Okuva 30 – LCB & BPH

Luganda Contemporary Bible

Okuva 30:1-38

Ekyoto ky’Obubaane

1“Onookola ekyoto mu miti gya akasiya, okwoterezangako obubaane. 2Kya kwenkanankana, sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; era kinaabeera n’obugulumivu bwa sentimita kyenda. Kubeeko amayembe amakole mu muti ogw’ekyoto nga si mayungeko buyunzi. 3Ekyoto okiteekeko zaabu kyonna, waggulu ne mu mbiriizi, ne ku mayembe. Era kikolereko omuge ogwa zaabu okukyetooloola. 4Wansi w’omuge, mu mbiriizi z’ekyoto zombi, kolerawo empeta bbiri eza zaabu, okuyisaamu emisituliro gyakyo nga waliwo gye kitwalibwa. 5Emisituliro ogikole mu muti gwa akasiya, era ogiteekeko zaabu. 6Ekyoto kitereeze mu maaso g’eggigi awali essanduuko ey’endagaano, awali ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ekiri ku Ndagaano; awo we nnaakusisinkana.

7“Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bw’anajjanga okulongoosa ettaala. 8Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. 9Ku kyoto kino tojja kwoterezaako bubaane bulala, wadde ekiweebwayo ekyokebwa, newaakubadde eky’eŋŋaano era tojja kufukako ekiweebwayo eky’ekyokunywa. 10Alooni anaakolanga omukolo ogw’okulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga n’omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo.”

Ebiweebwayo mu Weema ya Mukama

11Awo Mukama n’agamba Musa nti, 12“Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu. 13Buli abalibwa ne yeegatta ku bamaze okubalibwa, anaawaangayo gulaamu mukaaga eri Mukama, ng’okubala okw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. Sekeri emu yenkanankana ne gera amakumi abiri. Gulaamu omukaaga zinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama. 14Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku b’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama. 15Abagagga tebaawengayo kusussa kitundu kya sekeri, n’omwavu taawengayo kitatuuka kitundu kya sekeri bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama olw’okwetangirira obulamu bwammwe. 16Ensimbi abaana ba Isirayiri ze banaakuwa onoozikozesanga ku mirimu gy’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kinaabanga ekijjukizo mu maaso ga Mukama, olw’okwetangirira obulamu bwammwe.”

Ebbensani Omunaabirwa

17Awo Mukama n’agamba Musa nti, 18“Onookola ebbensani enaabirwamu nga ya kikomo ne ky’etuulako nga kya kikomo. Giteeke wakati w’ekyoto n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu; osseemu amazzi. 19Alooni ne batabani be ge banaakozesanga okunaaba engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 20Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Era ne bwe banajjanga ku kyoto okuweereza nga bawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye n’omuliro, 21banaanaabanga engalo zaabwe n’ebigere byabwe, baleme okufa. Kino kinaabanga kiragiro eky’olubeerera eri Alooni n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

Amafuta ag’Okusiiga

22Awo Mukama n’agamba Musa nti, 23“Ddira ebyakawoowo bino eby’omuwendo: Kiro mukaaga ez’omugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu; 24ne kiro mukaaga eza kasiya, ne lita nnya ez’amafuta g’omuzeeyituuni; ng’ebipimo by’obuzito bw’omu Watukuvu bwe biri. 25Bino byonna obikolemu amafuta amatukuvu ag’okusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ng’ebikoleddwa omutabuzi w’eby’akawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu ag’okufukibwangako. 26Olyoke osiige n’amafuta ago Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano, 27n’emmeeza n’ebibeerako byonna, n’ekikondo ky’ettaala n’ebyakyo byonna, n’ekyoto eky’obubaane, 28n’ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ebikozesebwako, n’ebbensani ne kw’etuula. 29Obyawule bifuuke bitukuvu nnyo, era buli ekinaabikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.

30“Alooni ne batabani be onoobafukako amafuta, obaawule, balyoke bampeerezenga nga bakabona. 31Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu ag’okufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna. 32Tegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu. 33Omuntu yenna anaakolanga amafuta ga kalifuuwa okufaanana ne gano, oba anaafukanga gano ku muntu yenna atali kabona, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.’ ”

Ebyakaloosa

34Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ddira ebyakaloosa bino eby’omuwendo ennyo: sitakite, n’onuka, ne galabano, n’obubaane obuka, nga byenkanankana obuzito, 35Okolemu ebyakaloosa eby’omuwendo, bibe ng’ebikoleddwa omukugu w’ebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu. 36Onoggyako ekitundu n’okisa ne kifuuka lufufugge, n’okiteeka okwolekera Essanduuko ey’Endagaano mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gy’oli. 37Temwekoleranga ebyakaloosa ebyammwe ku bwammwe mu ntabula eno; bino binaabanga bitukuvu era nga bya Mukama. 38Omuntu yenna alikola ebibifaanana yeesanyuse olw’akaloosa kaabyo, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.”

