Okubala 3 – LCB & PCB

Luganda Contemporary Bible

Okubala 3:1-51

Batabani ba Alooni

1Luno lwe lulyo lwa Alooni n’olwa Musa mu biseera Mukama mwe yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi.

2Gano ge mannya ga batabani ba Alooni: Nadabu, omubereberye, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali. 3Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, abaafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni okuba bakabona, era abaayawulibwa okuweereza mu mulimu gw’obwakabona. 4Naye nno Nadabu ne Abiku baatondokera mu maaso ga Mukama ne bafa, kubanga baayokya ekiweebwayo eri Mukama Katonda n’omuliro ogutakkirizibwa nga bali mu ddungu ly’e Sinaayi. Tebaalina baana; bwe batyo, Eriyazaali ne Isamaali ne basigala nga be bokka abaaweerezanga nga bakabona ebbanga lyonna kitaabwe Alooni lye yamala nga mulamu.

Omuwendo gw’Abaleevi n’Emirimu gyabwe

5Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 6“Leeta ab’omu kika kya Leevi3:6 Kika kya Leevi baawukanira ddala ku bakabona, abaali bazzukulu ba Alooni. Abaleevi baayambanga bakabona. obakwase Alooni kabona bamuweerezenga. 7Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama. 8Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri. 9Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri. 10Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.”

11Mukama Katonda n’ayongera okugamba Musa nti, 12“Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo ky’abaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange, 13kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.”

14Awo Mukama Katonda n’agamba Musa mu ddungu ly’e Sinaayi nti, 15“Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe3:15 Abaleevi tebaawandikibwanga kulwana mu magye, era kyebaava batabalibwa oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri egy’obukulu. Ekya babazanga, kwe kumanya abaana baabwe ababereberye (3:40-43).. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.” 16Bw’atyo Musa n’ababala nga Mukama Katonda bwe yamulagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.

17Gano ge mannya ga batabani ba Leevi:

Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali.

18Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali:

Libuni ne Simeeyi.

19Bano be batabani ba Kokasi ng’empya zaabwe bwe zaali:

Amulaamu, ne Izukali ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.

20Bano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali:

Makuli ne Musi.

Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali.

21Mu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni n’oluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga z’empya za Abagerusoni.

22Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500).

23Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama.

24Omukulembeze w’empya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri.

25Abagerusoni be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako n’eggigi ery’omu mulyango oguyingira mu Weema, 26n’entimbe ez’omu luggya, n’entimbe ez’omu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema n’ekyoto. Era banaalabiriranga n’emiguwa awamu n’ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo.

27Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi.

28Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga3:28 ebiwandiiko ebirala bigamba kanaana mu bisatu (8,600).

Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu.

29Ab’omu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olw’obukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.

30Omukulembeze w’empya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.

31Abakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo.

32Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu.

33Mu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli n’oluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali.

34Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200).

35Omukulembeze w’empya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri;

Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.

36Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya Mukama byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo. 37Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya n’entobo zaazo, n’enkondo za Weema n’emiguwa.

38Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Weema ya Mukama, okwolekera enjuba gy’eva mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lw’abaana ba Isirayiri.

Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ng’ateekwa kufa.

39Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).

Okubala Abasajja Ababereberye

40Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bala abaana ba Isirayiri bonna aboobulenzi ababereberye okuva ku mwana ow’omwezi ogumu n’okusingawo okole olukalala lw’amannya gaabwe gonna. 41Era ojja kunfunira Abaleevi mu kifo ky’ababereberye ab’abaana ba Isirayiri, era onfunire n’ente ez’Abaleevi mu kifo ky’ente ez’abaana ba Isirayiri embereberye. Nze Mukama Katonda.”

42Awo Musa n’abala abaana ba Isirayiri ababereberye nga Mukama Katonda bwe yamulagira. 43Okugatta awamu abaana aboobulenzi ababereberye bonna okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa, nga n’amannya gaabwe gawandiikiddwa ku lukalala, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri mu nsanvu mu basatu.

44Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 45“Nfunira Abaleevi badde mu kifo ky’abaana ba Isirayiri ababereberye, n’ente z’Abaleevi zidde mu kifo ky’ente z’abaana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. Nze Mukama Katonda. 46Okununula ababereberye ab’abaana ba Isirayiri ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu abasukkirira ku muwendo gw’Abaleevi abasajja, 47onoddiranga gulaamu amakumi ataano mu ttaano ku buli omu, ng’ogeraageranyiza ku gulaamu kkumi n’emu ey’awatukuvu nga bw’eri, ye sekeri3:47 sekeri sekeri emu ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu ey’obuzito ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu. 48Ensimbi ez’okununula abaana ba Isirayiri abasukkiriramu oziwanga Alooni ne batabani be.”

49Bw’atyo Musa n’asolooza ensimbi ez’okwenunula ku abo abaasukkirira ku muwendo gw’abo abaanunulibwa Abaleevi. 50Yasolooza ku babereberye ab’abaana ba Isirayiri effeeza ey’obuzito obwa kilo kkumi na ttaano n’ekitundu, ng’engeraageranya ya sekeri y’awatukuvu bw’eri. 51Musa n’addira ensimbi ez’okwenunula n’aziwa Alooni ne batabani be, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Persian Contemporary Bible

اعداد 3:1-51

پسران هارون

1زمانی كه خداوند در كوه سينا با موسی صحبت كرد، 2هارون چهار پسر به نامهای ناداب (پسر ارشد)، ابيهو، العازار و ايتامار داشت.

3هر چهار نفر ايشان برای خدمت كاهنی انتخاب و تقديس3‏:3 «تقديس» يعنی جدا کردن، اختصاص دادن و مقدس ساختن.‏ شدند تا در خيمهٔ عبادت خدمت كنند. 4ولی ناداب و ابيهو به علت استفاده از آتش غير مجاز در حضور خداوند، در صحرای سينا مردند و چون فرزندی نداشتند، فقط العازار و ايتامار باقی ماندند تا پدرشان هارون را در خدمت كاهنی ياری كنند.

لاويان برای خدمت به كاهنان تعيين می‌شوند

5پس خداوند به موسی فرمود: 6«قبيلهٔ لاوی را فرا خوان و ايشان را به عنوان دستياران هارون نزد او حاضر كن. 7‏-9ايشان بايد از دستورات او پيروی نموده، به جای تمام قوم اسرائيل خدمات مقدس خيمهٔ عبادت را انجام دهند، زيرا ايشان به نمايندگی همهٔ بنی‌اسرائيل تعيين شده‌اند تا زير نظر هارون خدمت كنند. مسئوليت نگهداری خيمهٔ عبادت و تمام اسباب و اثاثيه آن بر عهدهٔ ايشان است. 10ولی فقط هارون و پسرانش بايد وظايف كاهنی را انجام دهند؛ هر کس ديگری كه بخواهد اين كار را انجام دهد بايد كشته شود.»

11‏-12خداوند به موسی فرمود: «من لاویان را به جای تمام پسران ارشد قوم اسرائيل پذيرفته‌ام. لاویان از آن من هستند. 13اينها به عوض تمام پسران ارشد بنی‌اسرائيل وقف من شده‌اند. از روزی كه پسران ارشد مصری‌ها را كشتم، نخست‌زاده‌های بنی‌اسرائيل را، چه انسان و چه حيوان، از آن خود ساختم، پس آنها به من تعلق دارند. من خداوند هستم.»

تعداد و وظايف لاويان

14‏-15باز خداوند در صحرای سينا موسی را خطاب كرده فرمود: «قبيلهٔ لاوی را برحسب طايفه و خاندان سرشماری كن. پسران را از يک ماهه به بالا بشمار.» 16‏-24پس موسی ايشان را شمرد:

پسر لاوی : جرشوننوادگان لاوی (نامهای طوايف) : لبنی، شمعیتعداد : ۷,۵۰۰ نفررهبر : الياساف (پسر لايَل)جايگاه اردو : سمت غربی خيمهٔ عبادت

25‏-30وظيفهٔ اين دو طايفهٔ لاوی مراقبت از خيمهٔ عبادت بود، يعنی مراقبت از پوششهای آن، پردهٔ در ورودی خيمه، پرده‌های ديوار حياطی كه اطراف خيمه و قربانگاه است، پردهٔ در ورودی حياط و همهٔ طنابها و همچنين انجام كارهای مربوط به آنها.

