Yerusaalemi Kifuuse Matongo
11:1 a Is 47:8 b 1Bk 4:21 c Is 3:26; Yer 40:9Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa!
Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga,
nga kifuuse nga nnamwandu!
Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza,
afuuse omuddu omukazi.
21:2 a Zab 6:6 b Yer 3:1 c Yer 4:30; Mi 7:5 d nny 16Ekiro akaaba nnyo nnyini,
n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.
Mu baganzi be bonna,
talina n’omu amubeesabeesa.
Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,
bafuuse balabe be.
31:3 a Yer 13:19 b Ma 28:65Yuda agenze mu buwaŋŋanguse
oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu.
Kati abeera mu bannamawanga,
talaba kifo kya kuwummuliramu.
Bonna abamunoonya bamusanga
mu nnaku ye.
41:4 a Yer 9:11 b Yo 1:8-13Enguudo za Sayuuni zikungubaga,
kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa.
Emiryango gye gyonna girekeddwa awo,
bakabona be, basinda;
bawala be abaweereza bali mu buyinike,
naye yennyini ali mu nnaku.
51:5 a Yer 30:15 b Yer 39:9; 52:28-30Abamuyigganya bafuuse bakama be;
abalabe be beeyagala,
kubanga Mukama amuleeseeko ennaku,
olw’ebibi bye ebingi.
Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse,
bawambiddwa omulabe.
61:6 Yer 13:18Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni
kimuweddeko,
abalangira be bafuuse ng’ennangaazi
ezibuliddwa omuddo;
mu bunafu,
badduse ababagoba.
71:7 Yer 37:7; Kgb 4:17Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana,
Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna
bye yalinanga mu nnaku ez’edda.
Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe,
tewaali n’omu amubeera;
abalabe be ne bamutunuulira
ne bamusekerera olw’okugwa kwe.
81:8 a nny 20; Is 59:2-13 b Yer 13:22, 26 c Is 59:21, 22Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini,
bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu.
Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma,
kubanga balabye bw’asigalidde awo;
ye yennyini asinda,
era akwatibwa ensonyi.
91:9 a Ma 32:28-29; Is 47:7; Ez 24:13 b Yer 13:18 c Mub 4:1; Yer 16:7 d Zab 25:18Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye;
teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja.
Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo;
tewaali n’omu amubeesabeesa.
“Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange,
kubanga omulabe awangudde.”
101:10 a Is 64:11 b Zab 74:7-8; Yer 51:51 c Ma 23:3Omulabe yagololera omukono
ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo;
yalaba amawanga amakaafiiri
nga gayingira awatukuvu we,
beebo be wali ogaanye
okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.
111:11 a Zab 38:8 b Yer 52:6Abantu be bonna basinda
nga bwe banoonya ekyokulya;
eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere,
okusobola okuba abalamu.
“Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo
kubanga nnyoomebwa.”
121:12 a Yer 18:16 b nny 18 c Is 13:13; Yer 30:24“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?
mwetegereze mulabe
obanga waliwo obuyinike obwenkana,
obwantukako,
Mukama bwe yanteekako
ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.
131:13 a Yob 30:30 b Yer 44:6 c Kbk 3:16“Yaweereza omuliro okuva waggulu,
ne gukka mu magumba gange.
Yatega ebigere byange akatimba,
n’anzizaayo emabega.
Yandeka mpuubadde,
nga nzirise olunaku lwonna.
141:14 a Ma 28:48; Is 47:6 b Yer 32:5“Ebibi byange binfuukidde ekikoligo;
bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe.
Binzitoowerera mu bulago,
era bimmazeemu amaanyi.
Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo
be siyinza kugumiikiriza.
151:15 a Yer 37:10 b Is 41:2 c Is 28:18; Yer 18:21“Mukama anyoomye
abalwanyi abazira bonna abaali nange;
akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,
okuzikiriza abavubuka bange.
Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,
ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.
161:16 a Kgb 2:11, 18; 3:48-49 b Zab 69:20; Mub 4:1 c nny 2; Yer 13:17; 14:17“Kyenva nkaaba,
amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
kubanga omulabe awangudde.”
171:17 Yer 4:31Sayuuni agolola emikono gye,
naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.
181:18 a 1Sa 12:14 b nny 12 c Ma 28:32, 41“Mukama mutuukirivu,
newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
batwalibbwa mu busibe.
191:19 Yer 14:15; Kgb 2:20“Nakoowoola bannange bannyambe,
naye tebanfaako;
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange
bazikiririra mu kibuga
nga banoonya ekyokulya
baddemu amaanyi.
201:20 a Yer 4:19 b Kgb 2:11 c Ma 32:25; Ez 7:15“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.
211:21 a nny 8 b nny 4 c Kgb 2:15 d Is 47:11; Yer 30:16“Abantu bawulidde okusinda kwange,
naye tewali n’omu ananyamba.
Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;
basanyukidde ekyo ky’okoze.
Olunaku lwe walangirira,
lubatuukeko, babeere nga nze.
221:22 Nek 4:5“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,
nga nze bwe wambonereza.
Okusinda kwange kungi
n’omutima gwange guzirika.”