Okuva 35 – LCB & CCL

Luganda Contemporary Bible

Okuva 35:1-35

Ebiragiro bya Ssabbiiti

1Awo Musa n’akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Bino bye bintu Mukama by’abalagidde okukola. 2Munaakolanga emirimu mu nnaku omukaaga; naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga Lwassabbiiti, lutukuvu, munaaluwummulanga awali Mukama. Buli anaakoleranga omulimu ku lunaku olwo anattibwanga. 3Temukumanga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku Lwassabbiiti.”

Ekiragiro ky’Eweema ya Mukama

4Musa n’agamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama ky’alagidde. 5Mutoole ku bye mulina muweeyo eri Mukama. Buli omu aweeyo, nga bw’ayagala mu mutima gwe ebiweebwayo eri Mukama:

“zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;

6n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi;

n’obwoya bw’embuzi,

7n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi;

n’embaawo z’omuti gwa akasiya,

8n’amafuta g’ettaala,

n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza,

9n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi era ne ku kyomukifuba.

10“Abo bonna mu mmwe abakugu mu kukola, muveeyo mujje mukole ebyo byonna Mukama by’atulagidde:

11“Eweema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa n’olugoye lwayo n’ekibikkako, n’ebisiba, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;

12essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo, n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, n’eggigi erigisiikiriza;

13emmeeza n’emisituliro gyayo ne byonna ebigibeerako, n’emigaati gya egy’Okulaga;

14ekikondo ky’ettaala n’ebigenderako, ettaala n’amafuta gaazo;

15ekyoto eky’okwoterezaamu obubaane n’emisituliro gyakyo; amafuta ag’okwawula, n’obubaane obw’akawoowo;

olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;

16ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo; emisituliro gyakyo ne byonna ebikozeserwako;

ebbensani ey’ekikomo ne ky’etuulako;

17entimbe ez’oku bisenge eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula; n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya;

18enkondo z’eweema n’ez’omu luggya n’emiguwa gyazo;

19ebyambalo ebiruke ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, bye byambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.”

Abantu Baleeta Ebirabo Byabwe

20Awo abantu bonna ab’ekibiina ky’abaana ba Isirayiri ne bava awali Musa ne bagenda. 21Buli eyayagala, era ng’omwoyo gwe bwe gwamukubiriza, n’awaayo eri Mukama eby’okukozesa Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebikozesebwamu byonna, n’eby’okukozesa ebyambalo ebitukuvu. 22Abasajja n’abakazi bonna abaayagala mu mitima gyabwe ne bajja; ne baleeta ebikwaso eby’omuwendo, empeta ez’omu matu, n’empeta ez’oku ngalo, n’ebikomo, n’ebirala ebya zaabu ebitali bimu; buli muntu n’awaayo ekirabo ekya zaabu eri Mukama. 23Era buli muntu eyalina olugoye olwa bbululu, oba olwa kakobe, oba olumyufu, oba olwa linena ennungi, oba olw’obwoya bw’embuzi; oba amaliba amakunye ag’endiga ensajja oba ag’embuzi, byonna ne babireeta. 24Buli omu eyalina eky’okuwaayo ekya ffeeza oba eky’ekikomo, yakireeta n’akiwaayo eri Mukama; era na buli musajja eyalina olubaawo olwa akasiya nga luyinza okugasa mu mulimu ogwali gukolebwa, yaluleeta n’aluwaayo. 25Abakazi bonna abaali bamanyi ennyo okulanga ewuzi, ne balanga n’engalo zaabwe ewuzi eza bbululu, n’eza kakobe, n’emyufu n’eza linena omuyonde obulungi, ne bazireeta ne baziwaayo. 26Era n’abakazi bonna abaali abakugu era nga beeyagalidde, ne balanga ewuzi mu bwoya bw’embuzi. 27Awo abakulembeze ne baleeta amayinja aga onuku, n’amayinja amalala ag’omuwendo, gasalibwe galyoke gatonebwe ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne ku ky’omu kifuba. 28Era ne baleeta n’ebyakaloosa, n’amafuta g’ettaala, n’amafuta ag’okwawula n’okukozesa ku bubaane. 29Abaana ba Isirayiri bonna, abasajja n’abakazi, abaalina omutima ogwagala okuleeta ekintu kyonna olw’omulimu Mukama gwe yali alagidde Musa okukolebwa, ne bakireeta ng’ekiweebwayo kyabwe kye baawaayo eri Mukama nga beesiimidde.

