Okubala 14 – LCB & NASV

Luganda Contemporary Bible

Okubala 14:1-45

Abantu Bajeema

1Ekiro ekyo abantu bonna mu kibiina ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakaaba n’eddoboozi ery’omwanguka. 2Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno! 3Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?” 4Ne boogeraganya nti, “Ka twerondere omukulembeze tuddeyo mu Misiri.”

5Awo Musa ne Alooni ne bavuunama wansi mu maaso g’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abaali bakuŋŋaanidde awo. 6Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe14:6 ne bayuzaayuza engoye zaabwe kaali kabonero ak’okukaaba n’okulaga obusungu., 7ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo. 8Mukama Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa. 9Kyokka temujeemera Mukama Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga Mukama Katonda ali wamu naffe. Temubatya.”

10Naye abantu bonna mu kibiina ne bateesa okubakuba mayinja. Awo ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira eri abaana ba Isirayiri bonna mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 11Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano balinnyooma kutuusa ddi? Balikomya ddi obutanzikiririzaamu, newaakubadde nga nakola ebyamagero mu bubonero bwe nakolera mu bo? 12Nzija kubaboola mbazikirize ne kawumpuli, mbasaanyeewo; naye nzija kukuggyamu ggwe eggwanga eriribasinga abo obukulu n’amaanyi.”

13Naye Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Ebyo Abamisiri bagenda kubiwulira! Kubanga abantu bano wabaggya mu nsi y’Abamisiri n’obuyinza obw’amaanyi amangi. 14Bajja kubuulirako ku bantu ab’omu nsi muno. Baamala dda okukiwulira nga ggwe, Ayi Mukama, obeera wakati mu bantu bano, era nga, Ayi Mukama Katonda, mulabagana nabo amaaso n’amaaso, era ng’ekire kyo kibeera nabo buli kiseera, era ng’obakulemberera mu mpagi ey’ekire emisana ne mu mpagi ey’omuliro ekiro. 15Singa abantu bano obatta bonna omulundi gumu, amawanga agawulidde obututumufu bwo gagenda kugamba nti, 16‘Kubanga Mukama Katonda yali tasobola kuyingiza bantu bano mu nsi gye yabasuubiza ng’agibalayirira; kyeyava abattira mu ddungu.’

17“Ne kaakano nkwegayirira oyoleke obuyinza bwo, Ayi Mukama nga bwe buli obusukkirivu nga bwe wasuubiza nti, 18Mukama Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi n’obujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olw’ebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.’ 19Ng’okwagala kwe okungi okutaggwaawo bwe kuli, nsaba osonyiwe abantu bano ekibi ky’abwe, nga bw’ozze obasonyiwa kasookedde bava mu Misiri n’okutuusa leero.”

Ekibonerezo kya Isirayiri

20Awo Mukama Katonda n’addamu nti, “Mbasonyiye nga bw’onsabye. 21Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ng’ekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna, 22tewalibaawo n’omu ku bantu abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero obw’ebyamagero bwe nakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne batagondera ddoboozi lyange wabula ne bangezesa nga bankema emirundi kkumi, 23tewalibaawo n’omu ku bo aliraba ku nsi eyo gye nalayirira bajjajjaabwe ne mbasuubiza okugibawa. Tewalibaawo n’omu ku bo abannyoomye aligirabako. 24Naye olwokubanga omuweereza wange Kalebu alina omwoyo ogw’enjawulo era ng’angoberera n’omutima gwe gwonna, ndimuleeta mu nsi gye yatumibwamu, n’ezzadde lye lirigirya. 25Kale nno olwokubanga Abamaleki n’Abakanani babeera mu biwonvu; enkya muddeeko emabega, musitule mutambule nga mwolekera eddungu nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu.”

26Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 27“Ekibiina kino ekibi kirituusa ddi nga kinneemulugunyiza? Mpulidde okutolotooma kw’abaana ba Isirayiri nga banneemulugunyiza. 28Bategeeze nti, ‘Mukama agambye nti, Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ebyo bye mpulidde nga mwogera, nange bye ndibakola. 29Mulifiira mu ddungu muno n’emirambo gyammwe mwe girisigala; mwenna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo egy’obukulu nga bwe mwamala okubalibwa, abanneemulugunyiza. 30Tewaliba n’omu ku bo aliyingira mu nsi gye neelayirira nti ge galibeera amaka gammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 31Naye abaana bammwe abato, be mwogeddeko nti balifuulibwa omunyago, ndibayingiza mu nsi eyo gye mugaanye ne beeyagalira omwo. 32Naye mmwe, emirambo gyammwe girisigala mu ddungu muno mwe girigwa. 33Mmwe olw’obutabeera beesigwa, abaana bammwe balimala emyaka amakumi ana mu ddungu nga bwe balunda ebisibo byabwe okutuusa omulambo gw’oyo alisembayo okufa lwe guliziikibwa mu ddungu muno. 34Nga bwe mwamala ennaku amakumi ana nga muketta ensi eri, bwe mutyo bwe mujja okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, nga buli lumu ku nnaku ezo muvaamu mwaka gumu gumu; muboneebone olw’ebibi byammwe, mulyoke mutegeere obuzibu obw’okunneesimbamu. 35Nze, Mukama Katonda, nkyogedde; ddala ddala ekyo ndikikola ku kibiina kyonna eky’abantu bano aboonoonyi abeegasse awamu okunjolekera. Tebagenda kuva mu ddungu lino, bonna mwe balifiira.’ ”

