Okubala 29 – LCB & NUB

Luganda Contemporary Bible

Okubala 29:1-40

Ebiweebwayo eby’Embaga ey’Amakondeere

1“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mulimu gwonna ogwa bulijjo ogw’okukakaalukana. Olwo lwe lunaabanga olunaku lwammwe kwe munaafuuyiranga amakondeere. 2Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 3Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima lita mukaaga n’ekitundu; ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, 4ne ku buli emu ku baana b’endiga omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. 5Mugattangako n’embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, okwetangiririza. 6Okwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, n’ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri Mukama Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.

Olunaku olw’Ebiweebwayo olw’Okwetangiririra

7“Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna. 8Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eya sseddume emu, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume ab’omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo ng’ebyo kye kiweebwayo ekyokebwa omuva akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 9Ku nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni nga bupima kilo ttaano, ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, 10ne ku buli emu ku baana b’endiga abalume omusanvu obupima kilo emu n’ekitundu. 11Mugattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga kyongerwa ku kiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza, n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nga kuliko n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako.

Ebiweebwayo olw’Embaga ey’Ensiisira

12“Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri Mukama Katonda okumala ennaku musanvu. 13Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana b’endiga abalume abaweza omwaka gumu ogw’obukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo. 14Era munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni, nga bupima kilo ttaano ku buli emu ku nte ekkumi n’essatu, nga bupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu ku buli emu ku ndiga ento ebbiri ennume; 15ne ku baana b’endiga abalume ekkumi na bana, nga bupima kilo emu n’ekitundu ku buli emu. 16Era munaawangayo n’embuzi emu ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, ng’okwo mugasseeko n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya bulijjo n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.

17“Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo. 18Ku nte eza sseddume, n’endiga ento ennume, n’abaana b’endiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako eby’ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 19Munaagattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’emmere yaako ey’empeke, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa.

20“Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. 21Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo eby’emmere yaako ey’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 22Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

23“Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, n’endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 24Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 25Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

26“Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo. 27Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 28Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

29“Ku lunaku olw’omukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 30Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 31Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke, n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

32“Ku lunaku olw’omusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 33Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 34Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

35“Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana. 36Munaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 37Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 38Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

39“Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri Mukama Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, n’ebya kyeyagalire, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa n’ebiweebwayo olw’emirembe.”

40Awo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri buli kimu kyonna nga Mukama Katonda bwe yamulagira Musa.

Swedish Contemporary Bible

4 Moseboken 29:1-39

Offer under nyårshögtiden

(3 Mos 23:23-25)

1Den första dagen i sjunde månaden29:1 Nyårsdagen. Se 3 Mos 23:24 med fotnot. ska ni hålla en helig sammankomst och ingen får utföra något arbete. Låt hornen ljuda den dagen. 2Bär fram ett brännoffer, en välbehaglig lukt för Herren, som består av en ung tjur, en bagge och sju årsgamla lamm av hankön, alla felfria. 3Ett matoffer på nio liter fint mjöl blandat med olja ska offras tillsammans med tjuren, sex liter tillsammans med baggen 4och tre liter till vart och ett av de sju lammen. 5Till detta ska ni offra en bock som syndoffer för att få försoning. 6Dessa ska offras förutom nymånadsbrännoffret med dess matoffer och också utöver det dagliga brännoffret med dess tillhörande matoffer och dryckesoffer som det är bestämt, som en välbehaglig lukt för Herren.

Offer på försoningsdagen

(3 Mos 23:26-32)

7På tionde dagen i samma månad, den sjunde, ska en helig sammankomst hållas. Då ska ni ödmjuka er och inget arbete av något slag får då utföras. 8Då ska ni offra ett brännoffer till Herren, en behaglig lukt för honom, och det ska bestå av en ung tjur, en bagge och sju årsgamla lamm av hankön, alla felfria. 9Matoffret ska vara nio liter fint mjöl blandat med olja att offras tillsammans med tjuren, sex liter till baggen 10och tre liter till vart och ett av de sju lammen. 11Ni ska också offra en bock som syndoffer. Detta ska offras förutom försoningsdagens syndoffer och utöver det dagliga brännoffret med dess tillhörande matoffer och dryckesoffer.