Bezaaleeri ne Okoliyaabu n’abakozi

30Awo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Muwulire. Mukama alonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda. 31Mukama amujjuzza Omwoyo we, n’obusobozi, n’amagezi, n’okuteteenkanya, n’okutegeera, awamu n’obukozi obwa buli ngeri; 32ayiiye amajjolobera ag’okukolebwa mu zaabu ne ffeeza ne mu kikomo; 33era n’ag’okusalwa mu mayinja ag’okutona, era n’ag’okwolebwa mu miti, n’okukola buli ngeri yonna ey’amagezi. 34Era ye ne Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, Mukama abawadde obusobozi okuyigiriza abalala. 35Abajjuzza amagezi ag’obukugu mu mitima gyabwe okukola eby’emikono ebya buli ngeri ng’ebikolebwa abayiiya amajjolobera, oba abasala amayinja, oba abatunzi b’emidalizo n’ebimuli mu wuzi eza bbululu, n’eza kakobe n’emyufu mu bitambaala ebya linena omulungi, oba abalusi, oba abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri n’abatetenkanya amajjolobera.”

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Eksodo 35:1-35

Malamulo Osunga Sabata

1Mose anasonkhanitsa gulu lonse la Aisraeli ndipo anawawuza kuti, “Zinthu zimene Yehova wakulamulirani kuti muzichite ndi izi: 2Muzigwira ntchito zanu pa masiku asanu ndi limodzi, koma tsiku la chisanu ndi chiwiri likhale la Sabata, tsiku lanu lopuma, lopatulika kwa Yehova. Aliyense amene adzagwira ntchito iliyonse pa tsikuli ayenera kuphedwa. 3Pa tsiku la Sabata musakoleze moto paliponse pamene mukhala.”

Zopereka ku Malo Opatulika

4Mose ananena kwa gulu lonse la Aisraeli kuti, “Zimene Yehova wakulamulirani ndi izi: 5Kuchokera pa zomwe muli nazo, mutenge chopereka cha Yehova. Aliyense amene ali ndi mtima wofuna kupereka abweretse kwa Yehova zopereka izi: Golide, siliva ndi mkuwa; 6nsalu zobiriwira, zapepo, zofiira, nsalu zofewa; ubweya wambuzi; 7zikopa za nkhosa zazimuna za utoto wofiira ndi zikopa za akatumbu; matabwa amtengo wa mkesha, 8mafuta anyale a olivi, zonunkhiritsa mafuta odzozera ndi zopangira lubani wonunkhira; 9miyala yokongola ya mtundu wa onikisi ndi ina yabwino yoyika pa Efodi ndi pa chovala cha pachifuwa.

10“Anthu onse aluso pakati panu abwere ndi kupanga zonse zimene Yehova walamula: 11Chihema ndi tenti yake ndiponso chophimba chake, ngowe zake, maferemu ake, mitanda yake, mizati yake ndi matsinde ake; 12Bokosi la Chipangano pamodzi ndi mitengo yake yonyamulira ndiponso chovundikira chake cha bokosilo ndi nsalu zophimba bokosilo; 13tebulo pamodzi ndi mitengo yake yonyamulira pamodzi ndi zipangizo zake zonse ndiponso buledi wokhala pamaso pa Yehova; 14choyikapo nyale yowunikira pamodzi ndi zipangizo zake, nyale ndi mafuta anyalezo; 15guwa lofukizira lubani pamodzi ndi mitengo yake yonyamulira, mafuta odzozera ndi lubani onunkhira; nsalu yotchinga pa khomo lolowera mʼchihema; 16guwa lansembe yopsereza pamodzi ndi sefa yamkuwa, mitengo yake yonyamulira ndi zipangizo zake zonse, beseni losambira lamkuwa ndi miyendo yake; 17nsalu yotchingira bwalo pamodzi ndi mizati yake ndi matsinde ake, ndiponso nsalu yotchingira pa khomo lolowera ku bwalo; 18zikhomo za tenti ya chihema ndiponso za bwalo, ndi zingwe zake; 19zovala zolukidwa zovala potumikira kumalo opatulika, zovala zopatulika za wansembe, Aaroni pamodzi ndi za ana ake aamuna pamene akutumikira monga ansembe.”

