Okuva 39 – LCB & SNC

Luganda Contemporary Bible

Okuva 39:1-43

Ebyambalo by’Obwakabona

1Awo ne bakola, mu wuzi eza bbululu; ne kakobe ne myufu, ebyambalo ebirukiddwa obulungi eby’okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera ne Alooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa.

Ekkanzu ey’obwakabona Ennyimpi Eyitibwa Efodi

2Awo ne bakola ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi mu wuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 3Ne baweesa zaabu ey’oluwewere, ne bagisala obulere ne babukozesa awamu n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi omulange, nga bikoleddwa mu majjolobera agakoleddwa n’obukugu. 4Ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne bagikolera eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, n’egattibwa bulungi. 5Ne bakola omusipi gwayo n’amagezi mangi ng’agaakola ekkanzu ey’obwakabona, n’ebyakozesebwa nga bye bimu. Ewuzi nga za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.

6Ne baddira amayinja ga onuku ne bagakwasiza mu mapeesa aga zaabu, ng’amayinja gawandiikiddwako, ng’empeta bw’ewandiikwako, amannya g’abaana ba Isirayiri. 7Ne bagakwasiza ku byokubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, okubeeranga amayinja g’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri; nga Mukama bwe yalagira Musa.

Ekyomukifuba

8Ne bakola ekyomukifuba, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, mu wuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu ne linena omulebevu omulange. 9Kyali kyenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri ne desimoolo ttaano nga kimaze okuwetebwamu wakati. 10Ne batungirako ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka bassaamu amayinja: sadiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 11ne mu lunyiriri olwokubiri bassaamu amayinja: nnawandagala, ne safiro ne alimaasi; 12ne mu lunyiriri olwokusatu bassaamu amayinja: jasinta, ne ageti, ne amesusito; 13ne mu lunyiriri olwokuna bassaamu amayinja: berulo, ne onuku, ne yasipero; ne gategekebwa mu fuleemu eya zaabu. 14Waaliwo amayinja ag’omuwendo kkumi n’abiri, nga ku buli limu kusaliddwako erimu ku mannya g’abaana ba Isirayiri. Gaasalibwa bulungi ng’obubonero obuwoolebwa nga ku buli limu kuliko erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.

15Ku kyomukifuba baakolerako enjegere ennange ng’emiguwa, nga za zaabu omuka; 16ne bakola fuleemu bbiri eza zaabu n’empeta bbiri eza zaabu; ne bassa empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 17Ne bayisa enjegere ebbiri mu mpeta ebbiri ezaali ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 18Ne baddira enjuuyi ebbiri ezaasigalawo ez’enjegere ne bazikwasiza ku fuleemu ebbiri, ne bazinywereza mu maaso g’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 19Era baakola empeta bbiri eza zaabu ne bazitunga ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba ku luuyi olw’omunda olwali luliraanye ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 20Ne bakolayo empeta endala bbiri eza zaabu ne baziteeka mu maaso mu bitundu byombi ebya wansi eby’eby’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi lw’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 21Baasiba empeta ez’oku kyomukifuba wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi n’akaguwa aka bbululu, ne bakagatta n’omusipi ekyomukifuba kireme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eya efodi. Byakolebwa nga Mukama bwe yalagira Musa.

Ebyambalo eby’Obwakabona Ebirala

22Baakola ekyambalo eky’omunda mu kkanzu ey’obwakabona eya efodi, nga kiruke era nga kya bbululu kyonna. 23Ne bassa ekituli wakati mu kyambalo omw’okuyisa omutwe. Ku kituli ekyo ne beetooloozaako omuge omuyonde ng’omuleera kireme okuyulika. 24Okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo wansi ne batungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange obulungi. 25Era ne bakola n’obude obwa zaabu omuka, ne bagenda nga babutobeka mu majjolobera; 26baatunga amajjolobera ne baddirizaako akade, ate ne batunga amajjolobera ne baddirizaako akade, okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo eky’okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa.

27Era ne bakolera Alooni n’abaana be amakooti agaalukibwa mu wuzi eza linena omulebevu omulungi. 28Ne bakola n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu omulungi, era n’enkuufiira ne bazikola mu linena omulebevu omulungi; ne bakola n’empale mu linena omulebevu omulungi omulange, 29n’omusipi mu linena omulebevu omulungi omulange ow’ewuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu nga zitungiddwa ng’omudalizo n’amagezi mangi; nga Mukama bwe yalagira Musa.

