Okuva 26 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Okuva 26:1-37

Eweema ya Mukama

1“Onookola Weema n’emitanda gy’entimbe kkumi, nga girukiddwa mu wuzi eza linena omulebevu alangiddwa n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu. Omutunzi ow’amagezi ennyo akoleremu bakerubi. 2Emitanda gy’entimbe gyonna gijja kwenkanankana: obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana. 3Emitanda gy’entimbe etaano onoogigatta wamu, ng’ogisengese gumu ku gunnaagwo, era ne ginnaagyo ettaano ogikole bw’otyo. 4Otunge eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe ettaano, era okole bw’otyo ne ku ŋŋango ekomererayo mu kitundu ekyokubiri. 5Otunge eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gw’entimbe ogumu, n’eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe mu kitundu ekikomererayo, eŋŋango ezo nga zoolekaganye. 6Okole ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, okwase wamu emitanda gy’entimbe gyombi n’ebikwaso ebyo, olwo Eweema ya Mukama ebeere wamu nga nnamba.

Eby’okussa mu Weema

7“Okole entimbe kkumi na lumu nga zilukiddwa mu bwoya bw’embuzi, ozibikke ku Weema. 8Entimbe zonna ekkumi n’olumu zijja kwenkanankana obunene: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana. 9Ogatte entimbe ttaano wamu, n’entimbe omukaaga ozigatte wamu. Olutimbe olw’omukaaga oluwetemu mu maaso g’Eweema. 10Ojja kutunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ky’entimbe ekimu, ne ku mukugiro gw’olutimbe olukomererayo mu kitundu ekyokubiri. 11Okole ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, obiyise mu ŋŋango, bikwate ekibikka ku Weema, ebeere wamu nga nnamba. 12Ekitundu ky’entimbe ekisigaddewo ku masuuka g’ebibikka ku Weema kijja kuleebeetera emabega wa Weema. 13Entimbe z’ekibikka ku Weema mu mbiriizi zombi ziyise Eweema kitundu kya mita emu mu buwanvu. Ebitundu bino byombi bijja kuleebeetera mu mbiriizi zombi eza Weema nga bigibisse. 14Ekibikka ku Weema okikolereko ekibikkako eky’amaliba g’endiga nga gasiigiddwa erangi emyufu, okwo obikkeko amaliba g’ente ey’omu nnyanja.

15“Obajje embaawo mu muti gwa akasiya oziyimirize zikole omudaala gw’Eweema kweneetuula. 16Buli lubaawo lube obuwanvu mita nnya n’ekitundu, ate obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 17Buli lubaawo oluteekeko obubaawo obuyiseemu bubiri, nga butunulaganye n’embaawo zonna. Embaawo zonna ez’omudaala gw’Eweema ozikole bw’otyo. 18Okole embaawo amakumi abiri ozisse ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema, 19era okole entobo eza ffeeza amakumi ana, zibeere wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo. 20Ku ludda olwa bukiikakkono olw’Eweema okolereyo embaawo amakumi abiri, 21n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri wansi wa buli lubaawo. 22Okole embaawo mukaaga oziteeke ku ludda olw’emabega, lwe lw’ebugwanjuba bwa Weema; 23era okole embaawo bbiri ez’okussa ku nsonda ku ludda olwo. 24Ku nsonda zino ebbiri embaawo zombi ozisibe wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ozinyweze n’empeta. 25Kwe kugamba nti wajja kubeerawo embaawo zonna awamu munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga ku buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri.

26“Osale buliti mu muti gwa akasiya: buliti ttaano ez’okukozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu, 27ne buliti ttaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, ne buliti ttaano okukozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba. 28Omulabba guyite wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala. 29Embaawo ozibikkeko zaabu, era okole empeta eza zaabu ozisibise buliti; ne buliti nazo ozibikkeko zaabu. 30Eweema onoogizimba ng’ogoberera ekifaananyi ekyakulagibwa ng’oli ku lusozi.

