Okubala 16 – LCB & CARS

Luganda Contemporary Bible

Okubala 16:1-50

Okwewaggula kwa Koola ne Dasani ne Abiraamu

1Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula 2ne basituka ne boolekera Musa. Baali ne bannaabwe abasajja Abayisirayiri ebikumi bibiri mu ataano, abaali abamanyifu ennyo mu baana ba Isirayiri era nga bakiise mu Lukiiko Olukulu. 3Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne Mukama Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina ky’abantu ba Mukama?”

4Musa bwe yakiwulira n’avuunama wansi. 5N’alyoka agamba Koola ne bonna abaali naye nti, “Enkya Mukama Katonda anaalondamu ababe, n’oyo omutukuvu, era anaasembeza omuntu oyo gy’ali. Oyo gw’anaalonda gw’anaasembeza gy’ali. 6Gwe Koola n’abagoberezi bo bonna mukole bwe muti: Muddire ebyoterezo, 7enkya mubiteekemu omuliro n’obubaane awali Mukama, oyo Mukama Katonda gw’anaalondamu, nga ye mutukuvu. Mmwe batabani ba Leevi mwekulumbazizza nnyo!”

8Musa n’agamba Koola nti, “Muwulirize, mmwe batabani ba Leevi! 9Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako n’abaggya ku kibiina ekinene eky’abaana ba Isirayiri n’abasembeza w’abeera okukolanga omulimu gwa Mukama mu Weema ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina n’okubaweereza? 10Mmwe ne Baleevi bannammwe Mukama Katonda yabasembeza gy’ali, kaakano mwagala n’obwakabona nabwo mubulye? 11Noolwekyo mmwe n’abagoberezi bammwe, mwesimbye ku Mukama Katonda, era gwe mwolekedde. Kale Alooni naye ye ani, mmwe okumwemulugunyiza?”

12Awo Musa n’atumya Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu bayitibwe bajje. Naye ne bagamba nti, “Tetujja kujja! 13Eky’okutuggya mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki okututtira mu ddungu, kyali kitono nga tekimala? Ne kaakano oyagala okutwefuulirako omulangira otufuge? 14Ng’ebyo bikyali awo, totuleese mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, wadde okutusikiza amasamba n’ennimiro z’emizabbibu. Abasajja bano oyagala obasibe kantuntunu ku maaso obalimberimbe? Nedda, tetujja kujja.”

Musa Asabira Abantu

15Awo Musa n’asunguwala nnyo n’agamba Mukama Katonda nti, “Ekiweebwayo kyabwe tokikkiriza. Tewaliiwo gwe nnali ntutteko wadde akalogoyi akamu, so tewali n’omu ku bo gwe nnali mpisizza obubi.”

16Musa n’agamba Koola nti, “Ggwe n’abo bonna abakugoberera, enkya mujje awali Mukama Katonda, ggwe nabo ne Alooni. 17Buli musajja ajje n’ekyoterezo kye akiteekemu obubaane, ebyoterezo bijja kuwera ebikumi bibiri mu ataano, mubireete awali Mukama. Ggwe ne Alooni nammwe mujja kuleeta ebyoterezo byammwe.” 18Awo buli musajja n’addira ekyoterezo kye n’akissaamu obubaane n’omuliro, bonna ne bayimirira ne Musa ne Alooni ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 19Koola bwe yamala okukuŋŋaanya abagoberezi be abavuganya, ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeraga eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye. 20Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 21“Mweyawuleko muve mu kibiina kino ndyoke nkizikirize embagirawo.”

22Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?”

23Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 24“Muve okumpi n’eweema eza Koola ne Dasani ne Abiraamu.”

Ekibonerezo ky’Abajeemu

25Awo Musa n’asituka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu, n’abakulembeze ba Isirayiri ne bagenda naye nga bamugoberera. 26N’agamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi n’eweema z’abasajja bano abakozi b’ebibi! Temukwata ku kintu kyabwe n’ekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olw’ebibi byabwe.” 27Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi n’eweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’obwana bwabwe obuto. 28Awo Musa n’agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama Katonda y’antumye okukola ebintu bino byonna so tekubadde kutetenkanya kwange. 29Singa abasajja bano bafa olumbe olwa bulijjo, oba kugwibwako ebyo ebya bulijjo ebigwa ku bantu bonna, kinaaba kitegeeza nti Mukama si y’antumye. 30Naye singa Mukama Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira nga balamu n’ebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ng’abasajja abo banyoomodde Mukama Katonda.”

31Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri, 32ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna. 33Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe. 34Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”

35Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane.

36Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 37“Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye ebyoterezo mu muliro, kubanga bitukuvu, amanda ag’omuliro agasaasaanyize wala. 38Ebyoterezo ebyo bya basajja abaayonoona era n’okufa ne bafa; noolwekyo biweesebwemu amasowaane gakozesebwenga ng’ebibikka ku kyoto kubanga baabiwaayo eri Mukama Katonda; noolwekyo bitukuvu. Kale binaabanga kabonero ka kijjukizo eri abaana ba Isirayiri.”

39Bw’atyo Eriyazaali kabona n’addira ebyoterezo eby’ekikomo, ebyali biweereddwayo bali abaayokebwa, ne biweesebwamu ebibikka ku kyoto, 40kiyambe abaana ba Isirayiri okujjukiranga nti omuntu atali kabona, atava mu lulyo lwa Alooni, taasemberenga kumpi na kyoto okunyookeza obubaane eri Mukama, si kulwa ng’afuuka nga Koola n’ekibiina kye. Eriyazaali bw’atyo bwe yabikola byonna ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali kye yayisa mu Musa.

Kawumpuli mu Bantu

41Naye enkeera ekibiina kyonna eby’abaana ba Isirayiri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, nga bagamba nti, “Musse abantu ba Mukama Katonda.” 42Kyokka ekibiina ky’abantu bwe baakuŋŋaana okusoomooza Musa ne Alooni ne bakyuka okwolekera Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, amangwago ekire ne kigibikka n’ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeyoleka. 43Musa ne Alooni ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, 44Mukama n’agamba Musa nti, 45“Muve mu bantu bano ndyoke mbazikirize embagirawo.” Ne bavuunama wansi.

46Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo okisseemu obubaane, n’omuliro ng’oguggya mu kyoto kya Mukama, oyanguwe ogende mu kibiina obatangiririre. Kubanga obusungu bubuubuuse okuva eri Mukama Katonda era kawumpuli atandise.” 47Alooni n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’adduka n’agenda wakati mu kibiina. Yasanga kawumpuli yatandise dda mu bantu, naye Alooni n’awaayo eri Mukama Katonda obubaane okubatangiririra; 48n’ayimirira wakati w’abafu n’abalamu, kawumpuli n’aziyizibwa. 49Bwe kityo abantu abaafa kawumpuli baawera omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, nga bali abaafa olw’emitawaana gya Koola tobataddeeko. 50Alooni n’akomawo eri Musa mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga kawumpuli amaze okuziyizibwa.

Священное Писание

Числа 16:1-50

Корах, Датан и Авирам восстают против Мусы

1Корах, сын Ицхара, внук Каафа, правнук Леви, и рувимиты – Датан и Авирам, сыновья Элиава, и Авнан, сын Пелета, составили заговор 2и восстали против Мусы. С ними были двести пятьдесят исраильтян, вождей народа, прославленной среди народа знати. 3Они собрались против Мусы и Харуна и сказали им:

– Вы зашли слишком далеко! Все в народе святы, каждый из них, и Вечный пребывает с ними. Почему же вы ставите себя выше всего народа Вечного?

4Услышав это, Муса пал лицом на землю. 5Он сказал Кораху и его сообщникам:

– Завтра утром Вечный покажет, кто принадлежит Ему, кто свят и кому будет дано приближаться к Нему. Кого Он изберёт, тому и будет дано приближаться к Нему. 6Ты, Корах, и твои сообщники сделайте вот что: возьмите сосуды для возжигания благовоний 7и завтра положите в них горящие угли, а на них положите перед Вечным благовония. Кого Вечный изберёт, тот и будет свят. Вы, левиты, зашли слишком далеко!

8Муса сказал Кораху:

– Послушайте, левиты! 9Разве не достаточно вам того, что Бог Исраила отделил вас от народа Исраила и приблизил к Себе, чтобы вы работали при священном шатре Вечного, стояли перед обществом и служили ему? 10Он приблизил к Себе вас и ваших собратьев левитов, но вы пытаетесь получить и священство. 11Вы и ваши сообщники ополчились против Вечного. Ведь кто такой Харун, чтобы вам роптать на него?

12Муса призвал Датана и Авирама, сыновей Элиава. Но они сказали:

– Мы не придём! 13Разве не достаточно, что ты вывел нас из земли, где течёт молоко и мёд, чтобы убить в пустыне? А теперь ты хочешь ещё и властвовать над нами? 14Ты не привёл нас в землю, где течёт молоко и мёд, и не дал нам поля и виноградники. Хочешь запорошить этим людям глаза? Мы не придём!

