Okuva 3 – LCB & CCL

Luganda Contemporary Bible

Okuva 3:1-22

Okuyitibwa kwa Musa

1Awo olwatuuka, Musa bwe yali ng’alunda ekisibo ky’endiga za mukoddomi we Yesero, kabona w’e Midiyaani, n’atwala ekisibo ku ludda olw’ebugwanjuba olw’eddungu; n’atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu3:1 Kolebu Olusozi olwo era ye Sinaayi.. 2Malayika wa Mukama n’amulabikira ng’asinziira mu muliro ogwaka, mu makkati g’ekisaka. Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka naye nga tekisiriira. 3Musa n’ayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, eky’ekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.”

4Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa n’ayitaba nti, “Nze nzuuno.” 5Katonda n’amugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.” 6Ne yeeyongera n’amugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.”

Musa bwe yawulira ebyo n’akweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.

7Awo Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona kw’abantu bange abali mu Misiri. Mpulidde ebiwoobe byabwe olw’abo ababatuntuza ng’abaddu; era ntegedde okubonaabona kwabwe. 8Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi. 9Kale mpulidde okukaaba kw’abaana ba Isirayiri, era ndabye ng’Abamisiri bwe bababonyaabonya. 10Noolwekyo, jjangu nkutume ewa Falaawo, oggyeyo abantu bange abaana ba Isirayiri mu Misiri.”

11Naye Musa n’agamba Katonda nti, “Nange nze ani agenda ewa Falaawo nziggyeyo abaana ba Isirayiri mu Misiri?” 12Katonda n’amuddamu nti, “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.” 13Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”

14Katonda n’agamba Musa nti, “Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Ndi y’antumye gye muli.’ ”

15Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’

“Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera,

era lye linnya lye nnajjuukirirwangako

mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.

16“Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri, obategeeze nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira, n’aŋŋamba nti, Ntunuulidde abantu bange, ne ndaba ebibakolebwa mu Misiri. 17Kyenvudde nsuubiza okubaggya mu kubonaabona kwe balimu mu Misiri, mbaleete mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi; y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’

18“Abakadde ba Isirayiri bagenda kuwuliriza by’ogamba. Kale, ggwe n’abakadde ba Isirayiri muligenda eri kabaka wa Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda w’Abaebbulaniya yeeraga gye tuli. Tukkirize tugende mu ddungu, olugendo lwa nnaku ssatu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’ 19Naye mmanyi nga kabaka w’e Misiri talibakkiriza kugenda, wabula ng’awalirizibbwa n’amaanyi mangi. 20Kyendiva nkozesa amaanyi gange, ne mbonereza Misiri n’ebyamagero bye ndikolera mu nsi omwo; n’oluvannyuma alibakkiriza ne mugenda.

21“Era Abamisiri ndibaagazisa abantu abo; bwe mutyo bwe muliba musitula, temulivaayo ngalo nsa. 22Buli mukazi Omuyisirayiri alisaba omukazi Omumisiri muliraanwa we, n’oyo bwe basula mu nju emu, ebitemagana ebya ffeeza n’ebya zaabu, n’engoye ez’okwambala. Ebyo byonna mulibyambaza batabani bammwe ne bawala bammwe; Abamisiri ne muleka nga mubakalizza.”

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Eksodo 3:1-22

Kuyitanidwa kwa Mose pa Chitsamba Choyaka Moto

1Tsono Mose amaweta ziweto za mpongozi wake Yetero, wansembe uja wa ku Midiyani. Tsiku lina iye anazitsogolera kupita ku chipululu ndipo anafika ku phiri la Mulungu lotchedwa Horebu. 2Kumeneko mngelo wa Yehova anaonekera kwa iye mʼmalawi amoto mʼchitsamba. Mose anaona kuti ngakhale chitsambacho chimayaka koma sichimanyeka. 3Tsono Mose anati mu mtima mwake, “Ine ndipita komweko ndikaone zodabwitsazi, chitsamba sichikunyeka chifukwa chiyani?”

4Yehova ataona kuti Mose anapatuka kuti adzaonetsetse, Mulungu anamuyitana Mose kuchokera mʼchitsambamo nati, “Mose! Mose!”

Ndipo anayankha, “Wawa.”

5Mulungu anati, “Usayandikire kuno. Vula nsapato zako, pakuti malo amene wayimapo ndi opatulika.” 6Mulungu anati, “Ine ndine Mulungu wa makolo ako, Mulungu wa Abrahamu, Mulungu wa Isake, ndi Mulungu wa Yakobo.” Atamva zimenezi, Mose anaphimba nkhope yake chifukwa anaopa kuona Mulungu.

