Okubikkulirwa 1 – LCB & OL

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 1:1-20

Ennyanjula

1Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yakimanyisa ng’atuma malayika we eri omuweereza we Yokaana 2eyategeeza ekigambo kya Katonda n’obujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba. 3Alina omukisa oyo asoma n’abo abawulira ebigambo by’obunnabbi buno, ne beekuuma ebiwandiikiddwa, kubanga ekiseera kiri kiweddeyo.

Okulamusa n’Okutendereza Mukama

4Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.

Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,1:4 Amakanisa omusanvu gaali geeyawudde kilomita amakumi ataano nga gali mu ngeri ya nnekulungo, okuva ku Efeso okutuuka ku Lawodikiya, ekiri mu buvanjuba bwa Efeso. Ekitabo kyonna ekya kubikkulirwa kyaweerezebwa mu buli kkanisa 5era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe, 6n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina.

7“Laba, ajja n’ebire,

na buli liiso lirimulaba,

n’abaamufumita balimulaba,

era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.”

Weewaawo. Amiina!

8“Nze Alufa ne Omega,”1:8 Alufa ne Omega ze nnukuta ez’Oluyonaani. Alufa y’esooka, Omega n’esembayo. Katonda ye ntandikwa era ye nkomerero bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”

Oyo eyali ng’Omwana w’Omuntu

9Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu. 10Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe,1:10 Olunaku lwa Mukama waffe: kye kikozesebwa okutegeeza olunaku olusooka olwa wiiki, era lujjukirwa nga lwe lunaku Yesu lwe yazuukirirako mu bafu. Lwe lunaku Abakristaayo kwe baakuŋŋaaniranga ne basolooza ebirabo ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe, 11nga ligamba nti, “By’olaba, biwandiike mu kitabo, okiweereze eri Ekkanisa omusanvu: Ekkanisa ey’omu Efeso, n’ey’omu Sumuna, n’ey’omu Perugamo, n’ey’omu Suwatira, n’ey’omu Saadi, n’ey’omu Firaderufiya n’ey’omu Lawodikiya.”

12Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo by’ettaala ebya zaabu musanvu. 13Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ng’Omwana w’Omuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. 14Omutwe gwe n’enviiri ze byali byeru ng’ebyoya by’endiga ebyeru, era nga bifaanana ng’omuzira, n’amaaso ge nga gali ng’ennimi z’omuliro. 15Ebigere bye byali ng’ekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro n’eddoboozi lye nga liyira ng’amazzi amangi. 16Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ng’alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri1:16 Ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri ekyogerwako wano, kyali kiwanvu nga kifaanana ekitala kya Sirasiya mu kamwa ke; n’ekyenyi kye nga kiri ng’enjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.

17Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero, 18era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’amagombe.

19“Kale wandiika ebyo by’olabye ebiriwo n’ebyo ebinaatera okubaawo oluvannyuma lw’ebyo ebiriwo. 20Ka nkubuulire amakulu g’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era n’ebikondo eby’ettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b’Ekkanisa omusanvu, ate ebikondo by’ettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu.”

O Livro

Apocalipse 1:1-20

Introdução

1Este livro revela acontecimentos que se hão de dar num futuro próximo, dizendo respeito a Jesus Cristo, e que Deus revelou por intermédio de João, seu servo, a quem foi enviado um anjo para lhe explicar o significado dessas coisas. 2E João dá aqui testemunho das palavras de Deus, do que lhe foi revelado por Jesus Cristo, e do que viu e ouviu.

3Felizes aqueles que lerem o conteúdo desta profecia, e também os que ouvirem e aceitarem tudo o que nela está escrito, porque está próximo o tempo.

Saudações

4João, às sete igrejas da província da Ásia.

Que vos sejam concedidas a graça e a paz daquele que é, que era e que há de vir, e também dos sete espíritos que se acham diante do seu trono, 5assim como da parte de Jesus Cristo, a testemunha fiel, o primeiro dos ressuscitados, o soberano dos reis da Terra.

A esse que nos ama e nos lavou dos nossos pecados pelo seu sangue, 6nos reuniu no seu reino e nos fez sacerdotes de Deus, seu Pai, seja dada toda a honra e reconhecido o seu poder para sempre. Que assim seja!

7Eis que ele vem rodeado de nuvens,

e toda a gente o verá,

até mesmo aqueles que o trespassaram.1.7 Zc 12.10.

E as nações se lamentarão por causa dele.

Sim, isso é que há de acontecer!

8“Eu sou o Alfa e o Ómega”,1.8 A primeira e a última letra do alfabeto grego, significando que Jesus é a origem ou fonte de todas as coisas e que em Jesus todas as coisas têm o seu fim, de acordo com a sua vontade. diz o Senhor Deus, Todo-Poderoso, que é, que era, e que virá!

A visão do Filho do Homem

9Eu, João, sou vosso irmão em Jesus e companheiro nos sofrimentos, na paciência e no reino. Estava eu exilado na ilha de Patmos, por ter pregado a palavra de Deus e falado sobre Jesus Cristo, 10quando, no dia do Senhor, fui tomado pelo Espírito e ouvi uma voz muito forte por detrás de mim, com um timbre semelhante ao de uma trombeta. 11E dizia: “Põe por escrito aquilo que vires e envia-o às sete igrejas que estão na província da Ásia: Éfeso, Esmirna, Pérgamo, Tiatira, Sardo, Filadélfia e Laodiceia.”

12Na altura em que me virei para saber quem é que estava a falar comigo, vi sete castiçais de ouro. 13E no meio deles estava o Filho do Homem. Trazia um manto que lhe chegava aos pés e uma faixa de ouro em volta do peito. 14Os seus cabelos eram brancos como a lã, ou como a neve, e os olhos brilhavam como chamas ardentes. 15Os pés reluziam como bronze polido e a sua voz tinha a majestade das grandes vagas. 16Segurava na mão direita sete estrelas e na boca uma afiada espada de dois fios; o esplendor do seu rosto era como o do Sol na sua maior força.

17Quando o vi, caí a seus pés como morto. Mas ele pôs sobre mim a mão direita e disse-me: “Não tenhas medo! Sou eu, o primeiro e o último! 18Sou aquele que está vivo! Que foi morto, mas agora vive eternamente. Eu tenho as chaves da morte e do inferno. 19Escreve o que tens visto e que diz respeito tanto ao tempo presente como ao futuro. 20Este é o significado das sete estrelas que viste na minha mão direita, assim como dos sete castiçais de ouro: as sete estrelas são os mensageiros1.20 A palavra grega angelos pode ser traduzida, em geral, como mensageiro ou, mais especificamente, como anjo. Neste versículo e nos dois capítulos seguintes deve ser entendida no primeiro sentido. das sete igrejas e os sete castiçais são as próprias igrejas.