Olubereberye 15 – LCB & BDS

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 15:1-21

Endagaano ya Mukama ne Ibulaamu

1Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,

“Totya Ibulaamu,

Nze ngabo yo

era empeera yo ennene ennyo.”

2Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” 3Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”

4Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” 5N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”

6Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu. 7N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.” 8Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?” 9Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.”

10Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri. 11Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba.

12Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira. 13Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina. 14Naye ndibonereza eggwanga lye balikolera n’oluvannyuma balivaayo n’obugagga bungi. 15Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ng’owangaalidde ddala nnyo. 16Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.”

17Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino. 18Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: 19Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni, 20n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa, 21n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.”

La Bible du Semeur

Genèse 15:1-21

L’alliance de Dieu avec Abram

1Après ces événements, l’Eternel s’adressa à Abram dans une vision : Ne crains rien, Abram, lui dit l’Eternel, je suis ton bouclier protecteur, ta récompense sera très grande.

2Abram répondit : Eternel Dieu, que me donnerais-tu ? Je n’ai pas d’enfant, et c’est Eliézer de Damas qui héritera tous mes biens. 3Tu ne m’as pas donné de descendance, poursuivit-il, et c’est un serviteur attaché à mon service qui sera mon héritier.

4Alors l’Eternel lui parla en ces termes : Non, cet homme-là ne sera pas ton héritier : c’est celui qui naîtra de toi qui héritera de toi.

5Puis Dieu le fit sortir de sa tente et lui dit : Contemple le ciel et compte les étoiles, si tu en es capable. Et il ajouta : Tes descendants seront aussi nombreux qu’elles15.5 Voir Rm 4.18 ; Hé 11.12..

6Abram fit confiance à l’Eternel et, à cause de cela, l’Eternel le déclara juste15.6 Voir Rm 4.3 ; Ga 3.6 ; Jc 2.23.. 7Il lui dit : Je suis l’Eternel qui t’ai fait sortir d’Our des Chaldéens pour te donner ce pays en possession.

8– Seigneur Dieu, répondit Abram, comment aurai-je la certitude que je le posséderai ?

9Dieu lui dit : Va chercher une génisse, une chèvre et un bélier ayant chacun trois ans, une tourterelle et un jeune pigeon.

10Abram alla prendre ces animaux, les coupa tous en deux par le milieu, excepté les oiseaux, et pour chacun d’eux disposa les deux moitiés face à face15.10 Voir Ac 7.6-7. Les alliances étaient parfois scellées par un sacrifice dont les victimes étaient coupées en deux moitiés entre lesquelles passaient les contractants (voir Jr 34.18).. 11Des oiseaux de proie fondirent sur les bêtes mortes, mais Abram les chassa.

12Au moment où le soleil se couchait, une grande torpeur s’empara d’Abram et, en même temps, l’angoisse le saisit dans une profonde obscurité. 13Le Seigneur lui dit : Sache bien que tes descendants vivront en étrangers dans un pays qui ne leur appartiendra pas, on en fera des esclaves et on les opprimera pendant quatre cents ans15.13 Voir Ex 12.40 ; Ac 7.6.. 14Mais j’exécuterai mon jugement contre la nation qui les aura réduits en esclavage et ils quitteront le pays chargés de grandes richesses. 15Quant à toi, tu rejoindras en paix tes ancêtres, et tu seras enterré après une heureuse vieillesse. 16C’est seulement à la quatrième génération que tes descendants reviendront ici car, jusqu’à présent, les Amoréens n’ont pas encore mis le comble à leurs crimes.

17Lorsque le soleil fut couché et que l’obscurité fut totale, un tourbillon de fumée et une torche de feu passèrent soudain entre les animaux partagés. 18Ce jour-là, l’Eternel fit alliance avec Abram et lui dit : Je promets de donner à ta descendance tout ce pays, depuis le fleuve d’Egypte15.18 Frontière du pays d’Israël, du côté de l’Egypte (aujourd’hui : Wadi el-Arish). jusqu’au grand fleuve, l’Euphrate, 19le pays des Qéniens, des Qeniziens, des Qadmonéens, 20des Hittites, des Phéréziens, des Rephaïm, 21des Amoréens, des Cananéens, des Guirgasiens et des Yebousiens.