7Yehova anati, “Ine ndaona ndithu mazunzo a anthu anga amene ali ku Igupto. Ndamva kulira kwawo chifukwa cha anthu amene akuwapsinja, ndipo ndakhudzidwa ndi masautso awo. 8Choncho ndabwera kuti ndiwapulumutse mʼdzanja la Aigupto, kuwatulutsa mʼdzikolo ndi kukawalowetsa mʼdziko labwino ndi lalikulu, dziko loyenda mkaka ndi uchi, kwawo kwa Akanaani, Ahiti, Aamori, Aperezi, Ahivi ndi Ayebusi. 9Ine ndamva ndithu kulira kwa Aisraeli, ndipo ndaona mmene Aigupto akuwazunzira. 10Kotero tsopano, pita. Ine ndikukutuma kwa Farao kuti ukatulutse anthu anga, Aisraeli mʼdziko la Igupto.”

11Koma Mose anafunsa Mulungu, “Ine ndine yani kuti ndipite kwa Farao ndi kukatulutsa Aisraeli mʼdziko la Igupto?”

12Ndipo Mulungu anati, “Ine ndidzakhala nawe, ndipo ichi chidzakhala chizindikiro kwa iwe kuti ndine amene ndakutuma; Ukadzatulutsa anthu anga mʼdziko la Igupto, udzapembedza Mulungu pa phiri lino.”

13Mose anati kwa Mulungu, “Ngati ndipita kwa Aisraeli ndi kukawawuza kuti, ‘Mulungu wa makolo anu wandituma kwa inu,’ ndipo iwo nʼkukandifunsa kuti ‘Dzina lake ndi ndani?’ Tsono ine ndikawawuze chiyani?”

14Mulungu anati kwa Mose, “NDINE AMENE NDILI. Izi ndi zimene ukanene kwa Aisraeli: ‘NDINE wandituma kwa inu.’ ”

15Mulungu anatinso kwa Mose, “Ukanene kwa Aisraeli kuti ‘Yehova, Mulungu wa makolo anu, Mulungu wa Abrahamu, Mulungu wa Isake, ndi Mulungu wa Yakobo, wandituma kwa inu.’ Ili ndilo dzina langa mpaka muyaya, ndipo mibado ya mʼtsogolomo izidzanditchula ndi dzina limeneli.

16“Pita, ukawasonkhanitse akuluakulu a Israeli ndipo ukati kwa iwo, ‘Yehova, Mulungu wa makolo anu, Mulungu wa Abrahamu, Isake ndi Yakobo, anandionekera ndipo akuti Iye wadzakuyenderani ndipo waona mmene Aigupto akukuzunzirani. 17Choncho wanenetsa kuti adzakutulutsani mʼdziko la Igupto, dziko la masautsoli kupita ku dziko la Akanaani, Ahiti, Aamori Aperezi, Ahivi ndi Ayebusi, dziko loyenda mkaka ndi uchi.’

18“Akuluakulu a Israeli akakumvera. Kenaka iwe ndi akuluakuluwo mukapite kwa mfumu ya Igupto ndipo mukanene kuti, ‘Yehova, Mulungu wa Ahebri, wakumana nafe. Tsono tikukupemphani kuti mutilole tipite pa ulendo wa masiku atatu mʼchipululu kuti tikapereke nsembe kwa Yehova Mulungu wathu.’ 19Koma Ine ndikudziwa kuti mfumu ya Igupto sikakulolani kuti mupite pokhapokha Ine nditayikakamiza. 20Tsono Ine ndidzatambasula dzanja langa ndi kukantha Aigupto ndi zodabwitsa zanga zimene ndidzazichita pakati pawo. Zikadzatha izi, Iye adzakulolani kuti mupite.

21“Ndipo ine ndidzafewetsa mtima wa Aigupto pa anthu anga, kotero kuti mukadzatuluka simudzapita wopanda kanthu. 22Mkazi aliyense adzapemphe Mwigupto woyandikana naye ndiponso mkazi amene akukhala mʼnyumba yake, kuti amupatse ziwiya za siliva ndi golide ndiponso zovala zimene mudzaveka ana anu aamuna ndi aakazi. Ndipo potero mudzawalanda zonse Aiguptowo.”