Okubala 22 – LCB & PCB

Luganda Contemporary Bible

Okubala 22:1-41

Katonda Agaana Balamu Okugenda eri Balaki

1Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.

2Balaki mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abamoli. 3Mowaabu n’atya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira.

4Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”

Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo, 5n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti,

“Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana. 6Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”

7Awo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma.

8Balamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.

9Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” 10Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti, 11‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”

12Naye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.”

13Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.”

14Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.”

Katonda Akkiriza Balamu Okugenda

15Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka. 16Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti,

“Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi; 17kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”

18Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange. 19Kale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire Mukama Katonda ky’anaayongera okuŋŋamba.”

20Mu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.”

Endogoyi ya Balamu Eyogera

21Balamu n’agolokoka mu makya, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda n’abakungu ba Mowaabu. 22Naye Katonda n’asunguwala nnyo kubanga Balamu yagenda, malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, abaweereza be babiri nabo baali naye. 23Endogoyi n’eraba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde mu kkubo, n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi n’ekyama n’eva mu kkubo n’eraga mu nnimiro. Balamu n’agikuba agizze mu kkubo.

24Malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati w’ennimiro z’emizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi. 25Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, n’ebetenterako ekigere kya Balamu. N’ayongera okugikuba.

26Malayika wa Mukama Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, n’ayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. 27Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda n’egalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n’akuba endogoyi n’omuggo gwe. 28Awo Mukama Katonda n’ayasamya akamwa k’endogoyi, n’egamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?”

29Balamu n’agamba endogoyi nti, “Kubanga onfudde atategeera! Singa mbadde n’ekitala mu mukono gwange nandikuttiddewo kaakano.”

30Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.”

Malayika Alabula Balamu

31Awo Mukama Katonda n’alyoka azibula amaaso ga Balamu, n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde wakati mu kkubo n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. N’awunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi n’avuunama.

32Malayika wa Mukama Katonda n’amugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte terinsanyusa. 33Endogoyi yandabye n’enneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.”

34Balamu n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.”

35Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Balamu nti, “Genda n’abasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka by’oba oyogera.” Bw’atyo Balamu n’agenda n’abakungu ba Balaki.

Balamu Akyalira Balaki

36Balaki bwe yawulira nga Balamu ajja, n’afuluma okugenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku nsalo ya Alumoni, ku nkomerero y’amatwale ge. 37Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?”

38Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.” 39Bw’atyo Balamu n’agenda ne Balaki ne bajja e Kiriasikuzosi. 40Balaki n’awaayo ekiweebwayo eky’ente n’endiga, n’aweerezaako ne ku Balamu n’abakungu abaali naye. 41Enkeera Balaki n’atwala Balamu n’amulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali22:41 Bamosi Baali Kitegeeza omununuzi. Ye yali lubaale wa laddu mu bantu abaabeeranga mu Busuuli ne mu Kanani., n’asinziira awo okulengera ku kitundu eky’abantu ba Isirayiri abaali okumpi.

Persian Contemporary Bible

اعداد 22:1-41

بالاق سفيرانی به دنبال بلعام می‌فرستد

1قوم اسرائيل به دشت موآب كوچ كرده، در سمت شرقی رود اردن، روبروی اريحا اردو زدند. 2‏-3وقتی كه بالاق (پسر صفور) پادشاه موآب فهميد كه تعداد بنی‌اسرائيل چقدر زياد است و با اموری‌ها چه كرده‌اند، خود و قومش به وحشت افتادند. 4موآبی‌ها برای سران مديان پيام فرستاده، گفتند: «اين جمعيت كثير، ما را مثل گاوی كه علف می‌خورد خواهد بلعيد!»

پس بالاق پادشاه 5‏-6سفيرانی با اين پيام نزد بلعام (پسر بعور) كه در سرزمين اجدادی خود فتور، واقع در كنار رود فرات زندگی می‌كرد فرستاد: «قومی بزرگ از مصر بيرون آمده است؛ مردمش همه جا پخش شده‌اند و به سوی سرزمين من می‌آيند. درخواست می‌كنم بيايی و اين قوم را برای من نفرين كنی، زيرا از ما قويترند. شايد به اين وسيله بتوانم آنان را شكست داده، از سرزمين خود بيرون كنم. زيرا می‌دانم هر كه را تو بركت دهی بركت خواهد يافت و هر كه را نفرين كنی، زير لعنت قرار خواهد گرفت.»

7سفيران از سران موآب و مديان بودند. ايشان با پول نقد نزد بلعام رفتند و پيام بالاق را به او دادند.

8بلعام گفت: «شب را اينجا بمانيد و فردا صبح آنچه خداوند به من بگويد، به شما خواهم گفت.» پس آنها شب را در آنجا به سر بردند.

9آن شب، خدا نزد بلعام آمده، از او پرسيد: «اين مردان كيستند؟»

10بلعام جواب داد: «ايشان از پيش بالاق، پادشاه موآب آمده‌اند. 11بالاق می‌گويد كه گروه بی‌شماری از مصر به مرز كشور او رسيده‌اند و از من خواسته است فوراً بروم و آنها را نفرين كنم تا شايد قدرت يافته، بتواند آنها را از سرزمينش بيرون كند.»

12خدا به وی فرمود: «با آنها نرو. تو نبايد اين قوم را نفرين كنی، چون من ايشان را بركت داده‌ام.»