پسر لاوی : قهاتنوادگان لاوی (نامهای طوايف) : عَمرام، يصها، حبرون، عزی‌ئيلتعداد : ۸,۶۰۰ نفررهبر : اليصافان (پسر عُزی‌ئيل)جايگاه اردو : سمت جنوبی خيمهٔ عبادت

31‏-35وظيفهٔ اين چهار طايفهٔ لاوی عبارت بود از: مراقبت از صندوق عهد خداوند، ميز نان مقدس، چراغدان، قربانگاه‌ها، لوازم مختلفی كه در خيمهٔ عبادت به کار می‌رفت، پردهٔ حايل بين قدس و قدس‌الاقداس، و انجام كارهای مربوط به آنها. (العازار پسر هارون، رئيس رهبران لاویان بود و بر كار خدمتگزاران قدس نظارت می‌كرد.)

پسر لاوی : مرارینوادگان لاوی (نامهای طوايف) : مَحلی، موشیتعداد : ۶,۲۰۰ نفررهبر : صوری‌ئيل (پسر ابيحايل)جايگاه اردو : سمت شمالی خيمهٔ عبادت

36‏-37وظيفهٔ اين دو طايفه عبارت بود از: مراقبت از چوب‌بست خيمهٔ عبادت، پشت‌بندها، ستونها، پايه‌های ستونها، و تمام لوازم بر پا سازی آن و انجام كارهای مربوط به آنها، و همچنين مواظبت از ستونهای گرداگرد حياط و پايه‌ها و ميخها و طنابها.

38خيمهٔ موسی و هارون و پسرانش می‌بايست در سمت شرقی خيمهٔ عبادت، يعنی جلو آن و رو به آفتاب بر پا شود. ايشان به جای قوم اسرائيل وظيفهٔ مراقبت از خيمهٔ عبادت را بر عهده داشتند. (هر كس كه كاهن يا لاوی نبود و وارد خيمهٔ عبادت می‌گرديد كشته می‌شد.)

39پس تعداد همهٔ پسران و مردان لاوی كه موسی و هارون طبق دستور خداوند ايشان را شمردند، از يک ماهه به بالا ۲۲ هزار نفر بود.

40سپس خداوند به موسی فرمود: «حالا تمام پسران ارشد بنی‌اسرائيل را از يک ماهه به بالا بشمار و نام هر يک از آنها را ثبت كن. 41لاویان به عوض پسران ارشد بنی‌اسرائيل به من كه خداوند هستم تعلق دارند، و حيوانات لاویان هم به جای نخست‌زاده‌های حيوانات تمام قوم اسرائيل از آن من هستند.»

42پس موسی همانطور كه خداوند به او دستور داده بود، پسران ارشد بنی‌اسرائيل را شمرد 43و تعداد كل پسران ارشد از يک ماهه به بالا ۲۲,۲۷۳ نفر بود.

44خداوند به موسی فرمود: 45«حال لاویان را به عوض پسران ارشد قوم اسرائيل و حيوانات ايشان را به جای نخست‌زاده‌های حيوانات بنی‌اسرائيل به من بده. آری، من خداوند هستم و لاویان از آن من می‌باشند. 46به منظور بازخريد ۲۷۳ نفر از پسران ارشد اسرائيل كه اضافه بر تعداد لاویان هستند 47‏-48برای هر نفر پنج مثقال نقره بگير و به هارون و پسرانش بده.»

49پس موسی مبلغ بازخريد ۲۷۳ پسر ارشدی را كه اضافه بر تعداد لاویان بودند دريافت كرد. (بقيه پسران ارشد از پرداخت مبلغ بازخريد معاف بودند، چون لاویان به عوض ايشان وقف خداوند شده بودند.) 50كل مبلغ بازخريد معادل ۱,۳۶۵ مثقال نقره بود. 51موسی طبق دستور خداوند، آن را به هارون و پسرانش تحويل داد.