Okubala 35 – LCB & CARS

Luganda Contemporary Bible

Okubala 35:1-34

Ebibuga by’Abaleevi

1Awo abaana ba Isirayiri bwe baali nga basiisidde mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani, okwolekera Yeriko, Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2“Lagira abaana ba Isirayiri nti bawanga Abaleevi ebibuga eby’okubeeramu, nga babiggya mu butaka bwabwe bwe baligabana obw’enkalakkalira. Era babaweerangako n’amalundiro okwetooloola ebibuga ebyo. 3Kale, olwo balibeera n’ebibuga ebyokusulangamu, n’amalundiro ag’ente zaabwe n’endiga zaabwe, awamu n’ensolo zaabwe endala ezirundibwa.

4“Amalundiro aganaaweebwanga Abaleevi ab’omu bibuga ebyo ganaapimwanga obugazi okuva ku bbugwe w’ekibuga mita ebikumi bina mu ataano. 5Amalundiro ago ganaapimanga obuwanvu bwa mita lwenda ku ludda olw’ebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olw’ebugwanjuba, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikakkono, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikaddyo, ng’ekibuga kiri wakati. Ago ge ganaabanga amalundiro gaabo ab’omu kibuga.

Ebibuga eby’Okuddukirangamu

6“Ku bibuga bye muligabira Abaleevi kugenda kubeerako ebibuga mukaaga eby’okuddukirangamu, omuntu asse omuntu nga tagenderedde. Okwo mulyoke mwongereko ebibuga amakumi ana mu bibiri. 7Okutwalira awamu muliteekwa okugabira Abaleevi ebibuga amakumi ana mu munaana, mubagattireko n’amalundiro. 8Omuwendo gw’ebibuga bye muligabira Abaleevi gulyesigamizibwa ku bunene n’obutono obwa buli busika obw’abaana ba Isirayiri. Ab’obusika obunene muliwaayo ebibuga bingi, n’ab’obusika obutono muliwaayo ebibuga bitono.”

9Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 10“Yogera eri abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi y’e Kanani, 11mweronderangamu ebibuga ebinaabanga ebibuga byammwe eby’okuddukirangamu; ng’omwo omuntu asse omuntu nga tagenderedde mw’anaddukiranga. 12Bye binaabanga ebifo eby’obuddukiro okwewala omuwoolezi w’eggwanga35:12 Omuwoolezi w’eggwanga Yabanga waaluganda wakumpi ddala., omuntu ateeberezebwa okuba omutemu alemenga okuttibwa nga tasoose kuwozesebwa mu maaso g’ekibiina. 13Ebibuga ebyo omukaaga bye mugenda okuwaayo bye binaabanga ebibuga byammwe eby’obuddukiro. 14Mugenda kuwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani, n’ebibuga bisatu mu Kanani, okubeeranga ebibuga eby’obuddukiro. 15Abaana ba Isirayiri n’abagenyi bammwe, n’abagwira abanaabeeranga mu mmwe, mwenna munaddukiranga mu bibuga ebyo omukaaga. Kwe kugamba nti omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde anaddukiranga omwo.’

16“ ‘Omuntu bw’anaakubanga omuntu n’ekyuma n’amutta, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala. 17Era omuntu bw’anaabanga akutte ejjinja mu ngalo ze, n’akuba munne n’ejjinja eryo, omutemu anattirwanga ddala. 18Oba omuntu bw’anaabanga akutte ekyokulwanyisa eky’omuti mu ngalo ze, ekiyinza okutta omuntu, n’akikubisa munne, munne n’afa, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala. 19Omuwoolezi w’eggwanga yennyini y’anattanga omutemu; bw’anaamusisinkananga anaamuttanga. 20Omuntu bw’anaabangako ekiruyi ku munne n’amufumita ng’akigenderedde, olw’obukyayi, oba n’amwekwekerera n’amukasuukirira ekintu ne kimukuba ne kimutta, 21oba olw’obulabe bw’amulinako n’amukuba ekikonde, munne n’afa, omuntu oyo amukubye ekikonde anaafanga; kubanga mutemu. Omuwoolezi w’eggwanga y’anattanga omutemu oyo ng’amusisinkanye.

22“ ‘Singa omuntu afumita munne mangwago, gw’atalinaako bulabe, oba n’akasuka ekintu nga tagenderedde ne kimukuba, 23oba n’ayiringisa ejjinja, eriyinza okutta omuntu, ne limugwako nga tamulabye, n’afa; olwokubanga teyali mulabe we, era nga yali tagenderedde kumulumya; 24kale, olukiiko lw’ekibiina lunaasalangawo wakati we n’omuwoolezi w’eggwanga, nga lugoberera amateeka gano nga bwe gali. 25Omussi oyo olukiiko lw’ekibiina lunaamuwonyanga omuwoolezi w’eggwanga, ne lumuleka n’abeeranga mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa Kabona Omukulu eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni amatukuvu ng’amaze okufa.

26“ ‘Naye omussi oyo bwe kanaamutandanga n’afulumako mu kibuga kye eky’obuddukiro mwe yaddukira, 27omuwoolezi w’eggwanga n’amala amusanga ebweru w’ekibuga ekyo, n’amutta, omuwoolezi w’eggwanga taabengako musango gwa butemu. 28Kubanga omussi oyo kinaamusaaniranga okubeera mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa nga Kabona Omukulu amaze okufa. Kabona Omukulu anaamalanga kufa, omussi oyo n’addayo ewuwe mu bintu bye eby’obutaka.