36Abasajja abo Musa be yatuma okuketta ensi ne bakomawo ne beemulugunyiza ekibiina ky’abantu bonna nga babaleetedde obubaka obutaali bulungi ku nsi eri, era ne babubunyisa mu bantu, 37abasajja abo abaaleeta obubaka obutaali bulungi ne babubunyisa mu bantu kawumpuli n’abattira awo mu maaso ga Mukama Katonda. 38Mu basajja bonna abaatumibwa okuketta ensi, Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune be bokka abaasigalawo nga balamu.

Abayisirayiri Bawangulwa mu Lutalo e Koluma

39Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri bonna ebigambo ebyo, ne bakungubaga nnyo. 40Enkeera mu makya ne bambuka mu nsi ey’ensozi. Ne boogera nti, “Twayonoona, naye nga bwe tuli wano tujja kwambuka tuyingire mu nsi Mukama Katonda gye yatusuubiza.”

41Naye Musa n’abagamba nti, “Lwaki munyooma ekiragiro kya Mukama Katonda? Ebyo bye mutegeka tebiyinza kutuukiririra. 42Temwambuka kubanga Mukama Katonda tali nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula. 43Kubanga Abamaleki n’Abakanani bajja kuboolekera. Olwokubanga mwekyusizza ne muva ku Mukama Katonda, tajja kubeera nammwe, ekitala kijja kubatta.”

44Naye era bo ne beesigula ne bambuka mu nsi ey’ensozi, newaakubadde nga Musa teyagenda nabo era nga n’essanduuko ey’endagaano yasigala mu lusiisira. 45Awo Abamaleki n’Abakanani abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi ne bakkirira ne babalumba ne babakubira ddala okubatuusa e Koluma.

New Amharic Standard Version

ዘኍል 14:1-45

የሕዝቡ ማመፅ

1በዚያች ሌሊት ማኅበረ ሰቡ ሁሉ ድምፁን ከፍ አድርጎ ጮኸና አለቀሰ። 2እስራኤላውያን በሙሉ በሙሴና በአሮን ላይ አጕረመረሙ፤ ማኅበሩም ሁሉ እንዲህ አሏቸው፤ “ምነው በግብፅ ወይም በዚህ ምድረ በዳ ሞተን ባረፍነው ኖሮ! 3እግዚአብሔር (ያህዌ) ወደዚች ምድር የሚያመጣን ለምንድን ነው? በሰይፍ እንድንወድቅ ነውን? ሚስቶቻችንና ልጆቻችንም ይማረካሉ፤ ታዲያ ወደ ግብፅ መመለሱ አይሻለንም?” 4እርስ በርሳቸውም፣ “አለቃ መርጠን ወደ ግብፅ እንመለስ” ተባባሉ።

5ከዚያም ሙሴና አሮን እዚያ በተሰበሰቡት በመላው እስራኤላውያን ማኅበር ፊት በግንባራቸው ተደፉ። 6ምድሪቱን ከሰለሏት መካከል የነበሩት የነዌ ልጅ ኢያሱና የዩፎኒ ልጅ ካሌብ ልብሳቸውን ቀደዱ፤ 7ለመላው የእስራኤል ማኅበርም እንዲህ አሉ፤ “ዞረን ያየናትና የሰለልናት ምድር እጅግ ሲበዛ መልካም ናት። 8እግዚአብሔር (ያህዌ) በእኛ ደስ ከተሰኘብን ማርና ወተት ወደምታፈሰው ወደዚያች ምድር መርቶ ያገባናል፤ ለእኛም ይሰጠናል። 9ብቻ በእግዚአብሔር (ያህዌ) ላይ አታምፁ፤ እንደ እንጀራ እንጐርሳቸዋለንና የምድሪቱን ሰዎች አትፍሯቸው። ጥላቸው ተገፏል፤ እግዚአብሔርም (ያህዌ) ከእኛ ጋር ነውና አትፍሯቸው።”

