Okukungubaga 3 – LCB & NVI-PT

Luganda Contemporary Bible

Okukungubaga 3:1-66

1Nze muntu eyakangavvulwa

n’omuggo ogw’obusungu bwe.

2Angobye mu maaso ge n’antambuliza

mu kizikiza, awatali kitangaala;

3ddala, omukono gwe gunnwanyisizza

emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.

4Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange

era amenye n’amagumba gange.

5Antaayizza n’anzijuza

obulumi n’okubonaabona.

6Antadde mu kizikiza

ng’abafu abaafa edda.

7Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,

ansibye enjegere ezizitowa.

8Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,

okusaba kwange akuggalira bweru.

9Anteeredde amayinja mu kkubo lyange

era akyamizza amakubo gange.

10Ng’eddubu bwe liteega,

n’empologoma bwe yeekweka

11yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula

n’andeka awo nga sirina anyamba.

12Yanaanuula omutego gwe,

n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.

13Yafumita omutima gwange

n’obusaale okuva mu mufuko gwe.

14Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,

era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.

15Anzijuzza ebikaawa

era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.

16Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;

anninnyiridde mu nfuufu.

17Emmeeme yange terina mirembe,

n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.

18Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,

n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”

19Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,

n’obulumi n’obubalagaze.

20Mbijjukira bulungi

era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.

21Ebyo byonna mbijjukira,

kyenvudde mbeera n’essuubi.

22Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,

tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.

23Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;

n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.

24Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,

kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”

25Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,

eri oyo amunoonya.

26Kirungi omuntu okulindirira

obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.

27Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye

mu buvubuka bwe.

28Atuulenga yekka mu kasirise

kubanga Mukama y’akimwambiseemu.

29Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.

30Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa,

era amalibwe n’okuvumibwa.

31Kubanga Mukama taligobera bantu bweru

ebbanga lyonna.

32Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa

kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.

33Tagenderera kuleeta bulumi

newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.

34Mukama akkiriziganya

n’okulinnyirira abasibe,

35n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe

mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,

36oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?

37Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,

Mukama nga takiragidde?

38Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,

si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?

39Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,

bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?

40Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,

tudde eri Mukama.

41Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe

eri Katonda mu ggulu, twogere nti,

42“Twayonoona ne tujeema,

tokyerabiranga era tonatusonyiwa.

43“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,

n’otutta awatali kutusaasira.

44Weebisseeko ekire,

waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.

45Otufudde obusa n’ebisasiro

mu mawanga.

46“Abalabe baffe bonna batwogerako

ebigambo ebibi.

47Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego

n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”

48Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga

olw’okuzikirira kw’abantu bange.

49Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga

awatali kusirika,

50okutuusa Mukama lw’alisinzira

mu ggulu n’alaba.

51Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,

olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.

52Abalabe bange banjigganya olutata

ne baba ng’abayigga ennyonyi.

53Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,

ne bankasuukirira amayinja;

54amazzi gaabikka omutwe gwange,

ne ndowooza nti, nsanyeewo.

55“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,

nga ndi mu bunnya wansi ennyo;

56wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go

eri okukaaba kwange.”

57Bwe nakukoowoola wansemberera

n’oyogera nti, “Totya!”

58Mukama watunula mu nsonga yange,

era n’onunula obulamu bwange.

59Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,

obasalire omusango nga bwe kibagwanira.

60Walaba bwe bampalana,

n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.

61Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,

n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,

62obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange

bye bantesaako obudde okuziba.

63Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;

bannyooma nga bwe bannyimbirira.

64Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda,

olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.

65Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe,

n’ekikolimo kyo kibabeereko.

66Obayigganye mu busungu bwo obazikirize

ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.

Nova Versão Internacional

Lamentações 3:1-66

1Eu sou o homem que viu a aflição

trazida pela vara da sua ira.

2Ele me impeliu e me fez andar na escuridão,

e não na luz;

3sim, ele voltou sua mão contra mim

vez após vez, o tempo todo.

4Fez que a minha pele e a minha carne envelhecessem

e quebrou os meus ossos.

5Ele me sitiou e me cercou

de amargura e de pesar.

6Fez-me habitar na escuridão

como os que há muito morreram.

7Cercou-me de muros, e não posso escapar;

atou-me a pesadas correntes.

8Mesmo quando chamo ou grito por socorro,

ele rejeita a minha oração.

9Ele impediu o meu caminho com blocos de pedra;

e fez tortuosas as minhas sendas.

10Como um urso à espreita,

como um leão escondido,

11arrancou-me do caminho e despedaçou-me,

deixando-me abandonado.

