Nekkemiya 13 – LCB & CARS

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 13:1-31

Enkyukakyuka za Nekkemiya Ezasembayo

1Ku lunaku olwo, Ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira, ne bazuula nga kyawandiikibwa nti tewabanga Omwamoni newaakubadde Omumowaabu akkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Katonda, 2kubanga tebaayaniriza Bayisirayiri na mmere newaakubadde amazzi, wabula baagulirira Balamu akolimire Abayisirayiri. Kyokka Katonda waffe yafuula ekikolimo okuba omukisa. 3Abantu bwe baawulira etteeka eryo, ne bagoba bannaggwanga bonna mu Isirayiri.

4Ebyo nga tebinnabaawo, Eriyasibu omu ku bakabona, yali aweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga amawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, kyokka nga mukwano nnyo wa Tobiya. 5Eriyasibu yali awadde Tobiya ekimu ku bisenge ebigazi omwali muterekebwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’omugavu, n’ebintu ebikozesebwa mu kusinza, ne kimu kya kkumi eky’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, awamu n’omuzigo ogwaweebwanga Abaleevi, n’abayimbi, n’abakuumi ba wankaaki, n’ebyo ebyaweebwanga bakabona.

6Kyokka ebyo byonna bwe byali bikolebwa, ssaali mu Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri ogw’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni, nnali nzizeeyo eri kabaka. Oluvannyuma lw’ebbanga, ne nsaba kabaka, 7ne nkomawo e Yerusaalemi, ne manyisibwa ekibi Eriyasibu kye yali akoze, bwe yawa Tobiya ekisenge mu mpya z’ennyumba ya Katonda. 8Ne nyiiga nnyo era ne nkasuka ebintu bya Tobiya byonna ebweru, okubiggya mu kisenge. 9Ne ndagira ebisenge bitukuzibwe, n’oluvannyuma ebintu ebyabeeranga mu nnyumba ya Katonda, n’emmere ey’empeke, n’omugavu ne biddizibwamu.

10Ne ntegeezebwa ng’emigabo gy’Abaleevi nagyo gyali tegibaweerebbwa, era nga n’Abaleevi bonna awamu n’abayimbi baali bazzeeyo mu bibanja byabwe. 11Kyenava nnenya abakungu ne mbabuuza nti, “Lwaki ennyumba ya Katonda terabiriddwa?” Bonna ne mbayita ne mbagamba bakomewo mu bifo mwe baabeeranga.

12Yuda yenna ne baleeta ekimu eky’ekkumi eky’emmere ey’empeke ne wayini omuggya n’omuzigo, ne babiteeka mu mawanika. 13Ne nnonda Seremiya omu ku bakabona, ne Zadooki omuwandiisi, ne Pedaya omu ku Baleevi balabirirenga amawanika. Ne nnonda ne Kanani mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Mattaniya okubayambangako; baali basajja beesimbu.

14Ozinjukirenga Ayi Katonda wange olw’ekikolwa ekyo, oleme okusangulawo ebyo byonna bye nakolera ennyumba ya Katonda wange, n’okuweereza kwe naweereza n’obwesigwa.

15Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere ey’empeke awamu ne wayini, n’emizabbibu, n’ettiini, n’emigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo. 16Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. 17Nanenya abakulembeze ba Yuda ne mbagamba nti, “Kiki kino eky’ekivve kye mukola nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti? 18Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe n’alyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”

19Awo ebisiikirize ebya kawungeezi bwe byali bitandise okugwa ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatuuka, ne ndagira emiryango okuggalwa era gireme okuggulwa okutuusa nga Ssabbiiti eweddeko. Nateeka abamu ku basajja bange ku miryango, waleme kubaawo mugugu guyingizibwa wadde ogufulumizibwa ku Ssabbiiti. 20Omulundi gumu oba ebiri, abasuubuzi n’abatundanga ebintu eby’engeri zonna baasula ebweru w’ekibuga Yerusaalemi. 21Kyokka ne mbalabula nga mbagamba nti, “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola nzija kubabonereza.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Ssabbiiti. 22Ne ndyoka ndagira Abaleevi okwetukuza bagende bakuume emiryango, okusobola okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu.