Eggigi

31“Okole eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; era omukozi omukugu atungiremu bakerubi. 32Oliwanike n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezibajjiddwa mu muti gwa akasiya nga zibikkiddwako zaabu, era nga ziyimiriziddwa mu ntobo eza ffeeza. 33Eggigi olinyweze n’ebikwaso; olyoke otereeze Essanduuko ey’Endagaano munda waalyo. Eggigi liryoke lyawule Ekifo Ekitukuvu n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo.26:33 Ekifo Ekitukuvu Ennyo Kabona Asinga Obukulu yekka ye yakkirizibwanga okuyingira mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, omulundi gumu gwokka mu mwaka, era lwe lunaku olw’okutangiririrako 34Onosse ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira ku Ssanduuko ey’Endagaano munda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo. 35Oddire emmeeza ogisse ku ludda olwa ddyo mu kisenge ebweru w’eggigi mu Weema, n’ettaala ogisse ku ludda olwa kkono ng’eyolekedde emmeeza.

36“Okole olutimbe lw’omu mulyango gw’Eweema mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa omulungi; nga byonna bitungiddwa bulungi. 37Olutimbe olukolere empagi ttaano ng’ozibazze mu muti gwa akasiya, ozibikkeko zaabu, n’amalobo gaalwo gabe zaabu; ogiweeseze entobo ttaano ez’ekikomo.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

出埃及記 26:1-37

聖幕的做法

1「要用十幅幔子造聖幕,這些幔子要用細麻線和藍、紫、朱紅三種顏色的毛線織成,還要用精緻的手工繡上基路伯天使。 2每幅幔子的尺寸都一樣,長十二米、寬兩米。 3每五幅連在一起,形成兩幅大幔子。 4要在每幅大幔子邊緣釘上藍色的扣環, 5每幅大幔子釘五十個,扣環要兩兩相對, 6再做五十個金鉤,把兩幅大幔子連在一起,成為聖幕。

7「要用山羊毛織十一幅幔子作聖幕的罩棚, 8每幅長十三米、寬兩米。十一幅幔子的尺寸都要一樣。 9然後,你們要把五幅連成一大幅,其餘六幅連成一大幅,第六幅要在聖幕前疊起來。 10要在這兩幅幔子的邊緣各釘上五十個扣環, 11再做五十個銅鉤,把這兩幅大幔子扣在一起,成為一個完整的罩棚。 12鋪罩棚所剩下來的半幅幔子要垂到聖幕後面。 13兩旁餘下的幔子可垂在聖幕的兩邊,每邊長五十釐米,蓋著聖幕。 14罩棚上面要蓋一層染成紅色的公羊皮,再蓋一層海狗皮做頂蓋。

15「要用皂莢木做支撐聖幕的木板, 16每塊木板長四米,寬六十六釐米。 17每塊木板要有兩個接榫,好連接在一起。聖幕的所有木板都要這樣。 18聖幕的南面要有二十塊木板, 19在這些木板下面要造四十個帶凹槽的銀底座,每塊木板下面兩個,用來套在木板的兩個接榫上。 20聖幕北面也要有二十塊木板, 21這些木板下面也要裝上四十個帶凹槽的銀底座,每塊木板下面有兩個銀底座。 22聖幕後面,就是西面,要有六塊木板。 23聖幕後面的兩個拐角要各有兩塊木板, 24木板的下端連於底座26·24 連於底座」或譯「是雙層的」。,頂端用一個環固定。兩個拐角都要這樣做。 25這樣,兩端便共有八塊木板,每塊木板下面各有兩個帶凹槽的銀底座,一共有十六個銀底座。

26-27「要用皂莢木做橫閂,聖幕左右兩邊及後面的牆板上要各有五根橫閂, 28攔腰固定牆板的那根橫閂要從這端貫穿到那端。 29所有的木板和橫閂都要包上金,並要在木板上造金環,用來穿橫閂。 30要照著我在山上所指示你的樣式,把聖幕支搭起來。

造至聖所的條例

31「要用細麻線和藍色、紫色、朱紅色的線織成一幅幔子,上面用精緻的手工繡上基路伯天使。 32要把這幅幔子掛在四根包金的皂莢木柱上,木柱上面有金鉤,木柱立在四個帶凹槽的銀底座上面。 33要把整幅幔子掛在木柱的金鉤上,把約櫃抬進幔子裡。這幔子把聖幕分為兩個部分,幔子裡面是至聖所,外面是聖所。 34要把施恩座放在至聖所裡面的約櫃上。 35桌子要放在幔子的外面、聖所的北面,燈臺放在南面,跟桌子相對。 36要用細麻線和藍色、紫色、朱紅色的線繡製聖幕的門簾。 37要用皂莢木做五根掛門簾的柱子,柱子包上金,上面要有金鉤,並要為柱子造五個帶凹槽的銅底座。