Obadiya 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Obadiya 1:1-21

1Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya.

Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu.

Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda,

Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti,

“Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”

2“Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,

era olinyoomererwa ddala.

3Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe,

mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi,

era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi.

Mmwe aboogera nti,

‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’

4Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu

era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye,

ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”

bw’ayogera Mukama.

5“Singa ababbi babajjira,

n’abanyazi ne babalumba ekiro,

akabi nga kaba kabatuuseeko.

Tebandibabbyeko byonna bye baagala?

Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde,

tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?

6Esawu alinyagulurwa,

eby’obugagga bye ebikusike birinyagibwa.

7Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo,

Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula;

abo abalya emmere yo balikutega omutego,

balikutega omutego kyokka toliguvumbula.

8“Ku lunaku olwo,

sirizikiriza bagezi b’e Edomu,

abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera Mukama.

9“Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya,

era na buli muntu mu nsozi za Esawu

alittibwa.

10Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo,

oliswazibwa.

Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.

11Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo,

nga banyaga obugagga bwa Isirayiri,

ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye,

ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi,

wali omu ku bo.

12Tosaanye kusekerera muganda wo

mu biseera bye eby’okulaba ennaku,

wadde okusanyuka ku lunaku

olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda,

newaakubadde okwewaana ennyo

ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.

13Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bange

ku lunaku kwe baalabira obuyinike,

wadde okubasekerera

ku lunaku kwe baabonaabonera,

newaakubadde okutwala obugagga bwabwe

ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.

14Temulindira mu masaŋŋanzira

okutta abo abadduka,

wadde okuwaayo abawonyeewo

mu biro eby’okulabiramu ennaku.

15“Olunaku luli kumpi kwe ndisalira

amawanga gonna omusango.

Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa.

Ebikolwa byammwe biribaddira.

16Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu

n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma;

balikinywa,

babe ng’abataganywangako.

17Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona,

kubanga lutukuvu,

n’ennyumba ya Yakobo

eritwala omugabo gwabwe.

18Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro,

n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro.

Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku,

era baligyokya n’eggwaawo.

Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu

n’omu alisigalawo,

kubanga Mukama akyogedde.

19“Abantu b’e Negebu balitwala

olusozi Esawu,

n’abantu ab’omu biwonvu balitwala

ensi y’Abafirisuuti.

Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya,

ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.

20Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani,

balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi;

abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi,

balyetwalira ebibuga mu Negebu.

21Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni,

okufuga ensozi za Esawu.

Obwakabaka buliba bwa Mukama.”