Okubikkulirwa 15 – LCB & CCL

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 15:1-8

Bamalayika Omusanvu n’Ebibonoobono Omusanvu

1Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire. 2Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa. 3Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,

“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,

ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.

Amakubo go matukuvu era ga mazima,

ayi ggwe Kabaka w’amawanga.

4Ani ataakutye Ayi Mukama,

n’atagulumiza linnya lyo?

Ggwe wekka gwe Mutukuvu,

amawanga gonna galijja

ne gasinziza mu maaso go,

Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”

5Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba Yeekaalu ng’eggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro ly’obujulirwa mu ggulu. 6Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu. 7Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe n’emirembe. 8Awo Yeekaalu n’ejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda n’emu maanyi ge, so tewaali muntu n’omu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.

Mawu a Mulungu mu Chichewa Chalero

Chivumbulutso 15:1-8

Angelo Asanu ndi Awiri Okhala ndi Miliri Isanu ndi Iwiri

1Kumwamba ndinaona chizindikiro china chachikulu ndi chodabwitsa: angelo asanu ndi awiri ali ndi miliri isanu ndi iwiri yomaliza chifukwa Mulungu anakwiya kotheratu. 2Ndipo ndinaona chimene chinaoneka ngati nyanja yonyezimira yosakaniza ndi moto, ndipo pambali pa nyanjayo panayima amene anagonjetsa chirombo chija ndi fano lake, ndi nambala yotanthauza dzina lake. Anthuwo ananyamula azeze amene Mulungu anawapatsa. 3Iwo ankayimba nyimbo ya Mose, mtumiki wa Mulungu, ndi nyimbo ya Mwana Wankhosa. Nyimbo yake inkati,

“Zochita zanu ndi zazikulu ndi zodabwitsa,

Ambuye Mulungu Wamphamvuzonse

Njira zanu ndi zachilungamo ndi zoona,

Mfumu ya mitundu yonse.

4Inu Ambuye, ndani angapande kukuopani,

ndi kulemekeza dzina lanu?

Pakuti Inu nokha ndiye woyera.

Anthu a mitundu yonse adzabwera

kudzapembedza pamaso panu,

pakuti ntchito zanu zolungama zaonekera poyera.”

5Zitatha izi, ndinaona kumwamba Nyumba ya Mulungu imene ndi Tenti ya Umboni, atatsekula. 6Mʼnyumbamo munatuluka angelo asanu ndi awiri ndi miliri isanu ndi iwiri. Angelowo anavala nsalu zoyera bwino zonyezimira ndi malamba agolide pa zifuwa zawo. 7Ndipo kenaka chimodzi cha zamoyo zinayi zija chinapereka kwa angelo asanu ndi awiri mbale zisanu ndi ziwiri zodzaza ndi ukali wa Mulungu amene ali ndi moyo mpaka muyaya. 8Ndipo Nyumba ya Mulungu inadzaza ndi utsi wochokera ku ulemerero wa Mulungu ndi ku mphamvu zake, ndipo panalibe yemwe akanalowa mʼNyumbayo mpaka miliri isanu ndi iwiri ya angelo asanu ndi awiri aja itatha.