Nekkemiya 3 – LCB & NASV

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 3:1-32

Amannya g’abo Abaazimba Bbugwe

1Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu wamu ne baganda be bakabona ne batandika okukola n’okuddaabiriza Omulyango gw’Endiga. Ne baguwonga eri Mukama, ne bazzaamu n’enzigi zaagwo. Ne bakola okutuukira ddala ku Munaala gwe Kikumi, n’okweyongerayo okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ekifo kyonna ne bakiwonga eri Mukama. 2Abasajja ab’e Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddirira, ne Zakkuli mutabani wa Imuli n’addaabiriza ekitundu ekyali kiddiridde.

3Batabani ba Kassena ne bazimba Omulyango ogw’Ebyennyanja, ne bazzaawo emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo mu kifo kyabyo. 4Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira; Mesullamu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Mesezaberi n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ekya Meremoosi. Zadooki mutabani wa Baana n’addaabiriza ekitundu ekyali kiriraanyeewo. 5Abasajja Abatekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, naye abakungu baabwe ne bagaana okukolera wansi waabwe.

6Ne Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya ne baddaabiriza Omulyango ogw’Edda, ne bazaamu emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo. 7Ekifo ekyaddirira kyaddaabirizibwa Meratiya Omugibyoni n’abasajja ab’e Gibyoni ne Yadoni Omumeronoosi n’abasajja ab’e Mizupa. Ebyo by’ebifo ebyafugibwanga ow’essaza eriri emitala w’omugga Fulaati. 8Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, omuweesi wa zaabu n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kananiya omukozi w’obuwoowo, n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, era abo ne baddaabiririza ddala Yerusaalemi okutuuka ku Bbugwe Omugazi. 9Lefaya mutabani wa Kuuli eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. 10Ekitundu ekyaddirira kyali kiriraanye ennyumba ya Yedaya mutabani wa Kalunafu, era ekyo kye yaddaabiriza; n’ekitundu ekyaddako Kattusi mutabani wa Kasabuneya n’akiddaabiriza. 11Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza ekitundu ekirala ekya bbugwe n’Omunaala ogw’Ekikoomi. 12Eyaddaabiriza ekitundu ekyaddirira yali Sallumu mutabani wa Kallokesi ne bawala be, eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi ne bawala be.

13Kanuni n’abatuuze b’e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango ogw’omu Kiwonvu, ne bazzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo; ate era ne baddaabiriza n’ekitundu ekirala ekya bbugwe, olugendo lwa mita nga kikumi obuwanvu, okutuuka ku Mulyango ogw’Obusa.

14Malukiya mutabani wa Lekabu ow’eggombolola y’e Besukakkeremu n’addaabiriza Omulyango ogw’Obusa, n’azzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo.

15Salluni mutabani wa Kolukoze ow’eggombolola y’e Mizupa n’addaabiriza Omulyango ogw’Oluzzi, n’azzaamu enzigi zaagwo n’emiryango gyagwo n’ebyuma byagwo. N’addaabiriza n’ekisenge eky’Ekidiba kya Seera3:15 Seera kye kimu ne Sirowamu ekiriraanye ennimiro ya kabaka, okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi. 16Nekkemiya mutabani wa Azubuki eyafuganga ekitundu ky’eggombolola y’e Besuzuli3:16 Besuzuli yali nkambi ya magye g’abakuumi ba Dawudi (2Sa 23:8-39). n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku kifo ekyolekera ebiggya bya Dawudi, n’okutuuka ku kidiba ekyasimibwa, n’okutuuka ku Nnyumba y’Abalwanyi Abazira.

17Abaleevi nga bakulemberwamu Lekumu mutabani wa Baani ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kasabiya eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ly’e Keyira n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ku lw’eggombolola ye. 18Baganda baabwe nga bakulemberwamu Bavvayi mutabani wa Kenadadi eyafuganga ekitundu ekyokubiri eky’egombolola ly’e Keyira ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira. 19Ezeri mutabani wa Yesuwa, omukulembeze w’e Mizupa n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, n’atuuka ku nsonda ya bbugwe, kye kitundu ekyolekedde awaakumirwanga ebyokulwanyisa. 20Baluki mutabani wa Zabbayi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira n’obunyiikivu bungi, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu. 21Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero yaayo.

