Olubereberye 11 – LCB & CARS

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 11:1-32

Omunaala gwa Babiri

1Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu. 2Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.

3Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. 4Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”

5Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. 6Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. 7Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”

8Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. 9Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.

Abaana n’abazzukulu ba Seemu

10Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu:

Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala11:10 n’azaala kiyinza okutegeeza jjajja Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba. 11Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

12Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano n’azaala Seera, 13Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

14Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Eberi, 15ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.

16Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena n’azaala Peregi. 17Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.

18Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo, 19bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

20Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi. 21N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

22Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli, 23bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

24Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera. 25Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

26Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.

Obuzaale bwa Ibulaamu

27Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera:

Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. 28Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. 29Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. 30Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.

31Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani,11:31 Kalani kibuga ekisangibwa mu Mesopotamiya, era ky’ekifo ekikulu awasinzibwa omwezi, ng’ekibuga ky’e Uli bwe kiri. ne babeera omwo.

32Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.

Священное Писание

Начало 11:1-32

Вавилонская башня

1Во всём мире был один язык и одно наречие. 2Двигаясь к востоку11:2 Или: «с востока»., люди вышли на равнину в Вавилонии и поселились там.

3Они сказали друг другу:

– Давайте сделаем кирпичи и обожжём их получше.

Кирпичи у них были вместо камня, а смола была вместо известкового раствора. 4Потом они сказали:

– Давайте построим себе город с башней до небес, чтобы прославить своё имя и не рассеяться по всей земле.

5Вечный сошёл посмотреть на город и башню, которые строили люди, 6и сказал:

– Все люди – один народ и у них один язык; вот они и затеяли такое; теперь не будет для них ничего невозможного. 7Сойдём же и смешаем им язык, чтобы они перестали понимать друг друга.

8И Вечный рассеял их оттуда по всему свету, и они перестали строить тот город. 9Вот почему он был назван Вавилоном («смешение»)11:9 На языке оригинала наблюдается игра слов: вавилонское баб-или («ворота бога») созвучно с еврейским глаголом «смешивать» (балал). – ведь Вечный смешал там язык всего мира. Оттуда Он рассеял их по всей земле.

Потомки от Сима до Ибрама

(1 Лет. 1:24-27)

10Вот родословие Сима.

Симу было сто лет, когда у него родился Арфаксад, через два года после потопа. 11После рождения Арфаксада Сим жил пятьсот лет, и у него были ещё сыновья и дочери.

12Когда Арфаксад прожил тридцать пять лет, у него родился Шелах. 13После рождения Шелаха Арфаксад жил четыреста три года, и у него были ещё сыновья и дочери.

14Когда Шелах прожил тридцать лет, у него родился Евер. 15После рождения Евера Шелах жил четыреста три года, и у него были ещё сыновья и дочери.

16Когда Евер прожил тридцать четыре года, у него родился Фалек. 17После рождения Фалека Евер жил четыреста тридцать лет, и у него были ещё сыновья и дочери.

18Когда Фалек прожил тридцать лет, у него родился Реу. 19После рождения Реу Фалек жил двести девять лет, и у него были ещё сыновья и дочери.

20Когда Реу прожил тридцать два года, у него родился Серуг. 21После рождения Серуга Реу жил двести семь лет, и у него были ещё сыновья и дочери.

22Когда Серуг прожил тридцать лет, у него родился Нахор. 23После рождения Нахора Серуг жил двести лет, и у него были ещё сыновья и дочери.

24Когда Нахор прожил двадцать девять лет, у него родился Терах. 25После рождения Тераха Нахор жил сто девятнадцать лет, и у него были ещё сыновья и дочери.

26После того как Терах прожил семьдесят лет, у него родились Ибрам, Нахор и Аран.

Родословие Тераха и его переселение с Халдейской земли в Харран

27Вот родословие Тераха.

У Тераха родились Ибрам, Нахор и Аран. У Арана родился Лут. 28Когда его отец Терах был ещё жив, Аран умер в Уре Халдейском, в земле, где он родился. 29Ибрам и Нахор взяли себе жён. Жену Ибрама звали Сара, а жену Нахора – Милка, она была дочерью Арана, отца Милки и Иски. 30Сара была бесплодна, и у неё не было детей.

31Терах взял своего сына Ибрама, своего внука Лута, сына Арана, и свою невестку Сару, жену Ибрама, и вместе они отправились из Ура Халдейского в Ханаан. Но дойдя до Харрана, они поселились там. 32Терах жил двести пять лет и умер в Харране.