Okuva 28 – LCB & SNC

Luganda Contemporary Bible

Okuva 28:1-43

Ebyambalo by’Obwakabona

1“Muganda wo Alooni muyiteyo mu baana ba Isirayiri, awamu ne batabani be: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali, bajje bampeereze nga be bakabona. 2Muganda wo Alooni mutungire ebyambalo ebitukuvu, nga bya kitiibwa era nga birabika bulungi. 3Yogera n’abo bonna abasobola, be nawa ekirabo eky’amagezi mu mirimu egyo, bakolere Alooni ebyambalo mw’anaayawulirwa okubeera kabona wange. 4Bino bye byambalo bye banaakola: eky’omu kifuba, ekkanzu ey’obwakabona okutali mikono ennyimpi eyitibwa ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi; ng’ekoma mu ntumbwe; omunagiro; ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika; ekitambaala; n’olukoba. Bakolere Alooni ne batabani be ebyambalo ebitukuvu balyoke bampeereze nga be bakabona. 5Abakozi baweebwe ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange.

Ekkanzu eyitibwa Efodi

6“Abakozi abakugu bakole ekkanzu ey’obwakabona ennyimpi etaliiko mikono n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 7Ebeere n’eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, eryoke egattibwe bulungi. 8Omusipi gwayo mu kiwato gukolebwe n’amagezi mangi nga aganaakola ekkanzu ey’obwakabona, era n’ebinaakola bifaanagane, ng’ewuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa.

9“Oddire amayinja ga onuku abiri, ogalambeko amannya ga batabani ba Isirayiri, 10amannya mukaaga ku jjinja erimu, n’amannya g’abasigaddewo omukaaga ku jjinja eryokubiri, ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kugenda kuddiriragana. 11Olambe amannya ga batabani ba Isirayiri ku mayinja ago abiri ng’omusazi w’amayinja bw’ayola akabonero ku jjinja; ogateeke mu fuleemu ogeetoolooze n’emikugiro egya zaabu. 12Amayinja ago ojja gakwasiza ku by’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, ng’amayinja ag’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri. Alooni asitulenga amannya gaabwe awali Mukama ng’ekijjukizo. 13Okole fuleemu eza zaabu, 14n’enjegere bbiri eza zaabu omuka, ozirange ng’emiguwa; olyoke osibire enjegere ez’oku fuleemu.

Ekyomukifuba

15“Kola ekyomukifuba eky’okutereezanga ensonga, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 16Kijja kwenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri, okiwetemu wakati. 17Otungireko ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka osseemu amayinja saasiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 18ne mu lunyiriri olwokubiri osseemu emalada, ne safiro ne dayamandi; 19ne mu lunyiriri olwokusatu osseemu jasinta; ne ageti, ne ametisita, 20ne mu lunyiriri olwokuna osseemu berulo, ne onuku, ne yasipero, ogateeke mu fuleemu ya zaabu. 21Wabeerewo amayinja kkumi n’abiri, n’amannya gaago ng’amannya g’abatabani ba Isirayiri. Gasalibwe bulungi ng’obubonero obuwoolebwa, nga ku buli limu kulambiddwako erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.

22“Ekyomukifuba kikolere enjegere ennange ng’emiguwa gya zaabu omuka. 23Era ekyomukifuba kikolere empeta za zaabu bbiri, oteeke empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 24Oyise enjegere ebbiri eza zaabu mu mpeta ebbiri eziri ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 25Oddire enjuuyi ebbiri ezisigaddewo ez’enjegere ozikwasize ku fuleemu ebbiri, ozinywereze mu maaso g’eby’oku bibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 26Era okole empeta bbiri eza zaabu, ozitunge ku mikugiro gy’eky’omu kifuba ku luuyi olw’omunda oluliraanye ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 27Era okole empeta bbiri eza zaabu oziteeke mu maaso, mu bitundu ebya wansi eby’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi olw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 28Empeta ez’oku kyomukifuba zisibwe wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi n’akaguwa aka bbululu, kagattibwe n’olukoba, olw’omu kifuba luleme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.

29“Buli kiseera Alooni lw’anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, anaabanga ayambadde amannya ga batabani ba Isirayiri ku kyomukifuba eky’okumala ensonga, nga kiri ku mutima gwe, kibeerenga ekijjukizo awali Mukama. 30Mu ky’omu kifuba eky’okumala ensonga, onooteekamu Ulimu ne Sumimu28:30 Ulimu ne Sumimu byali bintu ebyakozesebwanga okumanya okuteesa kwa Katonda, era binaabeeranga ku mutima gwa Alooni buli lw’anaayingiranga awali Mukama. Bw’atyo Alooni anaasitulanga ekkubo omuyitwa okumala ensonga z’abaana ba Isirayiri okumpi n’omutima gwe buli lw’anaagendanga awali Mukama.