Offer under lövhyddefesten

(3 Mos 23:33-43; 5 Mos 16:13-17)

12På femtonde dagen i sjunde månaden ska en helig sammankomst hållas och då får inget arbete utföras. Det är en sju dagar lång högtid inför Herren. 13Som brännoffer, ett eldoffer, en välbehaglig lukt inför Herren, ska ni offra tretton unga tjurar, två baggar och fjorton årsgamla lamm av hankön, alla felfria. 14Som tillhörande matoffer ska ni ge nio liter fint mjöl blandat med olja för var och en av de tretton tjurarna, sex liter för var och en av de två baggarna 15och tre liter för vart och ett av de fjorton lammen. 16Ni ska också bära fram en bock som syndoffer förutom det dagliga brännoffret med dess tillhörande matoffer och dryckesoffer.

17På den andra dagen ska ni offra tolv unga tjurar, två baggar och fjorton årsgamla lamm av hankön, alla felfria, 18tillsammans med de vanliga matoffren och dryckesoffren, efter antalet tjurar, baggar och lamm som det är föreskrivet. 19Ni ska också offra en bock som syndoffer utöver det dagliga brännoffret med dess tillhörande matoffer och dryckesoffer.

20På den tredje dagen i högtiden ska ni offra elva unga tjurar, två baggar, fjorton årsgamla lamm av hankön, alla felfria 21och de vanliga offren och dryckesoffren tillsammans med tjurarna, baggarna och lammen enligt givna föreskrifter och deras antal. 22Ni ska också offra en bock som syndoffer utöver det dagliga brännoffret med dess tillhörande matoffer och dryckesoffer.

23På den fjärde dagen ska ni offra tio unga tjurar, två baggar och fjorton årsgamla lamm av hankön, alla felfria 24och med tillhörande matoffer och dryckesoffer tillsammans med tjurarna, baggarna och lammen enligt givna föreskrifter och efter deras antal. 25Offra också en bock som syndoffer utöver det dagliga brännoffret med dess matoffer och dryckesoffer.

26På den femte dagen ska ni offra nio unga tjurar, två baggar och fjorton årsgamla lamm av hankön, alla felfria, 27tillsammans med de vanliga matoffren och dryckesoffren för tjurarna, baggarna och lammen enligt givna föreskrifter och efter deras antal. 28Offra också en bock som syndoffer utöver det dagliga brännoffret med dess tillhörande matoffer och dryckesoffer.

29På den sjätte dagen ska ni offra åtta unga tjurar, två baggar och fjorton årsgamla lamm av hankön, alla felfria 30tillsammans med de för tjurarna, baggarna och lammen föreskrivna matoffren och dryckesoffren efter djurens antal. 31Offra också en bock som syndoffer utöver det dagliga brännoffret med dess tillhörande mat- och dryckesoffer.

32På den sjunde dagen av högtiden ska ni offra sju unga tjurar, två baggar och fjorton årsgamla lamm av hankön, alla felfria, 33tillsammans med de för tjurarna, baggarna och lammen föreskrivna matoffren och dryckesoffren efter djurens antal. 34Offra också en bock som syndoffer utöver det dagliga brännoffret med dess tillhörande mat- och dryckesoffer.

35På den åttonde dagen ska ni samlas till högtid och ingen får arbeta den dagen. 36Bär fram ett brännoffer, ett eldoffer, en välbehaglig lukt inför Herren, som består av en ung tjur, en bagge och sju årsgamla lamm av hankön, alla felfria, 37tillsammans med de för tjuren, baggen och lammen föreskrivna mat- och dryckesoffren efter deras antal. 38Offra också en bock som syndoffer förutom det dagliga brännoffret med dess mat- och dryckesoffer. 39Dessa ska ni offra åt Herren vid era årliga högtider utöver de offer ni ger på grund av löften eller som frivilliga offer, brännoffer, matoffer, dryckesoffer eller gemenskapsoffer.’ ”