Mikka 6 – LCB & HCV

Luganda Contemporary Bible

Mikka 6:1-16

1Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti,

“Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi,

n’obusozi buwulire bye mugamba.

2“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana;

nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire.

Mukama alina ensonga ku bantu be

era agenda kuwawabira Isirayiri.

3“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze?

Nnali mbazitooweredde? Munziremu.

4Nabaggya mu nsi ye Misiri

ne mbanunula mu nsi ey’obuddu,

ne mbawa Musa,

ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.

5Mmwe abantu bange mujjukire

ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu

n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera.

Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali

mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”

6Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama

nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?

Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,

n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?

7Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,

oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?

Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,

nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?

8Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.

Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,

okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa

era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

9Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka.

“Kya magezi ddala okutya erinnya lye,

n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.

10Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira,

mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu,

erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?

11Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,

alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?

12Abagagga baakyo bakambwe

n’abatuuze baamu balimba

n’ennimi zaabwe tezoogera mazima.

13Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza,

nkumalewo olw’ebibi byo.

14Onoolyanga, naye n’otokutta,

era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja.

Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka

kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.

15Olisiga naye tolikungula,

oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako,

olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.

16Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli

n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu

n’ogoberera n’emizizo gyabwe,

kyendiva nkufuula ekifulukwa,

n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa

era olibaako ekivume ky’amawanga.”

Hindi Contemporary Version

मीकाह 6:1-16

इस्राएल के विरुद्ध याहवेह का मामला

1सुनो कि याहवेह क्या कहते हैं:

“उठो, और पर्वतों के आगे मेरा मामला रखो;

पहाड़ियां सुनें कि तुम क्या कहते हो.

2“हे पर्वतों, याहवेह के द्वारा लगाये आरोपों पर ध्यान दो;

हे पृथ्वी के अटल नींव, तुम भी सुनो.

क्योंकि याहवेह का अपने लोगों के विरुद्ध एक मुकद्दमा है;

वे इस्राएल के विरुद्ध एक मामला दायर कर रहे हैं.

3“हे मेरे लोगों, प्रजा, मैंने तुम्हारे साथ क्या अन्याय किया है?

मुझे बताओ कि मैंने तुम्हारे ऊपर क्या बोझ डाला है?

4मैंने तुम्हें मिस्र देश से बाहर निकाला है

और तुम्हें दासत्व के बंधन से छुड़ाया है.

मैंने तुम्हारी अगुवाई करने के लिये मोशेह को भेजा,

अहरोन और मिरियम को भी भेजा.

5हे मेरे लोगों, याद करो

मोआब के राजा बालाक ने क्या षड़्‍यंत्र किया था

और बेओर के पुत्र बिलआम ने क्या उत्तर दिया था.

शित्तीम से गिलगाल तक अपनी यात्रा का स्मरण करो,

कि तुम याहवेह के धर्मी कामों को जानो.”

6मैं याहवेह के सामने क्या लेकर आऊं

और प्रशंसा के योग्य परमेश्वर के सामने दंडवत करूं?

क्या मैं होमबलि के लिये एक-एक साल के बछड़े लेकर

उसके सामने आऊं?

7क्या याहवेह की प्रसन्‍नता के लिए हजारों मेढ़े,

अथवा जैतून तेल की दस हजार नदियां पर्याप्‍त होंगी?

क्या मैं अपने अपराध के प्रायश्चित के लिये अपने पहलौठे पुत्र का बलिदान करूं,

या अपनी आत्मा के पाप के अपने जन्माए किसी का बलिदान करूं?

8हे मनुष्य, उन्होंने तुम्हें दिखाया है कि क्या अच्छा है.

और याहवेह तुमसे क्या अपेक्षा करता है?

न्याय के काम करो और दया करो

और परमेश्वर के साथ नम्रता से चलो.

इस्राएल का अपराध और दंड

9सुनो! याहवेह शहर को पुकार रहे हैं,

और आपके नाम का भय मानना ही बुद्धिमता है,

“डंडा और उसे नियुक्त करनेवाले की बात ध्यान से सुनो.

10हे दुष्ट घर, क्या मैं अब भी तुम्हारे अनाचार से कमाए धन,

और उस छोटे माप को भूल जाऊं, जो अभिशप्‍त है?

11क्या मैं किसी को गलत वजन की थैली के साथ,

उसे उसके गलत मापों से छुटकारा दूं?

12तेरे धनवान लोग हिंसा करते हैं;

तेरे निवासी झूठे हैं

और उनकी जीभ धोखा देनेवाली बात करती हैं.

13इसलिये मैं तुम्हें तुम्हारे पापों के कारण

नाश करना, तुम्हारा पतन करना शुरू कर चुका हूं.

14तुम खाना तो खाओगे किंतु संतुष्टि नहीं मिलेगी;

खाने के बाद भी तुम्हारा पेट खाली रहेगा.

तुम जमा तो करोगे, पर बचेगा कुछ भी नहीं,

क्योंकि तुम्हारी बचत को मैं तलवार से लुटवा दूंगा.

15तुम बोओगे, पर फसल नहीं काटोगे;

तुम जैतून का तेल तो निकालोगे, किंतु उस तेल का उपयोग न कर सकोगे,

तुम अंगूर को तो रौंदोगे, पर उसका दाखमधु पान न कर सकोगे.

16तुमने ओमरी के विधि विधान

और अहाब के घर के सब रीति-रिवाजों का पालन किया है;

तुमने उनकी परंपराओं का भी पालन किया है.

इसलिये मैं तुम्हारा विनाश कर दूंगा

और तुम्हारे लोग हंसी के पात्र होंगे;

तुम मेरे लोगों का अपमान सहोगे.”