15Муса сильно разгневался и сказал Вечному:

– Не принимай их приношений. Я не брал у них даже осла и никому из них не причинил зла.

16Муса сказал Кораху:

– Что до тебя с твоими сообщниками, предстаньте завтра перед Вечным: ты, они и Харун. 17Пусть каждый возьмёт свой сосуд, положит в него благовония и принесёт его Вечному – всего двести пятьдесят сосудов. Ты и Харун тоже принесите каждый свой сосуд.

18Каждый взял сосуд, положил в него горящие угли, а на них – благовония, и встал с Мусой и Харуном у входа в шатёр встречи. 19Когда Корах собрал против них всех сообщников к входу в шатёр встречи, слава Вечного явилась всему народу. 20Вечный сказал Мусе и Харуну:

21– Отделитесь от этого народа, чтобы Я уничтожил их в одно мгновение.

22Но Муса и Харун пали лицом на землю и сказали:

– Всевышний, Бог духов всякой плоти, неужели Ты прогневаешься на весь народ, когда согрешит один?

Наказание Кораха, Датана и Авирама

23Тогда Вечный сказал Мусе:

24– Скажи народу: «Отойдите от жилищ Кораха, Датана и Авирама».

25Муса встал и пошёл к Датану и Авираму, а старейшины Исраила пошли за ним. 26Он предупредил народ:

– Отойдите от шатров этих нечестивцев! Не трогайте ничего из их пожитков, иначе вы погибнете из-за их грехов.

27Они отошли от жилищ Кораха, Датана и Авирама. Датан и Авирам вышли и стояли с жёнами, сыновьями и маленькими детьми у входов в свои шатры.

28И Муса сказал:

– Вот как вы узнаете, что Вечный послал меня сделать всё это, и что я делаю это не по своей воле: 29если они умрут обычной смертью и участь их будет подобна участи всех людей, то Вечный меня не посылал. 30Но если Вечный сотворит небывалое, если под ними разверзнется земля и поглотит их со всем их добром, и они живыми сойдут в мир мёртвых, то вы поймёте, что эти люди презирали Вечного.

31Едва он окончил говорить это, земля под ними разошлась. 32Земля разверзлась и поглотила их и их сородичей – всех людей Кораха со всем их имуществом. 33Они живыми сошли в мир мёртвых, со всем своим добром; земля сомкнулась над ними, и они сгинули из среды народа. 34Под их крики исраильтяне, которые были вокруг, разбежались, крича: «Земля хочет поглотить и нас!»

35Вечный послал огонь и сжёг двести пятьдесят человек, которые приносили благовония.

36Вечный сказал Мусе:

37– Вели Элеазару, сыну священнослужителя Харуна, собрать сосуды среди сожжённых останков и разбросать из них угли, потому что они святы, – 38это сосуды грешников, которые поплатились жизнью. Расплющь сосуды в листы, чтобы покрыть ими жертвенник, так как их принесли Вечному, и они стали освящёнными. Пусть они будут для исраильтян предостережением.

39Священнослужитель Элеазар собрал бронзовые сосуды, принесённые сожжёнными, и их расплющили, чтобы покрыть жертвенник, 40как повелел ему через Мусу Вечный. Таково было напоминание исраильтянам, что никому, кроме потомка Харуна, нельзя приходить, чтобы возжигать благовония перед Вечным, чтобы не разделить участь Кораха и его сообщников.

Муса и Харун заступаются за народ

41На другой день всё общество исраильтян роптало на Мусу и Харуна. «Вы погубили народ Вечного», – говорили они. 42Но когда, собравшись против Мусы и Харуна, народ повернулся к шатру встречи, его покрыло облако и явилась слава Вечного. 43Муса и Харун подошли к шатру встречи, 44и Вечный сказал Мусе:

45– Оставь этот народ, чтобы Я уничтожил их в одно мгновение.

Они пали лицом на землю.

46Муса сказал Харуну:

– Возьми сосуд, положи в него горящие угли с жертвенника и благовония и поспеши к народу, чтобы очистить его. Вечный разгневался; начался мор.

47Харун сделал, как сказал ему Муса, и поспешил к народу. Среди них уже начался мор, но Харун возжёг благовония и очистил народ. 48Он встал между мёртвыми и живыми, и мор прекратился. 49Но четырнадцать тысяч семьсот человек умерло от мора, не считая тех, кто умер из-за Кораха. 50Харун вернулся к Мусе к входу в шатёр встречи, потому что мор прекратился.