22Bakabona ab’omu lusenyi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira. 23Ekitundu ekyaddirira ne kibuukibwa, Benyamini ne Kassubu ne baddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe, Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya naye n’addaabiriza ekifo ekiriraanye ennyumba ye. 24Binnuyi mutabani wa Kenadadi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe, 25Palali mutabani wa Uzayi n’addaabiriza ekitundu kya bbugwe ku nsonda ya bbugwe, ekyolekedde omunaala ogwazimbibwa ku lubiri lwa kabaka olw’ekyengulu okuliraana oluggya lw’abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi 26n’abakozi ba yeekaalu abaabeeranga ku lusozi Oferi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku Mulyango gw’Amazzi ng’agenda ebuvanjuba ne ku munaala ogwazimbibwa. 27Abasajja b’e Tekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, okuva ku munaala omunene ogwazimbibwa okutuuka ku bbugwe w’e Oferi.

28Bakabona ne baddaabiriza ekyengulu w’Omulyango ogw’Embalaasi buli muntu okwolekera ennyumba ye. 29Zadooki mutabani wa Immeri n’addaabiriza ekifo ekyolekedde ennyumba ye, ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi w’omulyango gw’ebuvanjuba n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. 30Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni mutabani wa Zalafu ow’omukaaga n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. Mesullamu mutabani wa Berekiya n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okwolekera amaka ge. 31Malukiya omu ku baweesi ba zaabu n’addaabiriza ekitundu okutuuka ku nnyumba y’abaweereza ba yeekaalu, ne ku nnyumba ya basuubuzi okwolekera Omulyango Awaakeberebwanga Ebyamaguzi, n’okutuuka ku kisenge ekya waggulu ku nsonda. 32Abaweesi ba zaabu n’abasuubuzi ne baddaabiriza ekitundu ekiri wakati w’ekisenge ekya waggulu ku nsonda n’Omulyango gw’Endiga.

New Amharic Standard Version

ነህምያ 3:1-32

የቅጥሩ ሠራተኞች

1ሊቀ ካህናቱ ኤልያሴብና ወንድሞቹ ካህናት ለሥራ ተነሡ፤ የበጎች በር የተባለውንም እንደ ገና ሠሩ። ቀደሱት፤ መዝጊያዎቹንም በየቦታቸው ላይ አቆሙ። መቶ ማማ እስከሚባለው ግንብና ሐናንኤል ማማ ተብሎ እስከሚጠራው ድረስ ሠርተው ቀደሱት፤ 2ቀጥሎ ያለውንም የኢያሪኮ ሰዎች ሠሩ፤ እነርሱ ከሠሩት ቀጥሎ ደግሞ የአምሪ ልጅ ዘኩር ሠራ።

3የዓሣ በሩን የሃስናአ ልጆች ሠሩ፤ እነርሱም ምሰሶዎቹን አቁመው መዝጊያዎቹን፣ መቀርቀሪያዎቹንና መወርወሪያዎቹን በየቦታቸው አኖሩ።

4የአቆስ ልጅ የኦርዮ ልጅ ሜሪሞት ከዚያ ቀጥሎ ያለውን ክፍል መልሶ ሠራ። ከእርሱ ቀጥሎ ያለውን የሜሴዜቤል ልጅ የበራክያ ልጅ ሜሱላም መልሶ ሠራ። ከእርሱ ቀጥሎ ያለውን የበዓና ልጅ ሳዶቅ መልሶ ሠራ፤ 5የሚቀጥለውን ክፍል የቴቁሐ ሰዎች መልሰው ሠሩ፤ መኳንንቶቻቸው ግን በተቈጣጣሪ አሠሪዎቻቸው3፥5 ጌቶቻቸው፤ ወይም ገዦቻቸው ሥር ሆነው በሥራው መጠመድ አልፈለጉም።

