Okubala 1 – LCB & BPH

Luganda Contemporary Bible

Okubala 1:1-54

Okubala Abantu

1Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri1:1 Kino kyabaawo oluvannyuma lw’omwezi gumu nga Abayisirayiri batuuse mu ddungu lya Sinaayi (Kuv 9:1), ate nga wayiseewo omwezi gumu bukya Eweema ya Mukama ezimbibwa (Kuv 40:17), ate n’oluvannyuma lw’ennaku kkumi na ttaano nga kyebajje bakwate Embaga ey’Okuyitako mu Sinaayi. N’amugamba nti: 2“Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala. 3Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe. 4Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.

5“Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:

“Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;

6mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;

7mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;

8mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;

9mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.

10Okuva mu baana ba Yusufu:

mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;

mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.

11Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;

12mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;

13mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;

14mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;

15mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”

16Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.

Ebika n’obunene bwabyo

17Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe, 18ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala, 19nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi:

20Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 21Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).

22Ab’omu bazzukulu ba Simyoni:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 23Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).

24Ab’omu bazzukulu ba Gaadi:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali. 25Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).

26Ab’omu bazzukulu ba Yuda:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 27Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).

28Ab’omu bazzukulu ba Isakaali:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 29Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).

30Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 31Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).

32Okuva mu batabani ba Yusufu:

Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 33Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

34Ab’omu bazzukulu ba Manase:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 35Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).

36Ab’omu bazzukulu ba Benyamini:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 37Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).

38Ab’omu bazzukulu ba Ddaani:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 39Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).

40Ab’omu bazzukulu ba Aseri:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 41Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).

42Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 43Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

44Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye. 45Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe. 46Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).

Abaleevi bo Tebaabalibwa

47Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa. 48Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti, 49“Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.” 50Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Endagaano n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola. 51Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga. 52Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe. 53Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Endagaano, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Endagaano.”

54Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Bibelen på hverdagsdansk

4. Mosebog 1:1-54

Israels første folketælling

1På den første dag i den anden måned1,1 Den anden måned svarer til april-maj. året efter, at israelitterne havde forladt Egypten, talte Herren til Moses i åbenbaringsteltet, mens folket opholdt sig i Sinais ørken.

Herren sagde: 2-4„Lav en liste over alle våbenføre mænd over 20 år med deres stamme- og slægtsnavne. Du og Aron skal være ansvarlige for optællingen, som skal uddelegeres til en leder fra hver enkelt stamme. 5Følgende ledere skal hjælpe jer: fra Rubens stamme: Elitzur, Shedeurs søn; 6fra Simeons stamme: Shelumiel, Zurishaddajs søn; 7fra Judas stamme: Nahshon, Amminadabs søn; 8fra Issakars stamme: Netanel, Suars søn; 9fra Zebulons stamme: Eliab, Helons søn; 10fra Efraims, Josefs søns, stamme: Elishama, Ammihuds søn; fra Manasses, Josefs søns, stamme: Gamliel, Pedasurs søn; 11fra Benjamins stamme: Abidan, Gidonis søn; 12fra Dans stamme: Ahiezer, Ammishaddajs søn; 13fra Ashers stamme: Pagiel, Okrans søn; 14fra Gads stamme: Eljasaf, Deuels søn; 15fra Naftalis stamme: Ahira, Enans søn.” 16Disse mænd var ledere blandt folket, overhoveder for hver deres slægt.

17-46Samme dag sammenkaldte Moses, Aron og de ovennævnte ledere samtlige våbenføre mænd i Israel over 20 år. Hver person fik besked på at oplyse sit stamme- og slægtsnavn, sådan som Herren havde befalet Moses. Her følger den samlede opgørelse: Jakobs førstefødte søns, Rubens, stamme: 46.500; Simeons stamme: 59.300; Gads stamme: 45.650; Judas stamme: 74.600; Issakars stamme: 54.400; Zebulons stamme: 57.400; Efraims, Josefs søns, stamme: 40.500; Manasses, Josefs søns, stamme: 32.200; Benjamins stamme: 35.400; Dans stamme: 62.700; Ashers stamme: 41.500; Naftalis stamme: 53.400. Det samlede antal våbenføre mænd udgjorde 603.550 personer.

47-49Dette tal indbefatter dog ikke levitterne, for Herren havde sagt til Moses: „Du må ikke bruge levitterne som soldater, og du skal ikke tage dem med på listen. 50Jeg har nemlig givet dem ansvar for at tage sig af min bolig, det hellige telt, som indeholder pagtens ark. Derfor skal de altid have deres lejr i nærheden af boligen. 51Det er levitternes opgave at pakke teltet sammen og rejse det igen, og hvis nogen andre blander sig i den opgave eller blot rører ved teltet, skal de henrettes. 52Resten af Israels stammer skal tildeles hver deres lejrplads med hver deres banner, 53men levitterne skal slå lejr rundt om teltet med pagtens ark, så de udgør en mur mellem folket og Herren, for at ingen af de menige israelitter skal komme til at røre ved teltet og rammes af Herrens vrede.”

54Israels folk fulgte omhyggeligt de befalinger, som Herren havde givet Moses.