20Kenaka gulu lonse la Aisraeli linachoka pamaso pa Mose, 21ndipo aliyense amene anakhudzidwa mu mtima mwake nafuna kupereka, anabwera kudzapereka chopereka kwa Yehova cha ntchito yokonza tenti ya msonkhano, cha ntchito zonse za mʼtentimo ndi cha zovala zopatulika. 22Onse amene anali ndi mtima wofuna, amuna ndi amayi omwe anabwera kudzapereka zodzikometsera zagolide za mtundu uliwonse: zomangira zovala, ndolo, mphete ndi zokometsera. Onse anapereka golide wawo monga nsembe yoweyula pamaso pa Yehova. 23Aliyense amene anali ndi nsalu ya mtundu wa mtambo, yapepo kapena yofiira kapena yofewa, yosalala, kapena ubweya wambuzi, zikopa za nkhosa zonyika mu utoto wofiira kapena zikopa anazibweretsa. 24Onse amene anapereka chopereka cha siliva kapena mkuwa anabweretsa monga chopereka kwa Yehova. Ndipo aliyense amene anali ndi matabwa a mtengo wa mkesha kuti awagwiritse ntchito mbali ina iliyonse ya ntchitoyo, anabweretsa. 25Mayi aliyense waluso analuka ndi manja ake ndi kubweretsa chomwe analuka cha mtundu wa mtambo, chapepo kapena chofiira kapena chofewa, chosalala. 26Ndipo amayi onse amene anali ndi mtima wofuna ndipo anali ndi luso analuka ubweya wa mbuzi. 27Atsogoleri anabweretsa miyala ya onikisi ndi miyala yokongola yoyika pa efodi ndi chovala chapachifuwa. 28Anabweretsanso zonunkhiritsa ndiponso mafuta owunikira a olivi ndi odzozera ndi zofukizira zonunkhira. 29Aisraeli onse aamuna ndi aakazi amene anali ndi mtima wofuna, anabweretsa kwa Yehova chopereka chaufulu ku ntchito yonse ya Yehova imene analamulira kudzera mwa Mose kuti achite.

Bezaleli ndi Oholiabu

30Kenaka Mose anati kwa Aisraeli, “Taonani, Yehova wasankha Bezaleli mwana wa Uri, mwana wa Huri, wa fuko la Yuda, 31ndipo wamudzaza ndi Mzimu wa Mulungu kotero kuti ali ndi luso ndi nzeru zomvetsa zinthu, ndipo akudziwa bwino ntchito zonse zamanja monga izi: 32Kulemba ndondomeko ya ntchito zaluso ndi kupanga zinthu zagolide, zasiliva ndi zamkuwa, 33kusema ndi kuyika miyala yokongola, kukonza zinthu zamatabwa ndiponso kugwira ntchito ina iliyonse yamanja. 34Ndipo Iye wapereka kwa Bezaleli pamodzi ndi Oholiabu mwana wa Ahisamaki, wa fuko la Dani luso lophunzitsa ena. 35Mulungu wawapatsa maluso osiyanasiyana, maluso ogoba, olemba ndondomeko, opeta zokometsera pa nsalu zamtundu wamtambo, zapepo ndi zofiira ndiponso zofewa zosalala ndi zoluka. Onsewa ndi amisiri a ntchito zamanja ndi zokonza ndondomeko.