10መላው ማኅበር ግን በድንጋይ ሊወግሯቸው ተነጋገሩ፤ ከዚያም የእግዚአብሔር (ያህዌ) ክብር በመገናኛው ድንኳን ለእስራኤላውያን ሁሉ ተገለጠ። 11እግዚአብሔርም (ያህዌ) ሙሴን እንዲህ አለው፤ “ይህ ሕዝብ እስከ መቼ ይንቀኛል? እነዚህን ሁሉ ታምራት በመካከሉ እያደረግሁ የማያምንብኝስ እስከ መቼ ነው? 12በቸነፈር እመታዋለሁ፤ እደመስሰዋለሁም፤ አንተን ግን ብርቱና ታላቅ ለሆነ ሕዝብ አደርግሃለሁ።”

13ሙሴ እግዚአብሔርን (ያህዌ) እንዲህ አለው፤ “ነገሩን ግብፃውያን ቢሰሙትስ! ይህን ሕዝብ በኀይልህ ከመካከላቸው አውጥተኸዋልና፤ 14የተደረገውንም በዚች ምድር ለሚኖሩት ሰዎች ይነግሯቸዋል። እግዚአብሔር (ያህዌ) ሆይ፣ አንተ ከዚህ ሕዝብ ጋር መሆንህን፣ ደግሞም አንተ እግዚአብሔር (ያህዌ) ሆይ፤ ፊት ለፊት እንደ ታየህና ደመናህ በላያቸው እንደ ሆነ፣ አንተም ቀን በደመና ዐምድ ሌሊትም በእሳት ዐምድ እፊት እፊታቸው እየሄድህ እንደ መራሃቸው ቀድሞውኑ ሰምተዋል። 15ታዲያ ይህን ሁሉ ሕዝብ በአንድ ጊዜ ብትፈጀው ዝናህን የሰሙ ሕዝቦች፣ 16እግዚአብሔር (ያህዌ) ለዚህ ሕዝብ ይሰጠው ዘንድ በመሐላ ቃል ወደ ገባለት ምድር ሊያስገባው ባለመቻሉ በምድረ በዳ ፈጀው’ ይሉሃል።

17“አሁንም እንዲህ ስትል በተናገርኸው መሠረት የጌታ ኀይል ይገለጥ፤ 18እግዚአብሔር (ያህዌ) ለቍጣ የዘገየ፣ ፍቅሩ የበዛ፣ ኀጢአትንና ዐመፃን ይቅር የሚል፣ በደለኛውን ግን ሳይቀጣ የማይተው፣ ስለ አባቶቻቸውም ኀጢአት ልጆችን እስከ ሦስትና አራት ትውልድ የሚቀጣ ነው።’ 19ከግብፅ ከወጡበት ጊዜ አንሥቶ እስካሁን ድረስ ይቅር እንዳልሃቸው ሁሉ እንደ ፍቅርህ ታላቅነት መጠን እባክህ አሁንም የዚህን ሕዝብ ኀጢአት ይቅር በል።”

20እግዚአብሔርም (ያህዌ) እንዲህ ሲል መለሰለት፤ “በጠየቅኸው መሠረት ይቅር ብያቸዋለሁ፤ 21ይሁን እንጂ ሕያው እንደ መሆኔና የእግዚአብሔርም (ያህዌ) ክብር ምድርን ሁሉ የሞላ እንደ መሆኑ መጠን፣ 22ክብሬን ደግሞም በግብፅና በምድረ በዳ ያደረግኋቸውን ታምራት አይተው ካልታዘዙኝና ዐሥር ጊዜ ከተፈታተኑኝ ሰዎች አንዳቸውም፣ 23ለአባቶቻቸው እሰጣቸው ዘንድ በመሐላ ቃል የገባሁላቸውን ምድር አያዩዋትም። የናቀኝ ማንኛውም ሰው ፈጽሞ አያያትም፤ 24አገልጋዬ ካሌብ ግን የተለየ መንፈስ ስላለውና በፍጹም ልቡ የተከተለኝ በመሆኑ ሄዶባት ወደ ነበረችው ምድር አስገባዋለሁ፤ ዘሮቹም ይወርሷታል። 25አማሌቃውያንና ከነዓናውያን በሸለቆው የሚኖሩ ስለሆነ በነገው ዕለት ተመልሳችሁ በቀይ ባሕር14፥25 በዕብራይስጥ ትርጕሙ ያም ሱፍ የሚል ሲሆን የሸንበቆ ባሕር ማለት ነው። መንገድ ወደ ምድረ በዳው ሂዱ።”