Ebyambalo eby’Obwakabona ebirala

31“Onookola ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, nga kyonna kya bbululu. 32Waggulu mu makkati gaakyo munaabaamu ekituli omw’okuyisa omutwe; okwetooloola ekituli ekyo kunaabaako omuge omuyonde obulungi ng’omuleera ku kituli ky’omutwe eky’ekkanzu ey’obwakabona, kireme okuyulika. 33Okwetooloola ebirenge wansi onootungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu; nga mu makkati ga buli langi eziriraanye otobekamu obude obwa zaabu. 34Ng’otunga amajjolobera n’ozzaako akade, ate n’oddiriza amajjolobera n’ozzaako akade; bw’otyo okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo. 35Gunaabanga mulimu gwa Alooni okwambala ekyambalo ekyo ng’agenda okuweereza. Obude obwo bunaawulirwanga ng’ayingira mu Kifo Ekitukuvu awali Mukama, ne bw’anaabanga afuluma, aleme okufa.

36“Onookola akapande aka zaabu omuka ennyo, okayoleko, nga bwe bayola akabonero, nti,

Mutukuvu wa Mukama.

37Akapande okasibeko akaguwa aka bbululu, okanywereze ku kitambaala ky’oku mutwe ku ludda olw’omu maaso olw’ekitambaala. 38Akapande ako kanaabeeranga mu kyenyi kya Alooni, era Alooni y’anaabangako obuvunaanyizibwa nga wabaddewo ebitatuuse mu biweebwayo ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga nga bamaze okubyawula ng’ebirabo byabwe ebitukuvu; kanaabeeranga ku kyenyi kye bulijjo, Mukama alyoke akkirize ebirabo ebyo.

39“Luka ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika mu wuzi eza linena omulebevu, era okole n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu, era okole olukoba ng’olutunzeemu amajjolobera. 40Batabani ba Alooni bakolere amakooti, n’emisipi, n’enkuufiira; nga byonna bya kitiibwa era nga birabika bulungi nnyo. 41Alooni muganda wo mwambaze ebyambalo ebyo, ne batabani be nabo bw’otyo; olyoke obafukeko amafuta ag’omuzeeyituuni, obaawule, obatukuze, bampeerezenga nga be bakabona.

42“Bakolere empale ez’omunda eza linena, nga ziva mu kiwato okukoma mu bisambi, zibikke omubiri gwabwe. 43Alooni ne batabani be banaazambalanga nga bajja mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu oba bwe banaasembereranga Ekyoto okuweereza mu Kifo Ekitukuvu, baleme okwereetako omusango ne bafa.

“Alooni ne batabani be ne bazzukulu be abalimuddirira banaakuumanga etteeka lino nga lya nkalakkalira.”

