Okukungubaga 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Okukungubaga 2:1-22

12:1 a Kgb 3:44 b Zab 99:5; 132:7Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni

ne bumussa wansi w’ekire!

Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi

okuva mu ggulu okutuuka ku nsi;

ne yeerabira entebe ey’ebigere bye

ku lunaku lwe yasunguwalirako.

22:2 a Kgb 3:43 b Zab 21:9 c Zab 89:39-40; Mi 5:11 d Is 25:12Mukama azikirizza

abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira;

mu busungu bwe amenye

ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda;

assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be

n’abamalamu ekitiibwa.

32:3 a Zab 75:5, 10 b Zab 74:11 c Is 42:25; Yer 21:4-5, 14Mu busungu obungi

amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza;

bw’alabye omulabe ng’asembera,

n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo;

anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro

bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.

42:4 a Yob 16:13; Kgb 3:12-13 b Ez 24:16, 25 c Is 42:25; Yer 7:20Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,

era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.

Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso

mu weema ey’omuwala wa Sayuuni,

okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;

obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.

52:5 a Yer 30:14 b nny 2 c Yer 9:17-20Mukama afuuse ng’omulabe;

azikirizza Isirayiri,

n’azikiriza embiri ze,

n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi.

Aleetedde muwala wa Yuda

okweyongera okukaaba n’okukungubaga.

62:6 a Yer 52:13 b Kgb 1:4; Zef 3:18 c Kgb 4:16Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro,

era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu.

Mukama yeerabizza Sayuuni

embaga ze entukuvu ne ssabbiiti,

era mu busungu bwe obungi

anyoomye kabaka ne kabona.

72:7 Zab 74:7-8; Is 64:11; Yer 33:4-5Mukama atamiddwa ekyoto kye,

n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu.

Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe;

era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama,

ne baleetamu oluyoogaano

nga ku lunaku olw’embaga entukuvu.

82:8 a 2Bk 21:13; Is 34:11 b Is 3:26Mukama yamalirira okumenya

bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,

n’agolola omuguwa ogupima,

Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.

Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,

byonna ne biggweerera.

92:9 a Nek 1:3 b Ma 28:36; 2Bk 24:15 c 2By 15:3 d Yer 14:14Emiryango gye gisse mu ttaka,

n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona.

Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa,

eteri mateeka gaabwe agabafuga,

era ne bannabbi be tebakyafuna

kwolesebwa kuva eri Mukama.

102:10 a Yob 2:12 b Is 15:3 c Yob 2:13; Is 3:26Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni

batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;

bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe

era beesibye ebibukutu;

n’abawala ba Yerusaalemi

bakotese emitwe gyabwe.

112:11 a Kgb 1:16; 3:48-51 b Kgb 1:20 c nny 19; Zab 22:14 d Kgb 4:4Amaaso gange gakooye olw’okukaaba

n’emmeeme yange enyiikadde

n’omutima gwange gulumwa

olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,

n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira

wakati mu nguudo ez’omu kibuga.

122:12 Kgb 4:4Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,

“Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?”

nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu

mu nguudo ez’ekibuga,

nga bwe bakaabira

mu bifuba bya bannyaabwe.

132:13 a Is 37:22 b Yer 14:17; Kgb 1:12Nnyinza kugamba ki,

era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako

ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?

Kiki kye nnyinza okukufaananya,

okukusanyusa ggwe

Omuwala Embeerera owa Sayuuni?

Ekiwundu kyo kinene nnyo,

kale ani ayinza okukiwonya?

142:14 a Is 58:1 b Yer 2:8; 23:25-32, 33-40; 29:9; Ez 13:3; 22:28Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,

kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;

tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo

okukuwonya obusibe.

Engero ze baabanyumizanga

zaali za bulimba era eziwabya.

152:15 a Ez 25:6 b Yer 19:8 c Zab 50:2 d Zab 48:2Bonna abayitawo

babakubira mu ngalo

ne bafuuwa empa ne banyeenyeza

omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,

“Kino kye kibuga ekyayitibwanga

ekituukiridde,

era essanyu ly’ensi zonna?”

162:16 a Zab 56:2; Kgb 3:46 b Yob 16:9 c Zab 35:25Abalabe bo bonna

baasaamiridde nga beewuunya;

nga bafuuwa empa, era baluma amannyo

nga boogera nti, “Tumuzikirizza.

Luno lwe lunaku lwe twalindirira,

kaakano lutuukiridde, era tululabye.”

172:17 a Ma 28:15-45 b nny 2; Ez 5:11 c Zab 89:42Mukama akoze kye yateekateeka,

era atuukirizza ekigambo kye

kye yalagira mu nnaku ez’edda.

Akuzikirizza awatali kukusaasira,

aleetedde omulabe wo okukusekerera,

n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.

182:18 a Zab 119:145 b Kgb 1:16 c Yer 9:1 d Kgb 3:49Kaabirira Mukama

n’eddoboozi ery’omwanguka

ggwe Omuwala wa Sayuuni.

Leka amaziga go gakulukute ng’omugga

emisana n’ekiro.

Teweewummuza so toganya

maaso go kuwummula.

192:19 a 1Sa 1:15; Zab 62:8 b Is 26:9 c Is 51:20Golokoka, okaabe ekiro

obudde nga bwa kaziba;

Fuka emmeeme yo ng’amazzi

mu maaso ga Mukama.

Yimusa emikono gyo gy’ali,

olw’obulamu bw’abaana bo abato

abazirise olw’enjala

mu buli luguudo.

202:20 a Ma 28:53; Yer 19:9 b Kgb 4:10 c Zab 78:64; Yer 14:15“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire!

Ani gwe wali obonerezza bw’otyo?

Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe,

abaana be bakuzizza?

Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe

mu watukuvu wa Mukama?

212:21 a 2By 36:17; Zab 78:62-63; Yer 6:11 b Yer 13:14; Kgb 3:43; Zek 11:6“Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu

mu nfuufu ey’enguudo;

abavubuka bange ne bawala bange

battiddwa n’ekitala;

obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo,

era obasse awatali kusaasira.

222:22 a Zab 31:13; Yer 6:25 b Kos 9:13“Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga,

bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna;

era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama,

tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo;

abo be nalabirira ne nkuza,

omulabe wange be yazikiriza.”