Bibelen på hverdagsdansk

2. Mosebog 30:1-38

Røgelsesalteret

1Lav et alter af akacietræ til at brænde røgelse på. 2Alteret skal have en kvadratisk grundflade, 45 cm langt, 45 cm bredt og 90 cm højt, med horn i hjørnerne, som er udskåret i ét stykke med hjørnestolperne. 3Belæg alterets top, sider og horn med rent guld og sæt en pynteliste af guld hele vejen rundt. 4Under listen skal du fastgøre to guldringe på hver af de to sider til at sætte bærestængerne igennem. 5Stængerne skal laves af akacietræ og belægges med guld. 6Placer alteret lige uden for forhænget, som hænger foran pagtens ark med forsoningsstedet, hvor jeg vil åbenbare mig for dig.

7Hver morgen, når Aron kommer ind for at gøre lamperne i stand, skal han brænde vellugtende røgelse på alteret. 8Og hver aften, når han gør lamperne i stand, skal han igen brænde røgelse for Herren. Dette ritual skal udføres fra slægt til slægt. 9På det alter må I ikke ofre nogen anden form for røgelse, og heller ikke noget brændoffer, høstoffer eller drikoffer.

10Én gang om året skal Aron foretage en rituel rensning af alteret ved at smøre blod fra forsoningsofferet på alterets horn. Det skal være en fast årlig begivenhed, også for kommende slægter, for det er Herrens højhellige alter.”

Løsepenge som en tempelskat

11Endvidere sagde Herren til Moses: 12„Når du holder folketælling over Israels folk, skal alle registrerede personer give en løsesum for deres liv. På den måde undgår I at blive ramt af nogen katastrofe, når du tæller dem. 13Enhver, der registreres, skal betale ½ shekel,30,13 Shekel var en vægtenhed på ca. 10-12 gram afhængig af tidspunktet. På den tid havde man ikke mønter, men afvejede sølv eller guldstykker efter vægt som betaling. Sølvstykker var mest almindelige. som afvejes på officiel vægt. Det skal være en personlig afgift til Herren. 14Alle mænd over 20 år skal give Herren et sådant offer. 15De, som er rige, skal ikke betale mere, og de, som er fattige, skal ikke betale mindre end det fastsatte beløb, for det er et personligt forsoningsoffer til Herren. 16Brug de indkomne penge til at betale udgifterne ved tjenesten i åbenbaringsteltet. Det skal minde Herren om, at de har betalt løsesum for deres liv.”

Vaskefadet

17Herren fortsatte sin tale til Moses: 18„Lav et bronzefad med tilhørende stativ af bronze. Placer fadet mellem åbenbaringsteltet og brændofferalteret og fyld vand i det. 19Der skal Aron og hans sønner vaske deres hænder og fødder, 20før de går ind i åbenbaringsteltet, og før de ofrer brændofre til Herren. 21De skal altid vaske sig inden, og hvis ikke de gør det, skal de dø. Det er en vedvarende ordning, der skal gælde fra slægt til slægt for præsterne, der nedstammer fra Aron.”

Olien til brug ved salvningen

22Derpå sagde Herren til Moses: 23„Du skal samle de mest udsøgte aromatiske stoffer: seks kilo ren myrra, tre kilo vellugtende kanel, tre kilo citrongræs, 24seks kilo kassia (alt sammen afvejet efter officiel tempelvægt) samt fire liter olivenolie. 25Deraf skal du lave den aromatiske salveolie til brug i helligdommen. 26Med den skal du salve åbenbaringsteltet, pagtens ark, 27bordet og alle genstandene på det, lysestagen og de redskaber, der hører til betjeningen af lamperne, røgelsesalteret, 28brændofferalteret og alle de redskaber, der bruges ved ofringerne, samt bronzefadet og stativet. 29Derved bliver alle tingene indviet til Herren, og kun de indviede personer må røre ved dem. 30Også Aron og hans sønner skal salves med den særlige olie og på den måde indvies til præstetjenesten.

31Salveolien er hellig og skal bruges fra slægt til slægt. 32Den må kun bruges af præsterne, og I må ikke fremstille salveolie efter samme opskrift til privat brug. Olien er hellig og skal bruges som sådan.

33Hvis nogen tilbereder en lignende olie eller bruger en sådan olie på personer, der ikke er præsteviet, skal han udstødes af samfundet.”

Røgelsen

34Så sagde Herren til Moses: „Tag lige dele af aromatiske ekstrakter fra myrra, mollusk, gummiharpiks og virak, 35og lav en krydret røgelse efter røgelsesblandernes metode, saltet og indviet til helligt brug. 36Noget af røgelsen skal du støde til fint pulver og lægge det foran arken i åbenbaringsteltet, dér, hvor jeg vil vise mig for dig. Denne røgelse er højhellig. 37Lav aldrig en lignende røgelse efter samme opskrift til eget brug, for denne røgelse er udelukkende til brug for Herren. 38Hvis nogen laver en sådan røgelse for selv at nyde duften af den, skal han udstødes af samfundet.”