилю! Почему ты обманул меня?

26Лобон ответил:

– У нас здесь нет обычая выдавать замуж младшую дочь раньше старшей. 27Заверши брачную неделю этой дочери, а потом мы дадим тебе и младшую, за другие семь лет работы.

28Якуб так и сделал: провёл неделю с Лией, а потом Лобон отдал ему в жёны свою дочь Рахилю. 29Лобон дал в служанки Рахиле свою служанку Билху. 30Якуб стал жить и с Рахилёй, и любил Рахилю больше, чем Лию. Он работал на Лобона ещё семь лет.

Дети Якуба

31Когда Вечный увидел, что Лия нелюбима, Он сделал её плодовитой, а Рахиля была бесплодна. 32Лия забеременела и родила сына. Она назвала его Рувим («Смотрите, сын!»), потому что сказала: «Это потому, что Вечный увидел моё несчастье29:32 На языке оригинала имя Рувим (Реувен) созвучно словам: «он увидел моё несчастье» (раа беонйи).. Теперь мой муж, конечно, будет меня любить».

33Она снова забеременела и, когда родила сына, сказала: «Так как Вечный услышал, что я нелюбима, Он дал мне ещё одного сына». И она назвала его Шимон («он услышал»).

34Она снова забеременела и, когда родила сына, сказала: «Теперь, наконец, мой муж привяжется ко мне, потому что я родила ему трёх сыновей». Поэтому его назвали Леви («он привяжется»).

35И снова она забеременела и, когда родила сына, сказала: «На этот раз я восхвалю Вечного». Поэтому она назвала его Иуда («хвала»). Потом она перестала рожать.