Nakkumu 3 – LCB & SNC

Luganda Contemporary Bible

Nakkumu 3:1-19

Ebibi bya Nineeve

1Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi!

Kyonna ekijjudde eby’obulimba

n’obunyazi,

ekitaggwaamu banyagiddwa.

2Muwulire okuvuga kw’embooko,

n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali

n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga

n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!

3Laba eggye ery’embalaasi erirumba,

n’ebitala ebitemagana,

n’amafumu agamyansa.

Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu,

ne ntuumu ennene ez’emirambo

egitamanyiddwa muwendo;

abantu bagirinnyirira.

4Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu,

kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu,

ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo,

n’olw’obulogo bwakyo.

5“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye,

“era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo.

Ensi zonna ziriraba obwereere bwo

n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.

6Ndikukanyugira kazambi,

era ndikufuula ekyenyinyalwa

ne nkufuula eky’okwelolera.

7Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti,

‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’

Abalikikubagiza baliva wa?”

8Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi

ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira

ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?

Olukomera lwakyo gwali mugga

era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.

9Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.

Ate nga Abapuuti3:9 Abapuuti ne Abapuuli balabika nga baali bantu ba mu kitundu kye kimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.

10Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.

Abakungu baakyo baakubirwa obululu,

n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.

11Nineeve naawe olitamiira,

olyekweka

ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.

12Ebigo byo byonna biri ng’emitiini

egiriko ebibala ebisooka okwengera;

bwe ginyeenyezebwa

ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.

13Laba abalwanyi bammwe balinafuwa

ne batiitiira ng’abakazi.

Enzigi z’ensi yo

nzigule eri abalabe bo.

Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.

14Weenyweze bajja kukulumba!

Weeterekere ku mazzi g’onoonywako.

Nyweza ebisenge byo.

Noonya ettaka olisambe

oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.

15Omuliro gulikulya,

ekitala kirikuzikiriza.

Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime.

Mweyongere obungi ng’enseenene,

mwale ng’enzige.

16Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe

okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu.

Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi

ne ziryoka zibuuka.

17Abakuumi bammwe bali ng’enzige,

n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige

ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti.

Enjuba bw’evaayo zibuuka

ne ziraga etamanyiddwa.

18Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli,

n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko.

Abantu bo basaasaanira ku nsozi

nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.

19Tewali kisobola kuwonya

kiwundu kyo ekinene bwe kityo.

Bonna abawulira ebikuguddeko

bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo.

Ani ataakosebwa

olw’ettima lyo eringi?

Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?

Slovo na cestu

Nahum 3:1-19

1Běda městu vražednému, kteréž všecko lži a ukrutenství plné jest, neodchází z něho loupež. 2Praskání bičů a hřmot kol, a dusání koní, a vozů skákání bude. 3Jezdec vyzdvihne třpytící se meč, a blýskající se kopí, i bude množství zbitých, a veliké hromady těl mrtvých, tak že nebude žádného počtu těl mrtvých, až i padati budou přes těla jejich, 4Pro množství smilství smilnice, velmi milé, mistryně kouzlů, kteráž prodávala národy smilstvými svými, a lidi kouzly svými. 5Aj, já proti tobě, dí Hospodin zástupů, a odkryji podolek tvůj nad hlavu tvou, a ukáži národům nahotu tvou, a královstvím hanbu tvou. 6A ukydaje tě ohavnými věcmi, uvedu tě v lehkost, a vystavím tě za divadlo. 7I stane se, že kdožkoli uzří tě, vzdálí se od tebe, a dí: Vyplundrováno jest Ninive. Kdož by ho litovati měl? Kdež bych shledal ty, kteříž by tě těšiti měli? 8Což by se tobě lépe díti mělo, nežli No lidnému, kteréž sedělo mezi řekami, vodami byvši opuštěno, jehož val bylo moře, zed mělo od moře? 9Mouřenínská země i Egypt silou jeho byla, a nesčíslní, Putští a Lubimští, byli jemu na pomoc. 10A však i to v přestěhování přišlo a v zajetí, tak že i maličcí jeho rozrážíni byli na úhlech všech ulic, a o nejslavnější jeho metali los, a všickni znamenití jeho sevříni byli pouty. 11Takž i ty opiješ se, a pokrývati se musíš, i ty hledati budeš pomoci proti nepříteli. 12Všecky tvé pevnosti jsou jako fíkové s ovocem ranním, jimž jakž se zatřese, prší do úst toho, kdož by jedl. 13Aj, lid tvůj jsou ženy u prostřed tebe, nepřátelům tvým dokořen otevříny budou brány země tvé, a oheň sžíře závory tvé. 14Navaž sobě vody k obležení, upevni ohrady své, vejdi do bláta a šlapej hlinu, oprav cihelnu. 15Tam tě sžíře oheň, vytne tě meč, sžíře tě jako brouky, nechť jest vás veliký počet jako brouků, nechť jest vás veliký počet jako kobylek. 16Rozmnožilo jsi kupce své nad hvězdy nebeské, brouci připadnou i zaletují. 17Znamenití tvoji jako kobylky, a hejtmané tvoji jako velicí chroustové, kteříž se kladou vojensky po plotích v čas studena. Slunce vzešlo, tožť letí, aniž znáti místa jejich, kde byli. 18Zdřímají pastýři tvoji, ó králi Assyrský, ležeti budou znamenití tvoji, hojnost lidu tvého bude po horách, ale nebude žádného, kdo by shromáždil. 19K potření tvému není žádného léku, bolest rány tvé rozmohla se. Kteřížkoli uslyší pověst o tobě, rukama plésati budou nad tebou. Nebo na koho ustavičně nedocházelo ukrutenství tvé?