Onzijukire olwa kino nakyo Ayi Katonda wange, era ondage ekisa okusinziira ku kwagala kwo okungi.

23Ate era mu nnaku ezo, ne ndaba abasajja ba Yuda abaali bawasizza abakazi okuva mu Asudodi, ne Amoni, ne Mowaabu. 24Kimu kyakubiri ku baana baabwe baali boogera olulimi lw’Abasudodi, oba olumu ku nnimi z’abantu abalala. 25Ne mbanenya ne mbakolimira. Ne nkubako abamu ku basajja abo Abayudaaya, ne mbakuunyuulako enviiri. Ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nga mbagamba nti, “Temuwangayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe, wadde bawala baabwe okufumbirwa batabani bammwe, oba mmwe mwennyini. 26Okufumbiriganwa okw’engeri eyo, si kwe kwaleetera Sulemaani kabaka wa Isirayiri okwonoona? Mu mawanga gonna, tewaali kabaka nga ye. Yali ayagalibwa nnyo Katonda, era Katonda yamufuula kabaka wa Isirayiri yonna, kyokka abakazi bannaggwanga amalala, baamuwabya, n’akola ebibi. 27Ate tuwulira nga mukoze ebintu bino ebibi bwe bityo. Temuba beesigwa eri Katonda waffe bwe muwasa abakazi bannamawanga.”

28Omu ku batabani ba Yekoyaada, mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni. Ne mmugoba we ndi.

29Bajjukire, Ayi Katonda wange, kubanga baayonoona omulimu gw’obwakabona n’endagaano y’obwakabona ne ey’Abaleevi.

30Ne ntukuza bakabona awamu n’Abaleevi okuva mu buli kintu kyonna ekitali kitukuvu, buli omu ne mmuwa emirimu egy’okukola. 31Ne nteekawo enkola ey’abantu okuwaayo enku mu biseera ebigereke, era n’ebibala ebibereberye.

Onzijukire n’okwagala kwo Ayi Katonda wange.

Священное Писание

Неемия 13:1-31

Удаление аммонитян и моавитян из Исраила

1В тот день народу читали вслух из Таурата, книги Мусы, и нашли написанным там, что никакого аммонитянина и моавитянина нельзя принимать в общество Всевышнего, 2потому что они не встретили исраильтян с пищей и водой, но наняли Валаама, чтобы проклясть их. (Но наш Бог превратил проклятие в благословение.)13:1-2 См. Втор. 23:3-5. 3Услышав этот закон, они удалили из Исраила всех, кто происходил от чужеземцев.

Восстановление порядка в храме

4Перед этим заботе священнослужителя Элиашива были вверены хранилища дома нашего Бога. Он был тесно связан с Товией 5и приготовил для него большую комнату, где прежде хранили хлебные приношения, благовония и храмовую утварь, а также десятины зерна, молодого вина и масла, предназначенные по Закону для левитов, певцов и привратников, а ещё пожертвования для священнослужителей.

6Но когда всё это происходило, меня не было в Иерусалиме, ведь в тридцать второй год правления Артаксеркса, царя Вавилона13:6 Персидский царь Артаксеркс назван здесь царём Вавилона потому, что Персия завоевала Вавилонскую империю. (433 г. до н. э.), я уже вернулся к царю. Некоторое время спустя я отпросился у него 7и вернулся в Иерусалим. Здесь я узнал о зле, которое сделал Элиашив, приготовив во дворах дома Всевышнего комнату для Товии. 8Я очень разгневался и выбросил все домашние вещи Товии из комнаты. 9Я приказал очистить комнаты и опять внёс в них утварь дома Всевышнего, хлебные приношения и благовония.