6አሮጌውን3፥6 ወይም የይሻናን በር የፋሴሐ ልጅ ዮዳሄና የበሶድያ ልጅ ሜሱላም መልሰው ሠሩ፤ እነርሱም ምሰሶዎቹን አቁመው መዝጊያዎቹን፣ ማያያዣዎቹንና መወርወሪያዎቹን በየቦታቸው አኖሩ። 7ከእነርሱም ቀጥሎ የዕድሳቱ ሥራ የተከናወነው በኤፍራጥስ ማዶ በሚገኘው አገረ ገዥ ሥልጣን ሥር ባሉት በገባዖንና በምጽጳ ሰዎች በገባዖናዊው በመልጥያና በሜሮኖታዊው በያዶን ነበር። 8ከወርቅ አንጥረኞች አንዱ የሆነው የሐርሃያ ልጅ ዑዝኤል የሚቀጥለውን ክፍል ሠራ፤ ከሽቱ ቀማሚዎች አንዱ የሆነው ሐናንያ ደግሞ ከዚያ ቀጥሎ ያለውን መልሶ ሠራ። እነርሱም “ሰፊው ቅጥር” ተብሎ እስከሚጠራው ድረስ ኢየሩሳሌምን መልሰው ሠሩ። 9ከዚያ የሚቀጥለውን ክፍል የኢየሩሳሌም አውራጃ እኩሌታ ገዥ የሆነው የሆር ልጅ ረፋያ መልሶ ሠራ። 10የኤርማፍ ልጅ ይዳያ ከቤቱ ፊት ለፊት ያለውን ክፍል መልሶ ሠራ፤ የአሰበንያ ልጅ ሐጡስ ደግሞ ከእርሱ ቀጥሎ ያለውን መልሶ ሠራ። 11የካሪም ልጅ መልክያና የፈሐት ሞዓብ ልጅ አሱብ ሌላውን ክፍልና “የእቶን ግንብ” ተብሎ የሚጠራውን መልሰው ሠሩ። 12የኢየሩሳሌም አውራጃ እኩሌታ ገዥ የሆነው የአሎኤስ ልጅ ሰሎም ከሴት ልጆቹ ጋር በመሆን ቀጥሎ ያለውን ክፍል መልሶ ሠራ።

13“የሸለቆ በር” ተብሎ የሚጠራውን የሐኖንና የዛኖ ነዋሪዎች ዐደሱት፤ መልሰው ሠሩት፤ ከሠሩትም በኋላ መዝጊያዎቹን በየቦታቸው አኖሩ፤ መወርወሪያዎቹንና መቀርቀሪያዎቹንም አበጁ። እንዲሁም “የቈሻሻ መጣያ በር” ተብሎ እስከሚጠራው ድረስ ያለውን አንድ ሺሕ ክንድ3፥13 450 ሜትር ያህል ነው። ቅጥር መልሰው ሠሩ።

14“የቈሻሻ መጣያ በር” ተብሎ የሚጠራው የቤት ሐካሪም አውራጃ ገዥ የሆነው የሬካብ ልጅ መልክያ መልሶ ሠራ፤ መልሶ ከሠራ በኋላም መዝጊያዎቹን፣ መቀርቀሪያዎቹንና መወርወሪያዎቹን በየቦታቸው አኖረ።

15የምጽጳ አውራጃ የኮልሖዜ ልጅ ሰሎም “የምንጭ በር” ተብሎ የሚጠራውን መልሶ ሠራ፤ መልሶ ከሠራም በኋላ ከድኖ መዝጊያዎቹን በየቦታቸው አኖረ፤ መወርወሪያዎቹንና መቀርቀሪያዎቹንም አበጀ። “የንጉሥ አትክልት ቦታ” ተብሎ በሚጠራው አጠገብ የሚገኘውን የሼላን መዋኛ ግንብም፣ ከዳዊት ከተማ ጀምሮ ቍልቍል እስከሚወርደው ደረጃ ድረስ መልሶ ሠራ። 16ከእርሱም በኋላ የቤት ጹር አውራጃ እኩሌታ ገዥ የዓዝቡቅ ልጅ ነህምያ እስከ ዳዊት መቃብር ትይዩ እስከ ሰው ሠራሹ ኵሬና “የጀግኖች ቤት” ተብሎ እስከሚጠራው ድረስ ያለውን መልሶ ሠራ።

