Okuzaalibwa kwa Musa
12:1 Kuv 6:20; Kbl 26:59Awo olwatuuka omusajja ow’omu kika kya Leevi, n’agenda n’awasa omukazi, nga naye Muleevi. 22:2 Bik 7:20; Beb 11:23Omukazi oyo n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi; naye bwe yalaba nga mwana alabika obulungi ennyo, n’amukwekera emyezi esatu. 3Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira. 42:4 Kuv 15:20; Kbl 26:59Mwannyina w’omwana n’ayimiriranga nga yeesuddeko akabanga, alabe ebinaamutuukangako.
52:5 Kuv 7:15; 8:20Awo muwala wa Falaawo n’aserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lw’omugga; muwala wa Falaawo n’alaba ekibaya mu bitoogo, n’atuma omu ku bawala okukikima, n’akireeta. 6Bwe yakisaanukulako, n’alabamu omwana. Omwana yali akaaba, n’amusaasira nnyo, n’agamba nti, “Ono y’omu ku baana abawere aba Baebbulaniya.”
7Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?” 8Muwala wa Falaawo n’amuddamu nti, “Kale, genda.” Omuwala mwannyina w’omwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana! 9Muwala wa Falaawo n’agamba nnyina w’omwana nti, “Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga.” Omukazi oyo n’atwala omwana n’amulera. 10Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka omwana wa muwala wa Falaawo. N’amutuuma erinnya Musa, n’agamba nti, “Kubanga namuggya mu mazzi.”
Musa Addukira e Midiyaani
112:11 Bik 7:23; Beb 11:24-26Awo olwatuuka, Musa ng’amaze okukula, n’agendako mu bantu be Abaebbulaniya, n’alaba emirimu emikakanyavu gye baali bakozesebwa. N’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omuntu ow’omu baganda be. 12Awo Musa n’amagamaga, bwe yalaba nga teri muntu mulala amulaba, n’akwata Omumisiri n’amutta, n’amukweka mu musenyu. 132:13 Bik 7:26Bwe yaddayo enkeera, n’alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. N’abuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?” 142:14 Bik 7:27*Omusajja n’amuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa n’atya, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.”
152:15 Bik 7:29; Beb 11:27Awo Falaawo bwe yakiwulira, n’agezaako okutta Musa. Naye Musa n’aviira Falaawo, n’addukira mu nsi ya Midiyaani;2:15 Midiyaani yali omu ku batabani ba Ibulayimu (Lub 25:2). Abamidiyaani baabeeranga obukiikakkono bwa Sinaayi. n’atuula awali oluzzi. 162:16 a Kuv 3:1 b Lub 24:11Waaliwo kabona mu Midiyaani eyalina abaana be abawala musanvu, ne bajja okusena amazzi bajjuze ebyesero banywese endiga za kitaabwe. 172:17 Lub 29:10Kyokka ne wabaawo abasumba ne bajja ne babagobawo; naye Musa n’asituka n’abalwanirira, n’anywesa endiga zaabwe.
182:18 Kbl 10:29Abawala bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri,2:18 Leweri lye lyali erinnya lya Yesero eddala. n’ababuuza nti, “Nga mukomyewo mangu leero?” 19Ne bamuddamu nti, “Omusajja Omumisiri atulwaniridde ng’abasumba batujoogereza; y’atusenedde n’amazzi n’anywesa ekisibo kyaffe.” 202:20 Lub 31:54N’abuuza bawala be nti, “Ali ludda wa? Ye lwaki mumuleseeyo? Mumuyite ajje alye ku mmere.”
212:21 Kuv 18:2Musa n’akkiriza. N’abeerera ddala mu maka ga Leweri. Leweri n’awa Musa muwala we Zipola okuba mukyala we. 222:22 Kuv 18:3-4; Beb 11:13Zipola n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Musa n’amutuuma erinnya Gerusomu, ng’agamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.”
232:23 a Bik 7:30 b Kuv 3:7, 9; Ma 26:7; Yak 5:4Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, kabaka w’e Misiri n’afa. Abaana ba Isirayiri ne basindanga era ne bakaabanga olw’obuddu bwe baalimu, n’okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda. 242:24 Kuv 6:5; Zab 105:10, 42Katonda n’awulira okusinda kwabwe. Katonda n’ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. 252:25 Kuv 3:7; 4:31Katonda n’atunuulira abaana ba Isirayiri, n’ategeera okubonaabona kwabwe.
摩西出生
1有一个利未族的人跟他同族的女子结婚。 2那女子怀孕,生了一个男婴。她看见孩子可爱,就把他藏了三个月。 3后来无法再藏下去,她就拿来一个蒲草篮子,外面涂上防水的沥青和柏油,然后把婴儿放在里面,又把篮子放在尼罗河边的芦苇丛中。 4婴儿的姐姐远远地站着,要看看她的弟弟究竟会怎样。
5这时,法老的女儿来到河边沐浴,宫女们在河边行走。公主发现了芦苇丛中的篮子,便吩咐一个婢女去把它取来。 6公主打开一看,原来是一个男婴。公主看见孩子在哭,就可怜他,说:“他是希伯来人的孩子。” 7婴儿的姐姐对公主说:“我去找一个希伯来妇女当奶妈,为你哺养他好吗?” 8公主回答说:“好!”那女孩就跑去把婴孩的母亲带来。 9公主对那妇女说:“你把孩子抱去,替我哺养他,我会给你工钱。”她便把孩子抱去哺养。 10孩子渐渐长大,她便把他带到公主那里,孩子就做了公主的儿子。公主给孩子取名叫摩西,意思是“我把他从水中拉了上来”。
11后来,摩西长大了,他去看望做苦工的希伯来同胞,看见一个埃及人在殴打他的一个希伯来同胞。 12他左右观望,见四下无人,便下手杀了那埃及人,把尸体埋藏在沙地里。 13第二天,他又出去,看见两个希伯来人在打架,便过去对理亏的人说:“你为什么打自己的同胞呢?” 14那人说:“谁立你做我们的首领和审判官?难道你要杀我,像杀那个埃及人一样吗?”摩西听了,害怕起来,心想:“我做的事一定被人知道了。” 15法老听说这件事后,便想杀死摩西。摩西为了躲避法老,就逃到米甸居住。一天他坐在一口井旁, 16米甸祭司的七个女儿来打水,要把水倒进槽里饮她们父亲的羊。 17这时,来了另外一群牧人要把她们赶走。摩西便起来帮助她们,打水饮她们的羊群。 18她们回到父亲流珥2:18 “流珥”又名“叶特罗”。那里,父亲问道:“你们今天怎么这么快就回来了?” 19她们答道:“有一个埃及人救我们免遭牧人的欺负,还帮我们打水饮羊群。” 20他又问女儿们:“现在那人在哪里?你们怎么可以丢下他不管呢?去请他来吃点东西。” 21后来,摩西同意住在那人家里。那人把女儿西坡拉许配给他。 22后来,西坡拉生了一个儿子,摩西给他取名叫革舜,意思是“我成了在异乡寄居的人”。
23过了多年,埃及王死了。以色列人受尽奴役,就哀叹呼求,声音传到上帝那里。 24上帝听见他们的哀声,顾念从前跟亚伯拉罕、以撒、雅各所立的约, 25就垂顾他们,体恤他们。