15:1 Zab 44:13-16; 89:50Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.
Tunula olabe ennaku yaffe.
25:2 a Zab 79:1 b Zef 1:13Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
35:3 Yer 15:8; 18:21Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,
ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
45:4 Is 3:1Tusasulira amazzi ge tunywa;
n’enku tuteekwa okuzigula.
55:5 Nek 9:37Abatucocca batugobaganya;
tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
65:6 Kos 9:3Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli
okutufuniranga ku mmere.
75:7 Yer 14:20; 16:12Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa,
naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
85:8 a Nek 5:15 b Zek 11:6Abaddu be batufuga,
tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
9Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,
olw’ekitala ekiri mu ddungu.
105:10 Kgb 4:8-9Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro
olw’enjala ennyingi.
115:11 Zek 14:2Abakyala ba Sayuuni,
n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
125:12 Kgb 4:16Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe
n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
13Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,
n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
145:14 Is 24:8; Yer 7:34Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,
n’abavubuka tebakyayimba.
155:15 Yer 25:10Emitima gyaffe tegikyasanyuka,
n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
165:16 a Zab 89:39 b Is 3:11Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe.
Zitusanze kubanga twonoonye!
175:17 a Is 1:5 b Zab 6:7Emitima gyaffe kyegivudde gizirika,
era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
185:18 Mi 3:12Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,
ebibe kyebivudde bitambulirako.
195:19 Zab 45:6; 102:12, 24-27Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;
entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
205:20 Zab 13:1; 44:24Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?
Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
215:21 Zab 80:3Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama,
otuzze buggya ng’edda;
225:22 Is 64:9wabula ng’otusuulidde ddala,
era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.