17ከእርሱ ቀጥሎ ሌዋውያኑ በባኒ ልጅ በሬሁ ሥር ሆነው የዕድሳት ሥራ ሠሩ። ከእርሱ ቀጥሎ የቅዒላ አውራጃ እኩሌታ ገዥ ሐሸብያ አውራጃውን መልሶ ሠራ። 18ከእርሱ ቀጥሎ ያለውን ክፍል ደግሞ የሌላው የቅዒላ አውራጃ እኩሌታ ገዥ የኤንሐዳድ ልጅ በዋይና በእርሱም ሥር የነበሩት የአገሩ ሰዎች መልሰው ሠሩ። 19ከእርሱም ቀጥሎ ወደ ጦር መሣሪያ ግምጃ ቤት በሚያወጣውና እስከ ማእዘኑ በሚደርሰው ትይዩ ያለውን ሌላ ክፍል የምጽጳ ገዥ የኢያሱ ልጅ ኤጽር መልሶ ሠራ። 20ከእርሱም ቀጥሎ የዘባይ ልጅ ባሮክ ከማእዘኑ ጀምሮ እስከ ሊቀ ካህኑ እስከ ኤልያሴብ ቤት መግቢያ ያለውን ሌላ ክፍል በትጋት መልሶ ሠራ። 21ከእርሱ ቀጥሎ ከኤልያሴብ ቤት መግቢያ ጀምሮ እስከ መጨረሻው ያለውን ሌላ ክፍል የአቆስ ልጅ የኦርዮ ልጅ ሜሪሞት መልሶ ሠራ።

22ከእርሱም ቀጥሎ ያለውን ክፍል ከአካባቢው የመጡት ካህናት መልሰው ሠሩ። 23ከእነርሱ ቀጥሎ ብንያምና አሱብ ከቤታቸው ፊት ለፊት ያለውን መልሰው ሠሩ፤ ከእነርሱም ቀጥሎ የሐናንያ ልጅ የመዕሤያ ልጅ ዓዛርያስ በቤቱ አጠገብ ያለውን መልሶ ሠራ። 24ከእርሱም ቀጥሎ ከዓዛርያስ ቤት ጀምሮ እስከ ማእዘኑና እስከ ማእዘኑም ጫፍ ያለውን ሌላውን ክፍል የኤንሐደድ ልጅ ቢንዊ መልሶ ሠራ፤ 25የኡዛይ ልጅ ፋላል ከቅጥሩ ማእዘን ትይዩና በዘብ መጠበቂያው አደባባይ አጠገብ ካለው ከላይኛው ቤተ መንግሥት መጠበቂያ ግንብ ጀምሮ ያለውን መልሶ ሠራ። ከእርሱም ቀጥሎ የፋሮስ ልጅ ፈዳያና 26በዖፌል ኰረብታ ላይ የሚኖሩት የቤተ መቅደሱ አገልጋዮች “የውሃ በር” ተብሎ ከሚጠራው ትይዩ ጀምሮ በስተ ምሥራቅ እስከሚገኘው ግንብ ድረስ መልሰው ሠሩ። 27ከእነርሱ ቀጥሎ የቴቁሐ ሰዎች ከታላቁ ግንብ ትይዩ ጀምሮ እስከ ዖፌል ቅጥር ድረስ ያለውን ሌላ ክፍል መልሰው ሠሩ።

28“የፈረስ በር” ተብሎ ከሚጠራው በላይ ያለውን ደግሞ ካህናቱ እያንዳንዳቸው በየመኖሪያ ቤታቸው ትይዩ ያለውን መልሰው ሠሩ። 29ከእነርሱም ቀጥሎ የኢሜር ልጅ ሳዶቅ በቤቱ ትይዩ ያለውን መልሶ ሠራ። ከእርሱ ቀጥሎ ያለውን “የምሥራቅ በር” ጠባቂ የሆነው የሴኬንያ ልጅ ሸማያ መልሶ ሠራ። 30ከእርሱ ቀጥሎ ያለውን ሌላ ክፍል ደግሞ የሰሌምያ ልጅ ሐናንያና የሴሌፍ ስድስተኛ ልጅ ሐኖን መልሰው ሠሩ። ከእነርሱም ቀጥሎ የበራክያ ልጅ ሜሱላም ከመኖሪያው ትይዩ ያለውን መልሶ ሠራ። 31ከእርሱ ቀጥሎ ከወርቅ አንጥረኞች አንዱ መልክያ በመቈጣጠሪያው በር ትይዩ እስከሚገኘው እስከ ቤተ መቅደሱ አገልጋዮችና እስከ ነጋዴዎቹ ቤት፣ እንዲሁም ከማእዘኑ በላይ እስከሚገኘው ክፍል ያለውን መልሶ ሠራ፤ 32ከማእዘኑ በላይ ከሚገኘው ክፍል ጀምሮ እስከ በጎች በር ያለውን ደግሞ ወርቅ አንጥረኞቹና ነጋዴዎቹ መልሰው ሠሩ።