10Ещё я обнаружил, что доли, предназначенные для левитов, не были им даны и что все левиты и певцы, проводившие служения, вернулись на свои поля. 11Я упрекнул начальников и спросил их:

– Почему оставлен дом Всевышнего?

Затем я собрал их и расставил по местам. 12И тогда весь народ Иудеи принёс в хранилища десятины зерна, молодого вина и масла. 13Я вверил хранилища заботам священнослужителя Шелемии, Цадока, учителя Таурата, и левита по имени Педая и дал им в помощники Ханана, сына Заккура, сына Маттании, потому что эти люди считались надёжными. Им было поручено распределять запасы между их собратьями.

14Вспомни меня за это, Бог мой, и не изгладь моих благих дел, которые я сделал для дома моего Бога и для его служб.

Возобновление соблюдения субботы

15В те дни я увидел в Иудее людей, которые топтали виноград в давильнях в субботу13:15 Суббота – седьмой день недели у иудеев, день, посвящённый Вечному. В этот день, согласно повелению Вечного, исраильский народ должен был отдыхать и совершать ритуальные жертвоприношения (см. Исх. 31:12-17; Чис. 28:9-10)., завозили снопы с зерном и грузили их на ослов вместе с вином, виноградом, инжиром и всяким другим грузом. И всё это они везли в Иерусалим в субботу. Поэтому я предостерёг их, чтобы в этот день они не торговали едой. 16Люди из Тира, которые жили в Иерусалиме, привозили рыбу и всякие виды товаров и продавали их в Иерусалиме в субботу народу Иудеи. 17Я упрекнул знать Иудеи и сказал им:

– Что за злое дело вы делаете, оскверняя субботний день? 18Разве не то же самое делали ваши отцы, и наш Бог навёл на нас и на этот город всю эту беду? А вы сейчас, оскверняя субботу, разжигаете против Исраила ещё больший гнев.

19Когда перед субботой у ворот Иерусалима начали опускаться сумерки, я приказал запереть двери и не открывать их, пока не пройдёт суббота. Я поставил у ворот несколько человек из своих слуг, чтобы в субботу нельзя было внести никакого груза. 20Один или два раза купцы и торговцы всякого рода товаром ночевали вне Иерусалима. 21Но я предостерёг их и сказал:

– Зачем вы ночуете у стены? Если вы сделаете это ещё раз, я применю против вас силу.

И с того времени они уже не приходили в субботу. 22Затем я велел левитам очиститься и пойти стеречь ворота, чтобы сохранить субботний день святым.

Вспомни меня и за это, Бог мой, и помилуй меня по величию Твоей милости.

Запрет на смешанные браки

23Более того, в те дни я видел иудеев, которые женились на женщинах из Ашдода, Аммона и Моава. 24Половина их детей говорила на языке Ашдода или на языке какого-нибудь из прочих народов и не умела говорить по-иудейски. 25Я упрекал их и призывал на них проклятия. Я бил некоторых из них и таскал за волосы. Я заставил их поклясться именем Всевышнего и сказал:

– Вы не должны отдавать своих дочерей замуж за сыновей других народов и не должны брать их дочерей в жёны своим сыновьям или самим себе. 26Не из-за таких ли вот браков впал в грех царь Исраила Сулейман? У многих народов не было царя, подобного ему. Его любил Всевышний и сделал его царём над всем Исраилом, но чужеземные жёны ввели в грех даже его. 27Должны ли мы теперь слышать, что и вы совершаете всё это страшное зло и нарушаете верность нашему Богу, женясь на чужеземках?

28Один из сыновей Иояды, сына главного священнослужителя Элиашива, был зятем хоронитянина Санбаллата. И я прогнал его от себя.

29Вспомни их, Бог мой, ведь они осквернили священство и соглашение священнослужителей и левитов.

30Так я очистил их от всего иноземного и установил обязанности священнослужителям и левитам, каждому – своё дело. 31А ещё я позаботился о поставке дров в назначенные сроки и о первых плодах.

Вспомни меня, Бог мой, мне во благо.