Okuyitibwa kwa Musa
13:1 a Kuv 2:18 b 1Bk 19:8 c Kuv 18:5Awo olwatuuka, Musa bwe yali ng’alunda ekisibo ky’endiga za mukoddomi we Yesero, kabona w’e Midiyaani, n’atwala ekisibo ku ludda olw’ebugwanjuba olw’eddungu; n’atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu3:1 Kolebu Olusozi olwo era ye Sinaayi.. 23:2 a Lub 16:7 b Ma 33:16; Mak 12:26; Bik 7:30Malayika wa Mukama n’amulabikira ng’asinziira mu muliro ogwaka, mu makkati g’ekisaka. Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka naye nga tekisiriira. 3Musa n’ayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, eky’ekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.”
4Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa n’ayitaba nti, “Nze nzuuno.” 53:5 Lub 28:17; Yos 5:15; Bik 7:33*Katonda n’amugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.” 63:6 Kuv 4:5; Mat 22:32*; Mak 12:26*; Luk 20:37*; Bik 7:32*Ne yeeyongera n’amugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.”
Musa bwe yawulira ebyo n’akweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
73:7 Kuv 2:25Awo Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona kw’abantu bange abali mu Misiri. Mpulidde ebiwoobe byabwe olw’abo ababatuntuza ng’abaddu; era ntegedde okubonaabona kwabwe. 83:8 a Lub 50:24 b nny 17; Kuv 13:5; Ma 1:25 c Lub 15:18-21Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi. 93:9 Kuv 1:14; 2:23Kale mpulidde okukaaba kw’abaana ba Isirayiri, era ndabye ng’Abamisiri bwe bababonyaabonya. 103:10 Mi 6:4Noolwekyo, jjangu nkutume ewa Falaawo, oggyeyo abantu bange abaana ba Isirayiri mu Misiri.”
113:11 Kuv 6:12, 30; 1Sa 18:18Naye Musa n’agamba Katonda nti, “Nange nze ani agenda ewa Falaawo nziggyeyo abaana ba Isirayiri mu Misiri?” 123:12 Lub 31:3; Yos 1:5; Bar 8:31Katonda n’amuddamu nti, “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.” 13Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”
143:14 Kuv 6:2-3; Yk 8:58; Beb 13:8Katonda n’agamba Musa nti, “Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Ndi y’antumye gye muli.’ ”
153:15 Zab 135:13; Kos 12:5Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’
“Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera,
era lye linnya lye nnajjuukirirwangako
mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.
163:16 Kuv 4:29“Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri, obategeeze nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira, n’aŋŋamba nti, Ntunuulidde abantu bange, ne ndaba ebibakolebwa mu Misiri. 173:17 Lub 15:16; Yos 24:11Kyenvudde nsuubiza okubaggya mu kubonaabona kwe balimu mu Misiri, mbaleete mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi; y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’
183:18 a Kuv 4:1, 8, 31 b Kuv 5:1, 3“Abakadde ba Isirayiri bagenda kuwuliriza by’ogamba. Kale, ggwe n’abakadde ba Isirayiri muligenda eri kabaka wa Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda w’Abaebbulaniya yeeraga gye tuli. Tukkirize tugende mu ddungu, olugendo lwa nnaku ssatu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’ 193:19 Kuv 4:21; 5:2Naye mmanyi nga kabaka w’e Misiri talibakkiriza kugenda, wabula ng’awalirizibbwa n’amaanyi mangi. 203:20 a Kuv 6:1, 6; 9:15 b Ma 6:22; Nek 9:10; Bik 7:36 c Kuv 12:31-33Kyendiva nkozesa amaanyi gange, ne mbonereza Misiri n’ebyamagero bye ndikolera mu nsi omwo; n’oluvannyuma alibakkiriza ne mugenda.
213:21 a Kuv 12:36 b Zab 105:37“Era Abamisiri ndibaagazisa abantu abo; bwe mutyo bwe muliba musitula, temulivaayo ngalo nsa. 223:22 a Kuv 11:2 b Ez 39:10Buli mukazi Omuyisirayiri alisaba omukazi Omumisiri muliraanwa we, n’oyo bwe basula mu nju emu, ebitemagana ebya ffeeza n’ebya zaabu, n’engoye ez’okwambala. Ebyo byonna mulibyambaza batabani bammwe ne bawala bammwe; Abamisiri ne muleka nga mubakalizza.”