14:1 Ez 7:19Zaabu ng’ettalazze!
Zaabu ennungi ng’efuuse!
Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye
buli luguudo we lutandikira.
2Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo
abaali beenkana nga zaabu ennungi,
kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba,
omulimu gw’emikono gy’omubumbi.
34:3 Yob 39:16Ebibe biyonsa
abaana baabyo,
naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa,
bafaanana nga bammaaya mu ddungu.
44:4 a Zab 22:15 b Kgb 2:11, 12Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,
olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;
abaana basaba emmere
naye tewali n’omu agibawa.
54:5 a Yer 6:2 b Am 6:3-7Abaalyanga ebiwoomerera
basabiriza ku nguudo;
n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka
bali ku ntuumu ez’ebisasiro.
64:6 Lub 19:25Ekibonerezo ky’abantu bange
kisinga ekya Sodomu,
ekyawambibwa mu kaseera akatono,
nga tewali n’omu azze kukibeera.
7Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira,
nga beeru okusinga amata;
n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu,
era banyirivu nga safiro.
84:8 a Yob 30:28 b Zab 102:3-5Naye kaakano badduggala okusinga enziro,
era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo.
Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe;
lukaze ng’ekiti ekikalu.
94:9 Yer 15:2; 16:4Abafa ekitala bafa bulungi
okusinga abafa enjala,
kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo
olw’obutaba na mmere mu nnimiro.
104:10 Lv 26:29; Ma 28:53-57; Yer 19:9; Kgb 2:20; Ez 5:10Abakazi ab’ekisa abaagala abaana
bafumbye abaana baabwe;
abaana abaafuuka emmere
abantu bange bwe baazikirizibwa.
114:11 a Yer 17:27 b Ma 32:22; Yer 7:20; Ez 22:31Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi,
era abayiyeeko obusungu bwe obungi.
Yakoleeza omuliro mu Sayuuni
ogwayokya emisingi gyakyo.
124:12 1Bk 9:9; Yer 21:13Bakabaka b’ensi
n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza,
nti abalabe n’ababakyawa baliyingira
mu wankaaki wa Yerusaalemi.
134:13 Yer 5:31; 6:13; Ez 22:28; Mi 3:11Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be,
n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be,
abaayiwa omusaayi
gw’abatuukirivu abaababeerangamu.
144:14 a Is 59:10 b Yer 2:34; 19:4Badoobera mu nguudo
nga bamuzibe;
bajjudde omusaayi
so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.
154:15 Lv 13:46Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu!
Muviireewo ddala, so temutukwatako!”
Bwe baafuuka emmombooze,
amawanga gabagobaganya nga boogera nti,
“Tebakyasaana kubeera wano.”
164:16 a Is 9:14-16 b Kgb 5:12Mukama yennyini abasaasaanyizza,
takyabafaako.
Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa,
newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.
174:17 a Is 20:5; Ez 29:16 b Kgb 1:7 c Yer 37:7Amaaso gaffe gakooye
olw’okulindirira okubeerwa okutajja;
nga tulindirira
eggwanga eriyinza okutulokola.
184:18 Ez 7:2-12; Am 8:2Baatucocca
ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe;
enkomerero yaffe n’eba kumpi,
n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.
194:19 a Ma 28:49 b Is 5:26-28Abaatuyiganyanga baatusinga embiro
okusinga n’empungu ez’omu bbanga.
Baatugobera mu nsozi
ne batuteegera mu ddungu.
204:20 a 2Sa 19:21 b Yer 39:5; Ez 12:12-13; 19:4, 8Oyo Mukama gwe yafukako amafuta
yagwa mu mitego gyabwe.
Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye
ne tubeeranga mu mawanga.
214:21 a Yer 25:15 b Is 34:6-10; Am 1:11-12; Ob 16Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu,
abeera mu nsi ya Uzi;
naye lumu olinywa ku kikompe
n’otamiira ne weeyambula.
224:22 a Is 40:2; Yer 33:8 b Zab 137:7; Mal 1:4Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo,
talikwongerayo mu busibe.
Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza,
n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.