26እግዚአብሔር (ያህዌ) ሙሴንና አሮንን እንዲህ አላቸው፤ 27“ይህ ክፉ ማኅበረ ሰብ በእኔ ላይ የሚያጕረመርመው እስከ መቼ ነው? የእነዚህን ነጭናጮች እስራኤላውያን ማጕረምረም ሰምቻለሁ። 28ስለዚህ እንዲህ በላቸው፤ ‘እግዚአብሔር (ያህዌ) እንዲህ ይላል፤ እኔ ሕያው ነኝ፤ ስትናገሩ የሰማኋችሁን እነዚያን ነገሮች አደርግባችኋለሁ፤ 29በተደረገው ቈጠራ መሠረት፣ ሃያ ዓመት ወይም ከዚያ በላይ የሆናችሁና በእኔም ላይ ያጕረመረማችሁ ሁሉ በድናችሁ በዚህ ምድረ በዳ ይወድቃል። 30መኖሪያችሁ እንድትሆን በጽኑ ወደ ማልሁላችሁ ምድር ከዮፎኒ ልጅ ከካሌብና ከነዌ ልጅ ከኢያሱ በስተቀር ከእናንተ አንዳችሁም አትገቡባትም። 31ይማረካሉ ያላችኋቸውን ልጆቻችሁን ግን አገባቸዋለሁ፤ እናንተ የናቃችኋትን ምድር እነርሱ ይደሰቱባታል። 32እናንተ ግን፣ በድናችሁ በዚሁ ምድረ በዳ ወድቆ ይቀራል። 33ካለማመናችሁ የተነሣ ከእናንተ የመጨረሻው በድን እዚሁ ምድረ በዳ እስኪወድቅ ድረስ፣ ልጆቻችሁ መከራ እየበሉ አርባ ዓመት እረኞች ይሆናሉ። 34ምድሪቱን ለመሰለል በቈያችሁበት አርባ ቀን ልክ እያንዳንዱ ዓመት እንደ አንድ ዕለት ተቈጥሮ ስለ ኀጢአታችሁ አርባ ዓመት መከራ ትቀበላላችሁ፤ ምን ያህል በእናንተ ላይ እንደ ተነሣሁም ታውቃላችሁ። 35እኔ እግዚአብሔር (ያህዌ) ይህን ተናግሬአለሁ፤ ደግሞም አንድ ሆኖ በተነሣብኝ በዚህ ክፉ ማኅበረ ሰብ ሁሉ ላይ እነዚህን ነገሮች አደርጋለሁ፤ መጨረሻቸው በዚሁ ምድረ በዳ ይሆናል፤ እዚሁም ይሞታሉ።’ ”

36ከዚህ በኋላ ምድሪቱን እንዲሰልሉ ሙሴ ልኳቸው የነበሩትና ከዚያ ተመልሰው ስለ ምድሪቱ ክፉ ወሬ በማሠራጨት ማኅበረ ሰቡ በሙሉ እንዲያጕረመርሙበት ያደረጉ፣ 37ስለ ምድሪቱም ክፉ ወሬ በማሠራጨት ተጠያቂ የሆኑት እነዚሁ ሰዎች ተቀሥፈው በእግዚአብሔር (ያህዌ) ፊት ሞቱ። 38ምድሪቱን እንዲሰልሉ ከተላኩት ሰዎች በሕይወት የተረፉት የነዌ ልጅ ኢያሱና የዩፎኒ ልጅ ካሌብ ብቻ ነበሩ።

39ሙሴም ይህን ለእስራኤላውያን ሁሉ በነገራቸው ጊዜ ክፉኛ ዐዘኑ። 40በማግሥቱም ጧት ማልደው ወደ ተራራማው አገር ወጡ፤ እንዲህም አሉ፣ “ኀጢአት ሠርተናልና እግዚአብሔር (ያህዌ) ተስፋ ወደ ሰጠን ስፍራ እንወጣለን”።

41ሙሴ ግን እንዲህ አለ፤ “የእግዚአብሔርን (ያህዌ) ትእዛዝ ለምን ትጥሳላችሁ? ይህም አይሳካላችሁም! 42እግዚአብሔር (ያህዌ) ከእናንተ ጋር ስላይደለ አትውጡ፤ በጠላቶቻችሁ ድል ትመታላችሁ፤ 43አማሌቃውያንና ከነዓናውያን በዚያ ያጋጥሟችኋልና። እግዚአብሔርን (ያህዌ) ስለ ተዋችሁትና እርሱም ከእናንተ ጋር ስለማይሆን በሰይፍ ትወድቃላችሁ።”

44ሙሴም ሆነ የእግዚአብሔር (ያህዌ) ታቦት ከሰፈር ሳይነሡ በስሜት ተገፋፍተው ብቻ ወደ ተራራማው አገር ወጡ። 45በዚህ ጊዜ በተራራማው አገር የሚኖሩት አማሌቃውያንና ከነዓናውያን ወርደው ወጓቸው፤ እስከ ሔርማ ድረስም አሳደዷቸው።