30Era ne bakola akapande ak’engule entukuvu mu zaabu omuka, ne bayolako ebigambo, nga bw’owandiika ku kabonero, nti:

Mutukuvu wa Mukama.

31Ne bakasibako akakoba akatunge obulungi aka bbululu, kakanywerezenga waggulu ku kitambaala ky’oku mutwe; nga Mukama bwe yalagira Musa.

Okumaliriza Omulimu gw’Eweema ya Mukama

32Bwe gutyo omulimu gwonna ogw’okukola Eweema ya Mukama, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne guggwa; ng’abaana ba Isirayiri bakoze ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. 33Awo Weema ya Mukama ne bagireetera Musa;

Eweema yonna ne byonna ebyali bigirimu: ebisiba byayo, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;

34ekibikkako eky’amaliba g’endiga amakunye amannyike mu langi emyufu, n’amaliba g’embuzi amakunye, n’eggigi ery’okutimba;

35essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira;

36emmeeza ne byonna ebigibeerako, n’emigaati egy’Okulaga;

37ekikondo ky’ettaala ekya zaabu omuka, n’ettaala zaako n’ebigenderako ebikozesebwa, n’amafuta gaazo;

38ekyoto ekya zaabu, amafuta ag’okwawula n’obubaane obw’akawoowo, n’olutimbe olw’omulyango oguyingira mu Weema;

39ekyoto eky’ekikomo n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo, emisituliro gyakyo ne byonna ebikozesebwako;

ebbensani ne ky’etuulamu;

40entimbe ez’oku bisenge, eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula, n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya,

emiguwa gyalwo n’enkondo zaalwo;

ne byonna ebikozesebwa olw’emirimu gy’omu Weema ya Mukama, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu;

41ebyambalo ebiruke obulungi ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.

42Nga Mukama bwe yalagira Musa mu byonna, bwe batyo abaana ba Isirayiri omulimu gwonna bwe baagukola. 43Awo Musa n’akebera omulimu gwonna, era n’alaba nga bagumalirizza. Nga Mukama bwe yalagira, nabo bwe batyo bwe baagukola. Awo Musa n’abasabira omukisa.

