Okuva 15 – LCB & CARS

Luganda Contemporary Bible

Okuva 15:1-27

Oluyimba lwa Musa

1Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti,

“Nnaayimbiranga Mukama,

kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.

Asudde mu nnyanja

embalaasi n’omwebagazi waayo.

2Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,

era afuuse obulokozi bwange.

Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga,

ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.

3Mukama mulwanyi;

Mukama, ly’erinnya lye.

4Amagaali ga Falaawo n’eggye lye

abisudde mu nnyanja;

n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemu

basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.

5Obuziba bubasaanikidde;

basse okutuuka ku ntobo ng’ejjinja.

6“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,

gwalina amaanyi n’ekitiibwa;

omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,

gwasesebbula omulabe.

7Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo,

wamegga abalabe bo,

wabalaga obusungu bwo,

ne bubasiriiza ng’ebisasiro.

8Omukka bwe gwava mu nnyindo zo,

amazzi ne geetuuma;

amazzi g’ebuziba ne geekwata ng’ekisenge wakati mu nnyanja.

9“Omulabe n’ayogera nti,

‘Ka mbagobe, mbakwate.

Nnaagabana omunyago;

mbeemalireko eggoga.

Nnaasowolayo ekitala kyange,

ndyoke mbazikirize.’

10Naye wakunsa embuyaga zo,

ennyanja n’ebasaanikira.

Bakka ng’ekyuma,

ne basaanawo mu mazzi amangi ag’amaanyi.

11Ani akufaanana, Ayi Mukama,

mu bakatonda bonna?

Ani akufaanana, ggwe,

Omutukuvu Oweekitiibwa,

atiibwa era atenderezebwa,

akola ebyamagero?

12“Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,

ensi n’ebamira.

13Mu kwagala kwo okutaggwaawo,

abantu be wanunula olibakulembera.

Mu maanyi go,

olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.

14Amawanga galikiwulira ne gakankana,

ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.

15Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde;

abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana;

abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi.

16Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.

Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,

balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama,

okutuusa abantu bo, be wanunula,

lwe baliyitawo.

17Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera,

kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mw’onoobeeranga,

ekifo kyo Ekitukuvu,

kye weekolera, Ayi Mukama, n’emikono gyo.

18Mukama anaafuganga

emirembe n’emirembe.”

Oluyimba lwa Miryamu

19Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja. 20Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina. 21Miryamu n’abayimbira bw’ati nti,

“Muyimbire Mukama,

kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.

Asudde mu nnyanja

embalaasi n’agyebagadde.”

Amazzi g’e Mala n’aga Erimu

22Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi. 23Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala. 24Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”

25Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.

Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa 26ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

27Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.

Священное Писание

Исход 15:1-27

Песнь Мусы и Марьям

1Тогда Муса с исраильтянами воспели Вечному эту песню:

«Вечному буду петь –

Он высоко вознесён.

Коня и всадника

бросил Он в море.

2Вечный – моя сила и песнь;

Он стал мне спасением.

Он – мой Бог, я восславлю Его;

Он – Бог отца моего: я Его превознесу.

3Вечный – это воин;

Вечный – имя Ему.

4Колесницы и войско фараона

бросил Он в море.

Лучшие воины египтян

утоплены в Тростниковом море.

5Пучина сомкнулась над ними,

и они канули в бездну, как камень.

6Правая рука Твоя, Вечный,

мощью прославилась.

Правая рука Твоя, Вечный,

сокрушила врага.

7Величием Своей славы

Ты поверг восставших против Тебя.

Возгорелся Твой гнев –

он их, как солому, пожрал.

8Дохнул Ты на воды –

вздыбились они,

встали как стена;

сгустилась пучина морская.

9Хвастался враг:

„Погонюсь, настигну их.

Разделю добычу,

натешусь ею.

Вытащу меч –

истребит их моя рука“.

10Но дохнул Ты Своим вихрем,

и накрыло их море.

Утонули они, как свинец,

в могучих водах.

11Кто из богов подобен Тебе, о Вечный?

Кто подобен Тебе,

величественному в святости,

достойному славы,

творящему чудеса?

12Простёр Ты правую руку,

и поглотила врагов земля.

13Своей нетленной любовью

поведёшь Ты народ, который спас.

Своей силой Ты его направишь

к Своему святому жилищу.

14Народы услышат и затрепещут;

ужас охватит филистимских жителей.

15Устрашатся вожди Эдома,

правители Моава затрепещут,

скроются жители Ханаана –

16страх и ужас падут на них.

Силой Твоей руки

они станут как камень –

пока не пройдёт Твой народ, о Вечный,

пока не пройдёт народ, который Ты приобрёл15:16 Или: «сотворил»..

17Ты приведёшь и поселишь их

на горе Своего достояния –

на том месте, Вечный, которое Ты сделал Себе жилищем,

в том святилище, Владыка, которое Твои руки основали.

18Вечный будет царствовать вовеки!»

19Когда лошади, колесницы и всадники фараона вошли в море, Вечный обрушил на них морские воды. А исраильтяне прошли через море, как по суше. 20Пророчица Марьям, сестра Харуна, взяла бубен, и женщины с бубнами, танцуя, пошли за ней. 21Марьям им пела:

«Вечному пойте –

Он высоко вознесён.

Коня и наездника

бросил Он в море».

Воды Мары и Елима

22Муса повёл исраильтян от Тростникового моря, и они вошли в пустыню Сур. Три дня они шли по пустыне, не находя воды. 23Придя в Мару, они не могли пить воду: она была горькой. (Вот почему это место называется Мара («горечь»).) 24Народ стал роптать на Мусу, говоря: «Что нам пить?»

25Муса взмолился к Вечному, и Вечный показал ему кусок дерева. Муса бросил его в воду, и вода стала пригодной для питья.

Там Вечный дал им установленный закон, чтобы испытать их. 26Он сказал:

– Если вы будете внимательно слушать Мой голос, голос Вечного, вашего Бога, и делать то, что Я хочу, если будете послушны Моим повелениям и сохраните Мои установления, то Я не нашлю на вас ни одного из тех недугов, которые наслал на египтян. Ведь Я – Вечный, Который исцеляет вас.

27Они пришли в Елим, где было двенадцать источников воды и семьдесят пальм. Там они расположились лагерем у воды.