Amateeka ku Bujulizi n’Okununula

29“ ‘Gano ganaabeeranga mateeka gammwe ge munaakwatanga mu mirembe gyammwe gyonna ne buli we munaabeeranga. 30Omuntu bw’anattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obw’omuntu omu yekka.

31“ ‘Temukkirizanga mutango olw’okununula omussi asingiddwa omusango ogw’obutemu n’asalirwa okuttibwa; anaateekwanga okuttibwa.

32“ ‘Temukkirizanga mutango ogw’okununula omussi abeera mu kibuga eky’obuddukiro, alyoke aveeyo addeyo ewuwe nga Kabona Omukulu tannaba kufa.

33“ ‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu. Okuyiwa omusaayi kyonoona ensi; okutangiririra ensi omuyiise omusaayi si kyangu, okuggyako ng’etangiririrwa n’omusaayi gw’oyo eyayiwa omusaayi mu nsi omwo. 34Temwonoonanga nsi mwe mubeera nange mwe mbeera, kubanga Nze, Mukama Katonda, mbeera wakati mu baana ba Isirayiri.’ ”

Священное Писание

Числа 35:1-34

Города для левитов

1На равнинах Моава у реки Иордан, напротив города Иерихона, Вечный сказал Мусе:

2– Вели исраильтянам дать левитам города для обитания из надела, которым они владеют. Дайте им и пастбища вокруг городов. 3Тогда у них будут города для обитания и пастбища для стад, отар и прочего скота. 4Пастбища для скота вокруг городов, которые вы дадите левитам, пусть простираются на четыреста пятьдесят метров35:4 Букв.: «тысячу локтей». вокруг городской стены. 5Вне города отмерьте девятьсот метров35:5 Букв.: «две тысячи локтей». на восток, девятьсот метров на юг, девятьсот метров на запад и девятьсот метров на север, а город – посередине. Эта земля будет у них городским пастбищем для скота.

Города-убежища

(Втор. 4:41-43; 19:1-14; Иеш. 20:1-9)

6Шесть из городов, которые вы дадите левитам, пусть будут городами-убежищами. Туда сможет убежать убивший кого-либо. Сверх того дайте им ещё сорок два города. 7Всего дайте левитам сорок восемь городов с пастбищами. 8Города, которые вы дадите левитам из удела исраильтян, нужно давать по уделу каждого рода: берите много городов у родов, чей удел больше, но меньше у тех, чей удел меньше.

9Вечный сказал Мусе:

10– Обратись к исраильтянам и скажи им: «Когда вы переправитесь через Иордан в Ханаан, 11то выберите себе города-убежища, куда сможет убежать всякий, кто убил человека неумышленно. 12Они будут у вас убежищем от мстителя, чтобы убийце не погибнуть, прежде чем он предстанет перед обществом на суд. 13Шесть городов, которые вы назначите, будут у вас городами-убежищами. 14Назначьте три города на этой стороне Иордана и три в Ханаане как города-убежища. 15Шесть этих городов будут убежищем для исраильтян, пришельцев и поселенцев среди вас: сюда сможет убежать всякий, кто убил человека неумышленно.

16Если человек ударит другого железным предметом так, что тот умрёт, он убийца. Убийцу нужно предать смерти. 17Или если у человека в руке камень, которым можно убить, и он ударит другого так, что тот умрёт, он убийца. Убийцу нужно предать смерти. 18Или если у человека в руке деревянный предмет, которым можно убить, и он ударит другого так, что тот умрёт, он убийца. Убийцу нужно предать смерти. 19Мститель за кровь – это тот, кто предаст убийцу смерти; встретив его, он предаст его смерти. 20Если человек со злым умыслом толкнёт другого или бросит в него что-нибудь так, что тот умрёт, 21или во вражде ударит его кулаком так, что тот умрёт, его нужно предать смерти – он убийца. Встретив убийцу, мститель за кровь предаст его смерти.

22Но если человек без вражды, нечаянно толкнёт другого или без злого умысла бросит в него чем-нибудь 23или, не видя его, уронит на него камень, которым можно убить, и тот умрёт, хотя он не враждовал с ним и не желал ему зла, 24то пусть общество рассудит между убийцей и мстителем за кровь по этим законам. 25Пусть народ защитит убийцу от мстителя за кровь и отправит его обратно, в город-убежище, куда он убежал. Пусть он живёт там до смерти главного священнослужителя, помазанного священным маслом.

26Но если убийца выйдет из города-убежища, в который он убежал, 27и мститель за кровь найдёт его вне города, то мститель может убить его и не будет виновен в убийстве. 28Убийца должен находиться в городе-убежище до смерти главного священнослужителя. Только после смерти главного священнослужителя он может вернуться домой.

29Таковы установленные законы для вас и грядущих поколений, где бы вы ни жили.

30Любого, кто убьёт человека, нужно предать смерти как убийцу по показанию свидетелей. Но нельзя предавать смерти по показанию лишь одного свидетеля.

31Не берите выкупа за жизнь убийцы, который заслужил смерть. Его непременно нужно предать смерти.

32Не берите выкупа за убежавшего в город-убежище, чтобы позволить ему вернуться и жить на своей земле, прежде чем умрёт главный священнослужитель.

33Не оскверняйте землю, где вы живёте. Кровь оскверняет землю, и для земли, на которую была пролита кровь, нельзя совершить очищение иначе, как кровью того, кто её пролил. 34Не оскверняйте землю, где вы живёте, и где обитаю Я. Ведь Я, Вечный, обитаю среди исраильтян».