13صبح روز بعد، بلعام به فرستادگان بالاق گفت: «به سرزمين خود بازگرديد. خداوند به من اجازه نمی‌دهد اين كار را انجام دهم.»

14فرستادگان بالاق بازگشته به وی گفتند كه بلعام از آمدن امتناع می‌ورزد. 15اما بالاق بار ديگر گروه بزرگتر و مهمتری فرستاد. 16‏-17آنها با اين پيغام نزد بلعام آمدند: «بالاق پادشاه به تو التماس می‌كند كه بيايی. او قول داده است كه پاداش خوبی به تو دهد و هر چه بخواهی برايت انجام دهد. فقط بيا و اين قوم را نفرين كن.»

18ولی بلعام جواب داد: «اگر او كاخی پر از طلا و نقره هم به من بدهد، نمی‌توانم كاری را كه خلاف دستور خداوند، خدای من باشد، انجام دهم. 19به هر حال، امشب اينجا بمانيد تا ببينم آيا خداوند چيزی غير از آنچه قبلاً فرموده است خواهد گفت يا نه.»

20آن شب خدا به بلعام فرمود: «برخيز و با اين مردان برو، ولی فقط آنچه را كه من به تو می‌گويم بگو.»

بلعام و الاغش

21بلعام صبح برخاست و الاغ خود را پالان كرده، با فرستادگان بالاق حركت نمود. 22‏-23اما خدا از رفتن بلعام خشمناک شد22‏:22‏و23 انگيزهٔ بلعام بد بود، نگاه کنيد به آيهٔ 32‏. بلعام باعث شد قوم اسرائيل به گناه کشيده شوند، نگاه کنيد به اعداد 25‏:1‏-3 و 31‏:16.‏ و فرشته‌ای به سر راهش فرستاد تا راه را بر او ببندد. در حالی که بلعام سوار بر الاغ، همراه دو نوكرش به پيش می‌رفت، ناگهان الاغ بلعام فرشتهٔ خداوند را ديد كه شمشيری به دست گرفته، و سر راه ايستاده است. پس الاغ از روی جاده رم كرده، به مزرعه‌ای رفت، ولی بلعام او را زد و به جاده بازگرداند. 24بعد فرشتهٔ خداوند در جايی كه جاده تنگ می‌شد و دو طرفش ديواره‌ای دور تاكستان قرار داشت، ايستاد. 25الاغ وقتی ديد فرشته آنجا ايستاده است، خودش را به ديوار چسبانيده، پای بلعام را به ديوار فشرد. پس او دوباره الاغ را زد. 26آنگاه فرشته كمی پایینتر رفت و در جايی بسيار تنگ ايستاد، به طوری که الاغ به هيچ وجه نمی‌توانست از كنارش بگذرد. 27پس الاغ در وسط جاده خوابيد. بلعام عصبانی شد و باز با چوبدستی خود الاغ را زد.

28آنگاه خداوند الاغ را به حرف آورد و الاغ گفت: «مگر من چه كرده‌ام؟ چرا مرا سه بار زدی؟»

29بلعام گفت: «برای اينكه مرا مسخره كرده‌ای! ای كاش شمشيری داشتم و تو را همين جا می‌كشتم!»

30الاغ گفت: «آيا قبلاً در تمام عمرم هرگز چنين كاری كرده بودم؟»

بلعام گفت: «نه.»

31آنگاه خداوند چشمان بلعام را باز كرد و او فرشتهٔ خداوند را ديد كه شمشيری به دست گرفته و سر راه ايستاده است. پس پيش او به خاک افتاد.

32فرشته گفت: «چرا سه دفعه الاغ خود را زدی؟ من آمده‌ام تا مانع رفتن تو شوم، چون اين سفر تو از روی تمرد است. 33اين الاغ سه بار مرا ديد و خود را از من كنار كشيد. اگر اين كار را نمی‌كرد تا به حال تو را كشته بودم، و او را زنده می‌گذاشتم.»

34آنگاه بلعام اعتراف كرده، گفت: «من گناه كرده‌ام. من متوجه نشدم كه تو سر راه من ايستاده بودی. حال اگر تو با رفتن من موافق نيستی، به خانه‌ام باز می‌گردم.»

35فرشته به او گفت: «با اين افراد برو، ولی فقط آنچه را كه من به تو می‌گويم، بگو.» پس بلعام با سفيران بالاق به راه خود ادامه داد. 36بالاق پادشاه وقتی شنيد بلعام در راه است، از پايتخت خود بيرون آمده، تا رود ارنون واقع در مرز كشورش به استقبال او رفت.

37بالاق از بلعام پرسيد: «چرا وقتی بار اول تو را احضار كردم، نيامدی؟ آيا فكر كردی نمی‌توانم پاداش خوبی به تو بدهم.»

38بلعام جواب داد: «الان آمده‌ام، ولی قدرت ندارم چيزی بگويم. من فقط آنچه را كه خدا بر زبانم بگذارد خواهم گفت.» 39بلعام همراه پادشاه به قريه حصوت رفت. 40در آنجا بالاق پادشاه گاو و گوسفند قربانی كرد و از گوشت آنها به بلعام و سفيرانی كه فرستاده بود، داد. 41صبح روز بعد، بالاق بلعام را به بالای كوه بموت بعل برد تا از آنجا قسمتی از قوم اسرائيل را ببيند.