Mikka 5 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Mikka 5:1-15

Omufuzi Ava mu Besirekemu

1Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye,

kubanga tulumbiddwa.

Omukulembeze wa Isirayiri

balimukuba omuggo ku luba.

2“Naye ggwe Besirekemu Efulasa,

newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,

mu ggwe mwe muliva alibeera

omufuzi wange mu Isirayiri.

Oyo yaliwo okuva edda n’edda,

ng’ensi tennabaawo.”

3Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo

okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana,

era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo

eri bannaabwe mu Isirayiri.

4Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye

mu maanyi ga Mukama,

mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we.

Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu

okutuusa ku nkomerero y’ensi.

5Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe.

Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe

n’abuna ebigo byaffe,

tulimuyimbulira abasumba musanvu,

n’abakulembeze munaana.

6Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala

era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone.

Naye alitulokola eri Omwasuli

bw’alitulumba mu nsi yaffe

era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.

7Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera

wakati mu mawanga agabeetoolodde,

babe ng’omusulo oguva eri Mukama,

ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo

obutalindirira muntu

oba abaana b’abantu.

8Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,

abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;

ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,

bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula

ne wataba n’omu aziwonya.

9Omukono gwo guliwangula abalabe bo,

ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.

10“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,

“Ndizikiriza embalaasi zo

ne nsanyaawo n’amagaali go.

11Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo

era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.

12Obulogo bwo ndibumalawo

era toliddayo kukolima nate.

13N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza.

Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga;

temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda

be mwekoledde n’emikono gyammwe.

14Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe,

ebibuga byammwe n’embizikiriza.

15Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde

n’obusungu n’ekiruyi.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

弥迦书 5:1-15

耶和华的应许

1耶路撒冷的居民5:1 耶路撒冷的居民”希伯来文是“被围攻的女子”。啊,

现在你们要调集军队!

敌人正四面围攻我们,

要用杖击打以色列首领的脸颊。

2以法他伯利恒啊,

你在犹大各城中毫不起眼,

但将有一位从你那里出来,

为我统治以色列

祂的根源自亘古,来自太初。

3耶和华要将以色列人交给他们的敌人,

直到那临盆的妇人生下儿子。

那时,祂流亡的弟兄将重返他们的以色列同胞那里。

4祂要挺身而起,

倚靠耶和华的能力,

奉祂上帝耶和华的威名牧养祂的群羊。

他们将安然居住,

因为那时祂必受尊崇,直达地极。

5祂必给他们带来平安!

亚述人侵略我们的国土、践踏我们的宫殿时,

我们将选立七位牧者和八位首领抗击他们。

6他们要用刀剑统治亚述,统治宁录地区。

亚述人侵入我们国境、践踏我们疆土时,

祂必拯救我们。

7雅各余剩的子孙将在万民中像从耶和华那里降下的雨露,

又像洒在草上的甘霖。

他们不依靠人,

不冀望于世人。

8在各国各民中,

雅各余剩的子孙犹如林间百兽中的狮子,

又像闯入羊群的猛狮,

将猎物扑倒撕碎,

无人能搭救。

9愿你们伸手战胜仇敌!

愿你们的仇敌都被铲除!

10耶和华说:

“到那日,

我要消灭你们的战马,

毁坏你们的战车。

11我要摧毁你们境内的城邑,

拆除你们所有的堡垒。

12我要除掉你们手中的巫术,

使你们那里不再有占卜的。

13我要从你们中间除去雕刻的神像和神柱,

使你们不再跪拜自己所造的。

14我要从你们中间铲除亚舍拉神像,

毁灭你们的偶像。

15我要在烈怒中报应那些不听从我的国家。”