12Preparou o seu arco

e me fez alvo de suas flechas.

13Atingiu o meu coração

com flechas de sua aljava.

14Tornei-me objeto de riso de todo o meu povo;

nas suas canções eles zombam de mim o tempo todo.

15Fez-me comer ervas amargas

e fartou-me de fel.

16Quebrou os meus dentes com pedras;

e pisoteou-me no pó.

17Tirou-me a paz;

esqueci-me o que é prosperidade.

18Por isso, digo: “Meu esplendor já se foi,

bem como tudo o que eu esperava do Senhor”.

19Lembro-me da minha aflição e do meu delírio,

da minha amargura e do meu pesar.

20Lembro-me bem disso tudo,

e a minha alma desfalece dentro de mim.

21Todavia, lembro-me também

do que pode me dar esperança:

22Graças ao grande amor do Senhor

é que não somos consumidos,

pois as suas misericórdias são inesgotáveis.

23Renovam-se cada manhã;

grande é a sua fidelidade!

24Digo a mim mesmo: A minha porção é o Senhor;

portanto, nele porei a minha esperança.

25O Senhor é bom para com aqueles

cuja esperança está nele,

para com aqueles que o buscam;

26é bom esperar tranquilo

pela salvação do Senhor.

27É bom que o homem suporte o jugo

enquanto é jovem.

28Leve-o sozinho e em silêncio,

porque o Senhor o pôs sobre ele.

29Ponha o seu rosto no pó;

talvez ainda haja esperança.

30Ofereça o rosto a quem o quer ferir,

e engula a desonra.

31Porque o Senhor

não o desprezará para sempre.

32Embora ele traga tristeza, mostrará compaixão,

tão grande é o seu amor infalível.

33Porque não é do seu agrado trazer aflição

e tristeza aos filhos dos homens,

34esmagar com os pés

todos os prisioneiros da terra,

35negar a alguém os seus direitos,

enfrentando o Altíssimo,

36impedir a alguém o acesso à justiça;

não veria o Senhor tais coisas?

37Quem poderá falar e fazer acontecer,

se o Senhor não o tiver decretado?

38Não é da boca do Altíssimo que vêm

tanto as desgraças como as bênçãos?

39Como pode um homem reclamar

quando é punido por seus pecados?

40Examinemos e coloquemos à prova os nossos caminhos

e depois voltemos ao Senhor.

41Levantemos o coração e as mãos

para Deus, que está nos céus, e digamos:

42“Pecamos e nos rebelamos,

e tu não nos perdoaste.

43“Tu te cobriste de ira e nos perseguiste,

massacraste-nos sem piedade.

44Tu te escondeste atrás de uma nuvem

para que nenhuma oração chegasse a ti.

45Tu nos tornaste escória

e refugo entre as nações.

46“Todos os nossos inimigos

escancaram a boca contra nós.

47Sofremos terror e ciladas,

ruína e destruição”.

48Rios de lágrimas correm dos meus olhos

porque o meu povo foi destruído.

49Meus olhos choram sem parar,

sem nenhum descanso,

50até que o Senhor contemple dos céus

e veja.

51O que eu enxergo enche-me a alma de tristeza,

de pena de todas as mulheres da minha cidade.

52Aqueles que, sem motivo, eram meus inimigos

caçaram-me como a um passarinho.

53Procuraram fazer minha vida acabar na cova

e me jogaram pedras;

54as águas me encobriram a cabeça,

e cheguei a pensar que o fim de tudo tinha chegado.

55Clamei pelo teu nome, Senhor,

das profundezas da cova.

56Tu ouviste o meu clamor:

“Não feches os teus ouvidos aos meus gritos de socorro”.

57Tu te aproximaste quando a ti clamei,

e disseste: “Não tenha medo”.

58Senhor, tu assumiste a minha causa;

e redimiste a minha vida.

59Tu tens visto, Senhor, o mal que me tem sido feito.

Toma a teu cargo a minha causa!

60Tu viste como é terrível a vingança deles,

todas as suas ciladas contra mim.

61Senhor, tu ouviste os seus insultos,

todas as suas ciladas contra mim,

62aquilo que os meus inimigos sussurram

e murmuram o tempo todo contra mim.

63Olha para eles! Sentados ou em pé,

zombam de mim com as suas canções.

64Dá-lhes o que merecem, Senhor,

conforme o que as suas mãos têm feito.

65Coloca um véu sobre os seus corações

e esteja a tua maldição sobre eles.

66Persegue-os com fúria e elimina-os

de debaixo dos teus céus, ó Senhor.