Yerusaalemi Kifuuse Matongo
1Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa!
Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga,
nga kifuuse nga nnamwandu!
Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza,
afuuse omuddu omukazi.
2Ekiro akaaba nnyo nnyini,
n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.
Mu baganzi be bonna,
talina n’omu amubeesabeesa.
Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,
bafuuse balabe be.
3Yuda agenze mu buwaŋŋanguse
oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu.
Kati abeera mu bannamawanga,
talaba kifo kya kuwummuliramu.
Bonna abamunoonya bamusanga
mu nnaku ye.
4Enguudo za Sayuuni zikungubaga,
kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa.
Emiryango gye gyonna girekeddwa awo,
bakabona be, basinda;
bawala be abaweereza bali mu buyinike,
naye yennyini ali mu nnaku.
5Abamuyigganya bafuuse bakama be;
abalabe be beeyagala,
kubanga Mukama amuleeseeko ennaku,
olw’ebibi bye ebingi.
Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse,
bawambiddwa omulabe.
6Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni
kimuweddeko,
abalangira be bafuuse ng’ennangaazi
ezibuliddwa omuddo;
mu bunafu,
badduse ababagoba.
7Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana,
Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna
bye yalinanga mu nnaku ez’edda.
Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe,
tewaali n’omu amubeera;
abalabe be ne bamutunuulira
ne bamusekerera olw’okugwa kwe.
8Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini,
bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu.
Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma,
kubanga balabye bw’asigalidde awo;
ye yennyini asinda,
era akwatibwa ensonyi.
9Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye;
teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja.
Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo;
tewaali n’omu amubeesabeesa.
“Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange,
kubanga omulabe awangudde.”
10Omulabe yagololera omukono
ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo;
yalaba amawanga amakaafiiri
nga gayingira awatukuvu we,
beebo be wali ogaanye
okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.
11Abantu be bonna basinda
nga bwe banoonya ekyokulya;
eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere,
okusobola okuba abalamu.
“Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo
kubanga nnyoomebwa.”
12“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?
mwetegereze mulabe
obanga waliwo obuyinike obwenkana,
obwantukako,
Mukama bwe yanteekako
ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.
13“Yaweereza omuliro okuva waggulu,
ne gukka mu magumba gange.
Yatega ebigere byange akatimba,
n’anzizaayo emabega.
Yandeka mpuubadde,
nga nzirise olunaku lwonna.
14“Ebibi byange binfuukidde ekikoligo;
bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe.
Binzitoowerera mu bulago,
era bimmazeemu amaanyi.
Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo
be siyinza kugumiikiriza.
15“Mukama anyoomye
abalwanyi abazira bonna abaali nange;
akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,
okuzikiriza abavubuka bange.
Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,
ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.
16“Kyenva nkaaba,
amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
kubanga omulabe awangudde.”
17Sayuuni agolola emikono gye,
naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.
18“Mukama mutuukirivu,
newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
batwalibbwa mu busibe.
19“Nakoowoola bannange bannyambe,
naye tebanfaako;
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange
bazikiririra mu kibuga
nga banoonya ekyokulya
baddemu amaanyi.
20“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.
21“Abantu bawulidde okusinda kwange,
naye tewali n’omu ananyamba.
Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;
basanyukidde ekyo ky’okoze.
Olunaku lwe walangirira,
lubatuukeko, babeere nga nze.
22“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,
nga nze bwe wambonereza.
Okusinda kwange kungi
n’omutima gwange guzirika.”
淒慘的耶路撒冷
1從前人煙稠密的城,
現在何其荒涼!
從前揚威萬邦的強國,
現在竟像寡婦一樣。
從前在諸省做公主的,
現在卻淪為奴婢。
2她在夜間痛哭,淚流滿面。
情人中沒有一個前來安慰。
朋友都出賣她,與她為敵。
3猶大飽受苦難和奴役,
被擄往遠方,流落異邦,
找不到安居之所。
她在走投無路之際被追敵擒獲。
4通往錫安1·4 「錫安」又稱「耶路撒冷」。的道路滿目淒涼,
因為無人前去過節。
她的城門冷落,
她的祭司悲歎,
她的少女哀傷,她痛苦不已。
5敵人做了她的主人,
興旺發達。
因為她作惡多端,
耶和華叫她飽受困苦,
她的孩子被敵人擄去。
6錫安的尊榮消逝,
她的首領像找不到草吃的鹿,
無力逃脫敵人的追趕。
7在困苦流離中,
耶路撒冷想起昔日的榮華。
如今,她的人民落在敵人手中,
無人援救。
仇敵看見她,都嘲笑她的滅亡。
8耶路撒冷罪大惡極,
淪為污穢之物。
從前尊重她的人看見她赤身裸體,就蔑視她。
她只能哀歎、退避。
9她的裙子沾滿污穢,
她未曾想過自己的結局。
她的敗落無比淒慘,
無人安慰。
她哭喊道:「耶和華啊,
仇敵已經獲勝,
求你垂顧我的苦難!」
10敵人伸手奪去她的一切珍寶。
她目睹外族人闖入聖殿——那是耶和華禁止他們進入的地方。
11她的人民呻吟著四處覓食,
用珍寶換取糧食維生。
耶路撒冷的哀歎
她說:「耶和華啊,求你眷顧我,
因為我被人蔑視。
12「路人啊,你們都無動於衷嗎?
你們看看,
耶和華向我發烈怒,降禍於我,
還有誰比我更痛苦呢?
13「祂從高天降下火來,
焚燒我的骨頭;
祂在我腳前設下網羅,
使我返回;
祂使我淒涼孤寂,終日痛苦。
14「我的罪惡連接成軛,
祂親手把它們編在一起,
綁在我的頸項上,
使我精疲力盡。
主把我交給我無力抵擋的敵人。
15「主藐視我所有的勇士,
召集軍隊攻擊我,
打垮我的青年。
主踐踏猶大人1·15 「猶大人」希伯來文是「猶大的純潔少女」。,
如同在榨酒池踩踏。
16「我為此哭泣,
淚流滿面,
卻無人安慰、鼓勵我。
我的兒女淒涼孤苦,
因為仇敵已經得勝。」
17錫安伸手求助,卻無人理睬。
耶和華已命四周鄰國與雅各為敵。
耶路撒冷在他們當中成了污穢之物。
18「但耶和華是公義的,
因為我違背了祂的命令。
萬國啊,請聽我的話,
看看我的痛苦!
我的年輕男女都被擄去。
19「我向情人們求助,
他們卻欺騙我。
我的祭司和長老在覓食求生時,
倒斃在城中。
20「耶和華啊,
看看我是多麼痛苦!
我的內臟攪動,
我的心靈翻騰,
因為我背叛了你。
街上有屠殺,
家中有死亡。
21「人們聽見我的哀歎,
卻無人安慰我。
敵人看見你降給我的災難,
都幸災樂禍。
願你應許的審判之日來臨,
叫他們像我一樣受苦!
22「願他們的惡行都擺在你眼前!
你怎樣因我的罪惡而懲罰我,
願你也照樣懲罰他們!
我歎息不絕,心中哀傷。」