Okubikkulirwa 11 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 11:1-19

Abajulizi Ababiri

1Ne mpeebwa olumuli oluli ng’omuggo okupima ne ŋŋambibwa nti, “Golokoka opime Yeekaalu ya Katonda n’ekyoto n’abo abasinziza mu Yeekaalu. 2Naye oluggya olw’ebweru lwo tolupima kubanga luweereddwayo eri amawanga, era balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri (42). 3Era ndiwa abajulirwa bange ababiri nga bambadde ebibukutu ne bawa obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).” 4Abajulirwa abo ababiri gy’emiti emizeeyituuni ebiri era ebikondo by’ettaala ebibiri, abayimirira mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna. 5Omuntu yenna agezaako okubakolako akabi azikirizibwe n’omuliro oguva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe; era omuntu yenna bw’ayagala okubakolako akabi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa. 6Balina obuyinza okuggalawo eggulu enkuba n’etetonnya mu nnaku ez’obunnabbi bwabwe, era balina n’obuyinza okufuula amazzi omusaayi n’okuleeta buli kubonaabona kwonna ku nsi buli lwe banaabanga baagadde.

7Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte n’okubawangula ebawangule. 8Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z’ekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba; ekibuga ekiyitibwa “Sodomu” mu mwoyo oba ensi eya “Misiri” mu mwoyo 9Era okumala ennaku ssatu n’ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu abamu n’ebika, n’ennimi, n’amawanga mu nguudo z’ekibuga. Tewali n’omu alikkirizibwa kubaziika. 10Era walibaawo okusanyuka ku nsi, abantu bonna nga bajaguza n’okuweerezagana ebirabo, n’okwekulisa bannabbi abo ababiri abaliba bafudde abaali bababonyaabonya ennyo.

11Naye oluvannyuma lw’ennaku essatu n’ekitundu omwoyo gw’obulamu oguva eri Katonda ne gubayingiramu ne bayimirira. Awo okutya kungi ne kujjira buli muntu yenna eyabalaba. 12Awo ne bawulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mulinnye mujje wano.” Ne balinnya mu kire okugenda mu ggulu ng’abalabe baabwe babalaba.

13Mu ssaawa eyo y’emu ne wabaawo musisi eyasuula ekitundu ekimu eky’ekkumi eky’ekibuga, era abantu kasanvu ne bafa. Abaawona baatya nnyo era ne bagulumiza Katonda ow’eggulu.

14Eky’entiisa ekyokubiri ne kiyita, naye ekyokusatu kijja mangu.

Ekkondeere ery’Omusanvu

15Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti,

“Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse

bwa Mukama waffe ne Kristo we,

era anaafuganga emirembe n’emirembe.”

16Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza 17nga bagamba nti,

“Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna,

ggwe aliwo kati era eyaliwo,

kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo,

Era ofuga.

18Amawanga gaakunyiigira,

naye kaakano naawe ky’ekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo

era ky’ekiseera okusalira abo abaafa omusango,

n’okuwa empeera abaweereza bo bannabbi,

n’abatukuvu bo, n’abo abatya erinnya lyo

abakulu n’abato,

n’okuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”

19Awo Yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’eggulwawo, n’essanduuko ey’endagaano n’erabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu n’omuzira omungi ogw’amaanyi era ensi yonna n’ekankanyizibwa musisi ow’amaanyi ennyo.

New Russian Translation

Откровение 11:1-19

Два свидетеля

1Мне была дана трость, наподобие посоха, и сказано:

– Встань и измерь ею храм Божий, жертвенник и посчитай тех, кто пришел туда на поклонение. 2Но внешний двор храма не включай и не измеряй, потому что он отдан язычникам, они будут топтать святой город сорок два месяца11:2 См. Лк. 21:24; также Дан. 7:25; 9:26-27; 12:7 (42 месяца и 1 260 дней (стих 3) – это один и тот же отрезок времени, равный 3,5 годам).. 3Я дам Моим двум свидетелям силу, и они будут пророчествовать тысячу двести шестьдесят дней, одетые в рубище11:3 Одежда из рубища, в данном случае, говорила о грядущем суде и необходимости раскаяния в грехах..

4Это две оливы и два светильника, стоящие перед Господом земли11:4 Ср. Зах. 4:1-14.. 5Если кто-то пытается причинить им вред, то изо рта этих свидетелей выходит огонь и поглощает их врагов. Так погибает каждый, кто хочет причинить им вред. 6Им дана власть затворить небеса, чтобы в дни, когда они пророчествуют, на землю не шел дождь, а также власть превращать воду в кровь и поражать землю всевозможными бедствиями столько раз, сколько они захотят.

7Когда они полностью окончат свое свидетельство, тогда зверь, выходящий из бездны, нападет на них, победит их и умертвит. 8Их трупы будут лежать на улице великого города, где и их Господь был распят, города, который символически назван Содомом и Египтом. 9Три с половиной дня на их трупы смотрит множество людей из всех народов, языков, родов и племен, и трупы их не разрешают похоронить. 10Жители земли радуются их гибели, устраивают праздники и посылают друг другу подарки, потому что присутствие этих пророков было мучительно для жителей земли. 11Но через три с половиной дня в них вошел дух жизни от Бога, и они встали на ноги. Все, кто это видел, пришли в ужас. 12Два свидетеля услышали с небес громкий голос:

– Поднимитесь сюда.

Они поднялись в облаке на небеса, и их враги это видели. 13В тот же час произошло сильное землетрясение, и десятая часть города разрушилась. Во время землетрясения погибло семь тысяч человек, остальных же охватил ужас, и они прославили Бога небесного.

14Второе горе окончилось, но приближалось еще третье.

Седьмая труба

15Затрубил седьмой ангел, и в небесах громко прозвучали слова:

– Царство мира стало

Царством нашего Господа и Его Христа!

Он будет царствовать вечно!

16Двадцать четыре старца, которые сидят на своих тронах перед Богом, пали на лица свои и поклонились Богу, 17говоря:

– Мы благодарим Тебя, Господь, Бог Вседержитель,

Тот, Кто есть и Кто был,

за то, что Ты взял великую власть в Свои руки

и начал царствовать.

18Народы разъярились11:18 См. Пс. 2:1.,

но сейчас настал черед Твоего гнева.

Настал час суда над мертвыми,

час раздачи наград Твоим слугам пророкам

и святым, благоговеющим перед Твоим именем,

как малым, так и великим,

и час истребления тех, кто растлевает землю11:18 Или: «истребляет людей на земле»..

19Тогда на небесах открылся храм Божий, а в храме был явлен ковчег завета Его. Засверкали молнии, раздались голоса, загремел гром, произошло землетрясение и пошел сильный град.