Slovo na cestu

2 Mojžíšova 39:1-43

1Z modrého pak postavce a šarlatu a červce dvakrát barveného udělali roucha k službě, k přisluhování v svatyni. Udělali i roucho svaté, kteréž by bylo Aronovi, jakž byl přikázal Hospodin Mojžíšovi. 2A udělal náramenník z zlata, postavce modrého a šarlatu, a červce dvakrát barveného, a bílého hedbáví přesukovaného. 3I nadělali plíšků zlatých, a nastříhali z nich nití, aby jimi províjeli skrze modrý postavec a šarlat, a červec dvakrát barvený a bílé hedbáví, dílem řemeslným. 4Náramky u něho udělali tak, aby se jeden s druhým spojiti mohl; na dvou krajích svých spojoval se. 5Přepásaní také náramenníka, kteréž bylo na něm, z týchž věcí bylo a týmž dílem, z zlata, postavce modrého a šarlatu a červce dvakrát barveného, a bílého hedbáví přesukovaného, jakž byl přikázal Hospodin Mojžíšovi. 6Přisadili i kamení onychinové, vložené a vsazené do zlata, řezané tak, jako ryty bývají pečeti, s jmény synů Izraelských. 7A vložil je na vrchní kraje náramenníku, aby byli kamenové pro pamět na syny Izraelské, jakž byl přikázal Hospodin Mojžíšovi. 8Udělal i náprsník dílem řemeslným, takovým dílem jako náramenník, z zlata, postavce modrého a šarlatu, a červce dvakrát barveného, a bílého hedbáví přesukovaného. 9Ètverhranatý byl; dvojnásobní udělali náprsník, na píd zdélí, a na píd zšíří, dvojnásobní. 10A vysadili jej čtyřmi řady kamení drahého pořádkem tímto: Sardius, topazius a smaragdus v řadu prvním; 11V řadu pak druhém karbunkulus, zafir a jaspis; 12A v řadu třetím linkurius, achates a ametyst; 13A v čtvrtém řadu chrysolit, onychin a beryl, vložení a vsazení do zlata v svém pořádku. 14Těch pak kamenů s jmény synů Izraelských bylo dvanácte vedlé jmen jejich, vyrytých, jako pečet ryta bývá, každý vedlé jména svého pro dvanáctero pokolení. 15Udělali i k náprsníku řetízky jednostejné, dílem točeným z zlata čistého. 16Udělali také dva haklíky zlaté, a dva kroužky zlaté, a připjali ty dva kroužky na dvou krajích náprsníku. 17A prostrčili dva řetízky zlaté skrze dva kroužky na krajích náprsníku. 18Druhé pak dva konce dvou řetízků vpjali do dvou těch haklíků, a dali je na vrchní kraje náramenníku po předu. 19Udělali též dva kroužky zlaté, kteréž dali na dva kraje náprsníku, na té obrubě jeho, kteráž byla po straně náramenníka po spodu. 20Udělali ještě dva jiné kroužky zlaté, kteréž dali na dvě strany náramenníka zespod po předu, proti spojení jeho, kteréž jest nad přepásaním náramenníka. 21I přivázali náprsník od kroužků jeho k kroužkům toho náramenníka tkanicí hedbáví modrého, aby byl nad přepásaním náramenníka, a aby neodevstával náprsník od náramenníka, jakž byl přikázal Hospodin Mojžíšovi. 22Udělal také plášť náležející k náramenníku, dílem vytkávaným, všecken z postavce modrého, 23A díru u prostřed pláště, jako díra v pancíři; okolek byl po kraji jejím vůkol, aby se neroztrhl. 24Udělali také na podolku pláště jablka zrnatá z postavce modrého a šarlatu, a červce dvakrát barveného, a bílého hedbáví přesukovaného. 25Nadělali i zvonečků z zlata čistého, a zzavěšovali zvonečky ty mezi jablky zrnatými u podolku pláště vůkol, u prostřed mezi jablky zrnatými; 26Zvonček a jablko zrnaté, opět za tím zvonček a jablko zrnaté u podolku pláště vůkol, k užívání toho při službě, jakž byl přikázal Hospodin Mojžíšovi. 27Potom udělali sukni z bílého hedbáví dílem vytkávaným, Aronovi a synům jeho. 28I čepici z bílého hedbáví, a klobouky ozdobné z bílého hedbáví, a košilky tenké z bílého hedbáví přesukovaného, 29Pás také z bílého hedbáví přesukovaného, a postavce modrého a šarlatu, a červce dvakrát barveného, dílem krumpéřským, jakž byl přikázal Hospodin Mojžíšovi, 30Udělali i plech koruny svaté z zlata čistého, a napsali na něm písmo dílem vyrývajících pečeti: Svatost Hospodinu. 31A dali do něho tkanici z hedbáví modrého, aby přivázán byl k čepici na hoře, jakž byl přikázal Hospodin Mojžíšovi. 32A tak dokonáno jest všecko dílo příbytku stánku úmluvy; a učinili synové Izraelští všecko, jakž přikázal Hospodin Mojžíšovi, tak učinili, 33A přinesli příbytek ten k Mojžíšovi, stánek i všecka nádobí jeho, háky jeho, dsky jeho, svlaky jeho, i sloupy jeho a podstavky jeho, 34Přikrytí také z koží skopových na červeno barvených, a přikrytí z koží jezevčích i oponu zastření, 35Truhlu svědectví s sochory jejími i slitovnici, 36Stůl, všecka nádobí jeho i chléb předložení, 37Svícen čistý, lampy jeho, lampy zpořádané, i všecka nádobí jeho, i olej k svícení, 38Též oltář zlatý a olej pomazání a kadidlo z vonných věcí a zastření ke dveřům stánku, 39Oltář měděný a rošt jeho měděný, sochory jeho a všecka nádobí jeho, i umyvadlo a podstavek jeho, 40Očkovaté koltry síně a sloupy k nim s podstavky jejich, i zastření k bráně té síně, provazy také její a kolíky i všecka nádobí k službě příbytku, k stánku úmluvy, 41Roucha k službě, k přisluhování v svatyni, roucho svaté Arona kněze i roucho synů jeho k konání úřadu kněžského. 42Vedlé všeho, což přikázal Hospodin Mojžíšovi, tak udělali synové Izraelští všecko to dílo. 43A viděl Mojžíš všecko to dílo, a aj, udělali je, jakž byl přikázal Hospodin, tak udělali. I požehnal jim Mojžíš.