Slovo na cestu

2 Mojžíšova 28:1-43

1Ty pak přijmi k sobě Arona bratra svého s syny jeho z prostředku synů Izraelských, aby úřad kněžský konali přede mnou: Aron, Nádab, Abiu, Eleazar a Itamar, synové Aronovi. 2A uděláš roucha svatá Aronovi bratru svému k slávě a k ozdobě. 3Ty také mluviti budeš se všechněmi umělými řemeslníky, kteréž jsem naplnil duchem moudrosti, aby dělali roucha Aronovi ku posvěcení jeho, v nichž by úřad kněžský konal přede mnou. 4Tato pak jsou roucha, kteráž udělají, náprsník, náramenník, plášť a sukni s oky, čepici a pás. Takové šaty svaté udělají Aronovi bratru tvému a synům jeho, aby úřad kněžský konali přede mnou. 5A vezmou řemeslníci zlato a modrý postavec, a šarlat a červec dvakrát barvený a kment. 6Udělají pak náramenník z zlata, z postavce modrého a šarlatu, z červce dvakrát barveného a hedbáví bílého, přesukovaného dílem řemeslným. 7Dva vrchní kraje spojená míti bude na dvou koncích svých, a tak se spolu držeti bude. 8Přepásaní pak přes ten náramenník, kteréž na něm bude, podobné bude dílu jeho; z týchž věcí bude, totiž z zlata, z postavce modrého a z šarlatu, a z červce dvakrát barveného, a z hedbáví bílého přesukovaného. 9Vezmeš také dva kameny onychinové, a vyryješ na nich jména synů Izraelských. 10Šest jmen jejich na kameni jednom, a jmen šest ostatních na kameni druhém, podlé pořádku narození jejich. 11Dílem řemeslníka, kterýž řeže na kameni, a kterýž vyrývá pečeti, vyryješ na těch dvou kameních jména synů Izraelských; do zlata je vsadíš. 12A položíš dva kameny ty na vrchních krajích náramenníku, kameny pro pamět na syny Izraelské; a nositi bude Aron jména jejich před Hospodinem na obou ramenách svých na památku. 13Uděláš i haklíky zlaté. 14A dva řetízky z zlata čistého jednostejně uděláš dílem točeným, a zavěsíš řetízky ty stočené na ty haklíky. 15Uděláš také náprsník soudu dílem řemeslným, takovým dílem, jako náramenník uděláš jej z zlata, z postavce modrého, z šarlatu, z červce dvakrát barveného, a z bílého hedbáví přesukovaného. 16Ètverhraný bude a dvojnásobní; pídi dlouhost, a pídi širokost jeho bude. 17A vysadíš jej všudy kamením drahým. Ètyřmi řady ať jest kamení, pořádkem tímto: Sardius, topazius a smaragdus v prvním řadu; 18V druhém pak zpořádaní karbunkulus, zafir a jaspis; 19A v řadu třetím linkurius, achates a ametyst; 20V čtvrtém řadu chryzolit, onychin a beryl. Vsazeni budou do zlata v svém pořádku. 21Těch pak kamenů s jmény synů Izraelských bude dvanácte, podlé jmen jejich, dílem řežících pečeti; jeden každý podlé jména svého, pro dvanáctero pokolení budou. 22Uděláš i k náprsníku řetízky jednostejné dílem točeným z zlata čistého. 23Uděláš také k náprsníku dva kroužky zlaté, a dáš je na dva kraje náprsníka. 24A prostrčíš dva řetízky zlaté skrze dva kroužky po krajích náprsníka. 25A druhé konce těch dvou řetízků připneš k haklíkům, a dáš na vrchní kraje náramenníka po předu. 26Uděláš i dva kroužky zlaté, kteréž dáš na dva kraje náprsníka, na tu obrubu jeho, kteráž jest po té straně k náramenníku do vnitřku. 27Uděláš ještě dva jiné kroužky zlaté, kteréž dáš na dvě strany náramenníka zespod po předu naproti spojení jeho, svrchu nad přepásaním náramenníka. 28Tak svíží náprsník ten, kroužky jeho s kroužky náramenníka, tkanicí z postavce modrého, aby byl nad přepásaním náramenníka, a neodevstával náprsník od náramenníka. 29I bude nositi Aron jména synů Izraelských na náprsníku soudu na srdci svém, když vcházeti bude do svatyně, na památku před Hospodinem ustavičně. 30Položíš pak do náprsníku soudu urim a thumim, aby bylo na srdci Aronově, když vcházeti bude před Hospodina; a nositi bude Aron soud synů Izraelských na srdci svém před Hospodinem vždycky. 31Uděláš také plášť pod náramenník, všecken z postavce modrého. 32A bude na vrchu v prostřed něho díra; okolek její všudy vůkol dílem tkaným, jako obojek u pancíře bude, aby se neroztrhl. 33Uděláš i na podolku jeho jablka zrnatá z hedbáví modrého, z šarlatu a z červce dvakrát barveného, na podolku jeho vůkol, a zvonečky zlaté mezi nimi vůkol. 34Zvonček zlatý a jablko zrnaté, opět za tím zvonček zlatý a jablko zrnaté na podolku pláště vůkol. 35A bude to míti na sobě Aron při službách, aby slyšán byl zvuk jeho, když vcházeti bude do svatyně před Hospodina, i když vycházeti bude, aby neumřel. 36Uděláš také plech z zlata čistého, a vyryješ na něm dílem vyrývajících pečeti: Svatost Hospodinu. 37Kterýž dáš na tkanici z modrého postavce, a bude na čepici; napřed na čepici bude. 38I bude nad čelem Aronovým, aby nesl Aron nepravosti posvěcených věcí, kterýchž by posvětili synové Izraelští při všech dařích posvěcených věcí svých; a bude nad čelem jeho vždycky, aby příjemné je činil před Hospodinem. 39Uděláš také sukni z hedbáví bílého vázanou s oky; uděláš i čepici z hedbáví bílého; pás také uděláš dílem krumpéřským. 40Synům také Aronovým zděláš sukně; pasy také jim uděláš a klobouky k slávě a k ozdobě. 41A oblečeš v ně Arona bratra svého a syny jeho s ním, a pomažeš jich, a naplníš ruce jejich, a posvětíš mi jich, aby úřad kněžský konali přede mnou. 42Nadělej jim i košilek lněných k zakrytí nahoty těla; od bedr až do stehen budou. 43A ať je na sobě mají Aron i synové, když vcházeti budou do stánku úmluvy, aneb když přistupovati budou k oltáři, aby sloužili v svatyni; a neponesou nepravosti, aniž zemrou. Řád tento bude věčný jemu i potomkům jeho po něm.