1Kuno kwe kwolesebwa Katonda kwe yalaga Nakkumu, Omwerukoosi okukwata ku bibambulira ebyali bijjira Nineeve.
Obusungu bwa Mukama ku Nineeve
2Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga.
Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi.
Mukama yeesasuza ku balabe be
era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.
3Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi
era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze.
Ekkubo lye liri mu mpewo ey’akazimu ne mu kibuyaga,
n’ebire ye nfuufu y’ebigere bye.
4Akangavvula ennyanja n’agikaza
era akaza emigga gyonna,
ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse,
n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.
5Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda,
obusozi ne busaanuuka,
ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge,
ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.
6Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde?
Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi?
Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro,
n’enjazi n’eziyatikayatika.
7Mukama mulungi,
kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,
era alabirira abo bonna abamwesiga.
8Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu,
ekizikiza kiribawondera.
9Buli kye mwekobaana okukola Mukama,
alikikomya.
Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.
10Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye,
era nga batamidde,
balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.
11Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu
alowooza akabi
era ateesa ebibi ku Mukama.
12Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi,
balizikirizibwa ne baggwaawo.
Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange,
siriddayo kukikola nate.
13Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko
era n’ebibasibye nnaabikutulakutula.”
14Kino Mukama ky’alagidde ekikwata ku Nineeve:
“Erinnya lyo terikyayala nate.
Ndizikiriza ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse
ebiri mu masabo g’abakatonda bo;
ndisima entaana yo
kubanga oyinze obugwagwa.”
15Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba,
ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi,
alangirira emirembe.
Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu,
era otuukirize obweyamo bwo;
omubi kaakano takyakulumba,
azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.
1Elkosini Nahum anisoadehu nhoma a ɛyɛ nkɔmhyɛ a ɛfa Ninewe ho.
Awurade Abufuw A Etia Ninewe
2Awurade yɛ ninkufo ne aweretɔ Nyankopɔn,
Awurade tɔ were, na abufuw ahyɛ no ma.
Awurade tɔ nʼatamfo so were,
na nʼabufuw tena wɔn so.
3Awurade bo kyɛ fuw, na ne tumi so,
na ɔtwe ɔfɔdifo aso.
Ne kwan wɔ mfɛtɛ ne ahum mu,
omununkum yɛ nʼanan ase mfutuma.
4Ɔteɛteɛ po na ɔma ɛyow;
ɔma nsubɔnten nyinaa yoyow.
Basan ne Karmel twintwam,
na Lebanon frɔmfrɔmyɛ nso kisa.
5Mmepɔw wosow biribiri nʼanim
na nkoko nan.
Asase, wiase ne wɔn a wɔwɔ mu nyinaa
wosow nʼanim.
6Hena na obetumi agyina nʼabufuw ano?
Hena na obetumi atena nʼabufuwhyew mu?
Nʼabufuw hwie te sɛ ogya;
abotan yam wɔ nʼanim.
7Awurade ye,
ɔyɛ ahohia mu guankɔbea.
Nʼani wɔ wɔn a wɔde wɔn ho to no so no so.
8Nanso, ɔnam nsuyiri nwonwaso so
bɛma Ninewe aba awiei.
Ɔbɛtaa nʼatamfo akodu sum kabii mu.
9Pɔw biara a wɔbɛbɔ atia Awurade no,
ɔbɛsɛe no;
ɔhaw biara remma nto so mprenu.
10Wɔde nsɔe bɛkyekyere wɔn ho,
na bere a wɔn nsa abow wɔn no
wɔbɛhyew wɔn sɛ nwuraguanee a wɔaboa ano.
11Ninewe, wo mu na
nea ɔbɔ pɔw bɔne tia Awurade
na otu fo bɔne no fi.
12Nea Awurade se ni:
“Ɛwɔ mu sɛ wɔwɔ nnamfonom a wɔdɔɔso de,
nanso wɔbɛsɛe wɔn ama wɔayera.
Yuda, ɛwɔ mu sɛ mama ɔhaw aba wo so,
nanso merenyɛ saa bio.
13Afei, mebubu konnua a ɛda wo kɔn mu
na matetew nkɔnsɔnkɔnsɔn no mu.”
14Ninewe, Awurade aka ɔhyɛ asɛm a ɛfa wo ho:
“Worennya asefo a wo din bɛda wɔn so.
Mɛsɛe nsɛsode a wɔasen ne ahoni a wɔagu
a esisi wʼabosonnan mu no.
Mesiesie wo da
efisɛ woadan ayɛ atantanne.”
15Hwɛ mmepɔw no so,
nea ɔde asɛmpa no ba no anammɔn
ɔno na ɔka asomdwoesɛm!
Yuda di wʼafahyɛ na
di wɔ bɔhyɛ so.
Nnipabɔne rentu wo so sa bio;
Wɔbɛsɛe wɔn pasaa.